settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala Yesu yaliwo? Waliwo obukakafu okuva mu byafaayo obulaga okubaawo kwa Yesu?

Okuddamu


Ebiseera ebisinga , ekibuuzo kino bwekibuzibwa, omuntu akibuuza abuuza nga asonga ku bukakafu obuli wabweru wa Bayibuli. Tekukkiriza ndowooza egamba nti Bayibuli tesobola kuba nsibuko ya bukakafu bwonna obulaga okuberawo kwa Yesu. Endagaano empya elina bukakafu buyitirivu obukwata ku Yesu. Waliwo abagamba ngi enjiri yawandiikibwa nga wayiseewo emyaka egisoba mu 100 ( 200 AD) nga Yesu afudde. Nebweeba nga eno y’ensonga (ensonga gyetugaanira ddala), ebiwandiiko ebyawandiikibwa wansi we myaka bibiri (200) ng’ensonga ewandikibwako eyisiwo bitwalibwa okuba nga bitufu era ebyesigika. Ekirala, abasomi abakenkufu abasinga(Abakkiriza mu Yesu n’abatakkiriza) bakkiriza nti Ebaluwa za Pawulo(ezisinga) zawandiikibwa Pawulo wakati ekyasa ekisoka (wansi w’emyaka 100 ) nga Yesu afudde. Mu bukakafu obuli mu biwandiiko ebyedda, buno bukakafu bunene obulaga okubawo kw’omusajja Yesu mu Yisirayeeri mu kyasa ekyasooka nga Yesu afudde.

Kikulu era okukkiriza nti mu mwaka ogw’ensanvu nga Yesu afuude (AD 70), Abaruumi balumba era ne basanyaawo Yerusaleemu era n’ebitundu ebisinga ebya Yisirayeeri, nebasanjaga abantu ababeerangamu. Ebibuga byonna byayokebwa era nebiggwaawo. Tetulina kwewunya, singa ebintu ebisinga ebiraga okuberawo kwa Yesu byasanyiziibwaawo mu bulambaganyi buno. Bangi abalaba Yesu basobola okuba nga battibwa. Ensonga eno esobola okuba nga yasala ku bungi bwobukakafu obw’abantu abalaba era abalina obujulizi ku Yesu.

Okusinzirira ku nsonga nti obuwereza bwa Yesu obusinga bwali bifo ebitali byatiikirivu, mu busonda bwa Ruumi, ebintu bingi ebyewunyisa ebikwata ku Yesu bisobola okugyibwa mu bifo ebitereka ebyafaayo. Mu bukakafu obusinga obukulu mulimu buno wamanga.

Takitasi(Soma Tacitus) ow’ekyasa ekisooka, atwalibwa okuba omu ku bawandiisi b’ebyafaayo abasinga, yawandiika ku Bakristaayo (okuva Kristasi ekitegeeza Kristu mu Lulattini), ababoonaboona mu mulembe gwa Pontiyo Pilato wansi w’obufuzi bwa Tayiberiyaasi(Soma Tiberius). Suwetoniyaasi, eyali sabawandiisi wa Empula Kaduriyani, yawandiika nti waliyo omusajja eyayitibwa Krestasi(Oba Kristu) eyabeeranga mu kyasa ekyasooka(Annals 15.44).

Fulaviyaasi Yozefasi ye muwandiisi omuyudaaya akyakyinze okumanika. Mu biwandiiko bye, awandiika ku Yakobo, muganda wa Yesu, eyayitibwanga Kristu. Waliwo olunyiriri olutera abantu okuwakana(18:3) olugamba,” Kakano, akaseera kali nga kano, omusajja omugezigezi, bwekiba nga kiri mu mateeka okumuyita omusajja. Kubanga yali musajja ekola ebintu ebyewunyisa ebingi….Yeyali Kristu,...yabalabikira nga mulamu nate ku lnaku olw’okusatu, nga bannabbi bwebayogera bino, era nga ebirala nkumi na nkumi ku bimukwatako.” Empamdiika endala egamba, “ Akaseera ako waliwo omusajja eyali omugezigezi elinnya Yesu. Yali yeyisa bulungi era yamanyikibwa okuba omusajja atukkiridde. Abantu bangi omuli abayudaaya n’abamawanga amalala bafuuka abayigiribwa be. Pilato yamusalira era yamusindika okukomelerwa era afe. Wabula abo abafuuka abayigirizibwa be tebaleka nsomesa ye. Babulira nti yabalabikira nga wayiseewo ennaku sattu ng’amaze okukomererwa, era nti yali mulamu; okusinziira nti yali asobola okuba nga yeyali omununuzi, bannabbi gwe gwebayogerako ebikulu.

