settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala Katonda yeyatonda obubi?

Okuddamu


Okusookera ddala kilabika nti bwaba Katonda yatonda ebintu byonna, kitegeeza nti obubi bwatondebwa Katonda. Wabula, obubi si “kintu” ng’ olwaazi oba amazannyalaze. Tosobola kuba na “jaaga” ya bubi. Obubi tebusobola kubaawo kulwabwo, wabula bubaawo singa obulungi buba tebuuliwo. Okugeza, ebituli biba byaddala, wabula bibaawo mu bintu ebirala. Enkinya kyijjawo singa ogyawo etaka wabula ekyinnya tosobola kukyawula na taka. N’olwekyo, Katonda bweyatonda, kituufu buli kimu kyeyatonda kyali kilungi. Ekimu ku bintu Katonda byeyatonda byebitonde ebilina eddembe okulondawo okukola obulungi. Okusobola okuteekawo okulondako okutuufu, Katonda yakkiriza wabeewo ekintu ekirala ekitali kilungi okuba ekimu kwebyo ebilondebwa. N’olwekyo Katonda yakkiriza bamalayika wamu n’abantu okulondawo obulungi oba okugaana okulonda obulungi(obubi). Bwewaberawo enkolagana embi wakati w’ebintu ebilungi, kyetuyita obubi.

Osanga okukuwa ekifaananyi ekirala kijja kukuyamba. Omuntu bwabuuzibwa. “Ddala obunyogovu gyebuli?” ayinza kuddamu “Yye!”. Wabula, kino si kituufu. Obunyogovu kwebuba nga ebbugumu teliliwo. Kyekimu, ekizikiza tekiliyo, kubanga ekizikiza kibaawo kubanga ekitangaala tekiliwo. Obubi kwekuba nga obulungi tebuliwo, oba obubi kwekubulawo kwa Katonda. Katonda teyalina kutonda bubi, wabula yakkiriza olw’okubulawo kw’obulungi.

Katonda teyatonda bubi, wabula akkiriza obubi okubaawo. Singa Katonda teyakkiriza bubi kubeerawo, abantu ne bamalayika bandibadde basinza Katonda kubanga kattala, wabula nga ssi kyeyagalire. Katonda teyayagala “roboti” oba byuuma ebikola obukozi Katonda byayagala bikolebwe kubanga bwatyo bweyabikola. Katonda yakkiriza obubi okubaawo tusobole okuba nebeetu wamu nokusalawo oba twagala okumuwereza oba tetwagala.

Ng’ebitonde ebikoma(oba ebirina ekkomo), tetusobola kutegeera Katonda atakoma kumumalayo (Abaruumi 11:33-34). Ebiseera ebimu tulowooza tumanyi lwaki Katonda akola ebintu ebimu, wabula netwesanga nga ebigendererwa bye byali bilala nnyo okwawukana kwebyo byetwali tulowooza. Katonda atunuulira ebintu ngakozesa endowooza entukuvu era ebeerera emirembe gyonna. Ffe tutunuulira ebintu nga tukozesa amaso, n’endowooza, ey’ensi era endowooza eyakaseera obuseera.

Lwaki Katonda yateeka Adamu ne Kaawa kunsi ng’amanyi nti bagya kwonoona, era baleete obubi, okufa, n’okuboonaboona eri omwana w’omuntu? Lwaki teyatutonda natuleka mu Gulu, gyetwandibadde abatukkirivu emirembe gyonna era nga tetuboonaboona. Ebibuuzo bino tebisobola kuddibwamu nga tukyali kunsi. Kyetusobola okumanya kiri nti, buli kintu Katonda kyakola kitukuvu, era kitukiridde, era kigya kumuweesa ekitibwa nga byonna biwedde. Katonda akkiriza obubi okusobola okutuuwa omwaganya ogumala okulondawo oba tunamusinza. Katonda teyatonda bubi, wabula yabukkiriza. Singa teyabukkiriza, twandibadde tumusinza kubanga kattala, oba ddimu, wabula nga si kyeyagalire oba kusalawo oba kulondawo kwaffe okumusiiza.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala Katonda yeyatonda obubi?
© Copyright Got Questions Ministries