settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bwolokola osigala oli mulokole?

Okuddamu


Yye, Abantu bwebamanya Kristu ng'omulokozi wabwe, bafuna enkolagana ekakasa okulokolebwa kwabwe okubeera okunyweevu emirembe gyona. Obulokozi bunene okusinga okusaba esaala oba okusalawo okugoberera Kristu. Obulokozi kikolwa kya Katonda yekka nga mu kyo, omwonoonyi anaazibwa era azaalibwa buggya omwoyo mutukuvu (Yokaana 3:3; Tito 3:5) Obulokozi bwebutukaawo, Katonda awa omulokole omutima omuggya era namuteekamu omwoyo omuggya mu yye (Ezekyeri 36:26) Omwoyo aletera omuntu alokose okutambulira mu kugondera ekigambo kya Katonda. (Ezekyeri 36:26-27; Yakobo 2:26). Ebyawandiikibwa bingi biraga obulokozi ng'ekikolwa kya Katonda era bwewatali kisobola kubukugibwako.

(a) Abaruumi 8:30 egamba " era be yayawula edda, abo era yabayita: era be yayita, yabawa abo era obutuukirivu: era be yawa obutuukirivu, yabawa abo era ekitiibwa." Olunyiriri luno lutulaga nti okuva katonda lwatulonda, kirabika nga tuba twaweebwa dda ekitiibwa mu kuberawo kwe mu Ggulu. Tewali kisobola kulemesa mukkiriza okuva ku lunaku olusooka okuweebwa ekitiibwa kubanga Katonda yakitegeka dda mu Ggulu. Omuntu bwamala okuweebwa obutukkirivu, obulokozi bwe bunywezebwa era bukuumibwa – abeera munywevu ng'eyawebwa edda ekitiibwa mu Ggulu.

(b) Pawulo abuuza ebibuuzo ebikulu mu Abaruumi 8:33-34 "Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda abawa obutuukirivu: ani alibasalira omusango? Kristo Yesu eyafa, oba okusinga eyazuukira, ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, era atuwolereza. Ani alisalira omusango eri abalonde ba Mukama? Tewali, kubanga Kristu ye muwolereza waffe." Ani anatusalira omusango? Tewali, kubanga Kristu, oyo eyatufirira, ye yekka atusalira omusango. Tulina omuwolereza ate nga yemulamuzi kyoka nga ye mulokozi waffe.

(c) Abakkiriza bazaalibwa omulundi ogw'okubiri (Okuzalibwa obuggya) bwebakkiriza (Yokaana 3:3; Tito 3:5) Omulokole okufiirwa obulokozi, alina okugyibwaako okuzaalibwa okuggya nafuuka nga ng'atazaalibwa buggya (Mulundi gwa kubiri). Bayibuli terina weraga nti okuzalibwa obuggya kuyinza okutwalibwa.

(d) Omwoyo omutukuvu atuula mu bakkiriza bona (Yokaana 14:17; Abaruumi 8:9) era n'abatiza abakkiriza bona okuyingira mu mubiri gwa Kristu (1 Abakolinso 12:13) Omukkiriza okugyibwaako obulokozi, ayina okugyibwako omwoyo atuula mu yye era nagyibwa ku mubiri gwa Kristu.

(e) Yokaana 3:15 egamba nti buli akkiriza Yesu Kristu "alifuna obulamu obutaggwaawo" Bwokkiriza Kristu olwalero n’ofuna obulamu obutaggwaawo, ate n’obufiirwa enkya , kitegeeza nti tebwaali bulamu obutaggwaawo. Kitegeeza nti bwofiirwa obulokozi bwo, ekisuubizo eky'obulamu obutaggwaawo mu Bayibuli si kituufu oba kirina ensobi.

(f) Okumaliriza ensonga eno, Ebyawandiikibwa bitugamba bulungi, "Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe" (Abaruumi 8:38-39). Jukira nti Katonda eyakulokola, ye Katonda y’Omu ajja okukumira mu bulokozi. Obulokozi bwaffe bunywevu gguluggulu, emirembe gyona.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bwolokola osigala oli mulokole?
© Copyright Got Questions Ministries