settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala Katonda ayogera gyetuli mu nnaku zino?

Okuddamu


Bayibuli eraga emirundi mingi nga Katonda ayogera mu ddoboozi eri abantu emirundi mingi. ( Okuva 3:14; Yoswa 1:1; Ekyabalamuzi 6:18; 1 Samwiri 3:11, 2 Samwiri 2:1; Yobu 40:1; Isaaya 7:3 Yeremiya 1:7; Ebikolwa 8:26; 9:15– bino byakulabirako bitono nnyo). Tewali nsonga mu Bayibuli lwaki Katonda ayinza obutayogera eri omuntu yenna mu ddoboozi lero. Tulina okumanya nti emirundi enkumi n’enkumi egyawandiikibwa mu Bayibuli nga Katonda gyabeerawo mu myaka enkumi nnya(4000) mu byafaayo by’omuntu. N’emirundi Bayibuli gyewandiika nga Katonda ayogera, bayibuli teraga oba yayogera mu ddoboozi oliwulirwa n’amatu, oba ddoboozi lya munda, oba okuyita mu birowoozo.

Katonda tayogera n’abantu lero. Okusooka, Katonda ayogera okuyita mu kigambo kye (2 Timoseewo 3:16-17). Isaaya 55:11 etugamba nti “bwe kityo me kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.” Bayibuli kigambo kya Katonda, erina buli kimu kyetwetaaga okumanya okusobola okulokolebwa n’okutambulira mu bulamu obw’ekristaayo. Petero 1:3 egamba, “kubanga obuyinza bw'obwakatonda bwe bwatuwa byonna eby'obulamu n'eby'okutya Katonda, olw'okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw'ekitiibwa n'obulungi bwe ye;”

Katonda asobola okwogera naffe okuyita mw’ebyo ebitukawo – okugeza, Asobola okukukulembera ng’ayita mu kutekateka ebyo ebitutukako. Era Katonda atuyamba okumanya ekirungi n’ekikyamu nga ayita mwebyo ebitutukako (1 Timosewo 1:5; 1 Petero 3:16). Katonda ali mu kaseera ak’okukyuusa endowooza zaffe okulowooza nga bwalowooza.(Abaruumi 12:2). Katonda akkiriza ebintu ebimu okutukawomu mu bulamu bwaffe okusobola okutulaga ekkubo, okutukyusa, n’okusobola okutuyamba okukula mu mu mwoyo.(Yakobo1:2-5; Abaebbulaniya 12:5-11). 1 Petero 1:6-7 atujjukiza, “Obwo bwe mujagulizaamu, newakubadde nga mwanakuwazibwa mu kukemebwa okutali kumu akaseera akatono kaakano, oba nga kibagwanira, okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa:”

Katonda asobola okwogera mu ddoboozi ely’olwatu eri abantu. Wabula kino kibusibwabuusibwa okuba nti kitukawo emirundi gyonna abantu gyebagamba Katonda nti Katonda ayogedde nabo. Omuntu yenna bwagamba nti Katonda ayogedde naye, olina okukebera oba byayogera bifanagana ne Bayibuli byeyogera. Singa Katonda aba wakwogera lero, ebigambo bye bilina okuba nga bikkiriganya n’ebyo byeyayogera mu Bayibuli( 2 Timoseewo 3:16-17). Katonda teyekontana.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala Katonda ayogera gyetuli mu nnaku zino?
© Copyright Got Questions Ministries