Juliyaasi Afrikanasi akozesa ebigambo byomuwandiisi w’ebyafaayo Sallasi mu mbozi eyali ekwatagana ku kizikiza ekyaddirira okukomerwa kwa Kristu.(Extant Writtings, 18).

Pulini omuto, mu baluwa 10:96, awandiika ku kusinza kw’abakristaayo abasooka nawandiika ku mazima nti abakristaayo basinza Yesu nga Katonda era nti bali besigwa era nga bagoberera amateeka, era ayogera ku mbaga ey’okwagala, n’ekyegulo ekisembayo ekya Mukama waffe Yesu Kristu.

Talumuudi omubabbilooni (Olukiiko lw’abakadde 43a; soma Sanhendrin 43a) akakasa okukomererwa kwa Yesu mu kiro ekiddirirwa embaga ey’okuyitako era awandiika ku misango egyavunaanibwa Yesu okuli obulogo wamu n’okuwagira okukyamizibwa kw’abayudaaya okuva ku Katonda.

Lusiyani owe Samosaata eyali muwandiisi omuyonaani ow’ekyasa oky’okubiri akkiriza nti Yesu yasinzibwa abakristaayo, yatandikawo ensomesa empya, era yakomererwa kulwabwe. Agamba nti ensomesa ya Yesu yalimu obwaseluganda bwa bakkiriza bonna, omugaso oguli mu kukyusibwa, wamu n’omugaso oguli mu kwegaana bakatonda abalala. Abakristaayo batambulira ku mateeka ga Yesu, bekkirizanga okuba abatafa, era bamanyibwa okukyawa okufa, okwewaayo eri Katonda okweyagalire, era n’okwegaana eby’obugagga ebikwatibwako.

Maara mutabani wa Serapiyooni akkiriza nti Yesu yalowoozebwa okuba omusajja omugezigezi era atuukiridde, yalowoozebwa bangi okuba Kabaka wa Yisirayeeri, yattibwa abayudaaya, era abamugoberera basigala bamusomesako

Amazima gali nti tusobola okuddamu okuzimba enjiri nga tugyigya mu bawandiisi abatali bakkiriza abasooka. Yesu yayitibwa Kristu (Yosefaasi), yakola “obufuusa,” yakulembera Yisirayeeri okugyitwaala mu nsomesa empya, yakomelebwa ku musalaba ku lwabwe(Talumuudi omubabbilooni),mu Buyudaaya( Takitaasi), yeyitanga Katonda era nti alidda(Eliyeeza), ensonga abakkiriza be gyebakkiriza, ne bamusinza nga Katonda(Pulini omuto)

Waliwo obukakafu bungi obulaga okuberawo kwa Yesu Kristu, mu byafaayo ebyawandiiibwa abatakkiriza era ne mu Bayibuli. Osanga obukakafu obukyasinze okulaga nti Yesu yaliwo y’ensonga nti enkumi n’enkumi z’aba Kristaayo mu kyasa ekyasooka, omuli n’abayigirizwa ekumi n’ababiri, bakkiriza okuwaayo obulamu bwabwe battibwe kulwa Yesu Kristu. Abantu bafirira ekyo kyebakkiriza okuba ekituufu, wabula teri ayinza kufirira ekyo kyamanyi nti bulimba.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala Yesu yaliwo? Waliwo obukakafu okuva mu byafaayo obulaga okubaawo kwa Yesu?
© Copyright Got Questions Ministries