settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kki ku zi dayimooni?

Okuddamu


Dayimooni bamalayika abaagwa, nga Okubikkulirwa 12;9 bwetugamba: “N'ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw'edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w'ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.” Okugwa kwa sitaani okuva mu Gulu kulagibwa mi Isaaya 14:12-15, mu ngeri ey’ekifaananyi nemu Ezekyeeri 28:12-15. Sitaani bweyagwa, yagwa wamu ne ba malayika abamu—ekitundu kimu kyabisatu, okusinzira ku Kukubikulirwa 12:4. Yuda 6 naye ayogera abayonoona. N’olwekyo, okusinziira ku Bayibuli, dayimooni, bamalayika abaagwa wamu ne sitaani era abasalawo okujemera Katonda.

Ezimu ku dayimooni zikumirwa “mu njegere ez'ennaku zonna wansi w'ekizikiza”(Yudda 1:6) olw’ekibi kyabwe. Endala zilina eddembe okutaayaaya era ziyitibwa, “abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu. Mu Abaefeeso 6:12. (cf Abakkolosaayi 2:15). Zi dayimooni zikyagoberera sitaani nga mukama waazo era zikyalwana ne bamalayika abatukuvu nga zigezaako okulemesa enteekateeka ya Katonda era n’okulemesa abantu ba Katonda. (Daniel 10:13).

Zi dayimooni, kubanga myoyo, zilina obusobozi okuwamba omubiri. Okutulibwamu eba okwambalwa dayimooni kutuukawo ng’omubiri gw’omuntu bwegufugibwa dayimooni. Kino tekisobola kutukaawo ku mwana wa Katonda, kubanga Omwoyo Mutukuvu atuula mu mutima gw’omukkiriza mu Kristu Yesu ( 1 Yokaana 4:4).

Mu biseera by’obuwereza bwa Yesu, yasanga dayimooni nyingi. Ku zonna, tewali yalina manyi nga aga Yesu. “ Obudde bwali buwungedde; ne bamuleetera bangi abakwatiddwa dayimooni: n'agoba dayimooni n'ekigambo n'awonya bonna abaali balwadde:” (Matayo 8:16). Obuyinza bwa Yesu eri emizimu kali kamu ku bubonero obukakasa nti Yesu mwana wa Katonda. (Lukka 11:20). Dayimooni Yesu zeyasanga zali zimanyi Yesu yaani, “Laba, ne boogerera waggulu ne bagamba nti otuvunaana ki, Omwana wa Katonda? ozze wano kutubonyaabonya ng'entuuko zaffe tezinnaba kutuuka?” (Matayo 8:29). Dayimooni zaali simanyi nto enkomerero yaazo egenda kubaamu okubonaboona.

Sitaani ne zi dayimooni ze kakano zinonya kulemesa oba kwonoona mirimu gya Katonda era okulimba buli gwezisobola okulimba (1 Peteero 5:8; 2 Abakkolinso 11:14-15 ). Dayimooni zayitibwa nga emyoyo emibi (Matayo 10:1), dayimooni (emyoyo emikyafu), emyoyo emilimba (1 Bassekabaka 22:23), bamalayika ba sitaani (Okubikkulilwa 12:9). Sitaani ne zi dayimooni ze abalimba ensi (2 Abakkolinso 4:4), emyoyo egikyamya nga gisasanya ensomesa enkyamu. (1 Timoseewo 4:1) egilumba abakristaayo (2 Abakkolinso 12:7; 1 Petero 5:8), era egilwanyisa bamalayika abatukuvu (Okubikkulirwa 12:4-9).

Zi dayimooni oba bamalayika abaagwa balabe ba Katonda, wabula abalabe abawangulwa. Kristu, yayambulira ddala obwami n’obw’amasaza, n'abawemuukiriza mu lwatu, bwe yabawangulira ku musaalaba. (Abakkolosaayi 2:15). Nga twewaayo eri Katonda era nga tugaana sitaani, tetulina kuba na kutya kwonna. “kubanga ali mu mmwe asinga obukulu ali mu nsi.” (Yokaana 4:4).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kki ku zi dayimooni?
© Copyright Got Questions Ministries