settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kki ku kunywa Omwenge? Kibi omulokole okunywa omwenge oba Wayini?

Okuddamu


Ebyawandiikibwa byogera bingi ku kunywa omwenge(Abaleevi 10:9; Okubala 6:3; Ekyamateeka 29:6; Ekyabalamuzi 13:4, 7, 14; Engero 20:1; 31:4 Isaiah 5:11, 22; 24:9; 29:9; 56:12). Wabula, ebyawandiikibwa tebigaana mulokole kunywa biya, Wayini, oba eky'okunywa kyona ekirala ekirimu omwenge. Amazima, ebyawandiikibwa ebirala byogera birungi ku mwenge. Omubuulizi 9:7 ayogera," Weegenderenga, olyenga emmere yo ng'osanyuka, onywenga omwenge gwo n'omutima ogujaguza", Zabbuli 104 14-15 egamba,"Amereza ente essubi, N'omuddo okuweereza abantu; Balyoke baggyenga emmere mu ttaka; N'omwenge ogusanyusa omutima gw'abantu, N'amafuta ganyirizenga amaaso ge, N'emmere ewa omuntu amaanyi omutima gwe." Amosi 9:14 eyogera ku kunywera mu lusuku lwo olw'emizabbibu nga akabonero ak'omukisa Isaiah 55:1 etuzaamu amanyi mu nsonga eno ng'egamba, "mujje mugule omwenge n'amata..."

Katonda kyalagira abakkiriza ku mwenge kwe kwewala obutamiivu (Abaefeeso 5:18). Bayibuli egaana obutamiivu na byonna ebibuvaamu (Engero 23:29-35). Abakkiriza balagibwa obutakkiriza kintu kyona kufuga mibiri gyabwe. (1 Abakolinso 6:12, 2 Peter 2:19). Okunywa omwenge omungi tekyegaanika, kiletera okulemererwa okugufuga. Ebyawandiikibwa era bigaana omukkiriza okukola ekintu kyonna ekisobola okwesitaza abakkiriza abalala oba okubaletera okwonoona eri endowooza zaabwe. (1 Abakolinso 8:9-13). Bwewekeeneenya enkola zino, kiba kizibu omulokole yenna okugamba nti anywa omwenge mu bungi okuwa Katonda ekitiibwa. (1 Abakolinso 10:31).

Yesu yakyuusa amazzi, nagafuula omwenge. Kisoboka okuba nga Yesu yanywa wayini ku mukolo (Yokaana 2:1-11; Matayo 26:29). Mu biseera eby'endagaano empya, amazzi tegali mayonjo nnyo. Ng'ogyeko enkola ez'obuyonjo enongooseemu, amazzi gali gajudde obuwuka obuleeta endwadde ezabuli kyika, n'obukyafu obwabuli kyika. Kino tukiraba mu nsi ezisinga obwavu. Olw'ensonga eyo, abantu banywanga wayini (Oba omubisi gw'emizabibu), kubanga ebiseera ebisinga omubisi oba wayini yali muyonjo. Mu 1 Timoseewo 5:23, Pawulo alagira Timoseewo obutanywa mazzi (agayinza okuba nga gamuletera okulumwa olubuto), wabula anywe omwenge. Mu biseera ebyo, wayini yaterekebwanga okufuuka omwenge, wabula ekigera ekitamiiza tekyali kinene nga wayini ow'ebiseera bino. Ebyawandiikibwa tebigaana Mukristaayo kunywa biya, wayini oba eky'okunywa kyonna ekirimu omwenge. Omwenge mu bwagwo si mubi. Obutamiivu, n'obutafuga mwenge by'ebintu omukkiriza oba omukristaayo byalina okwewala (Abaefeso 5:18; 1 Abakolinso 6:12).

Omwenge, bweguba nga gunywereddwa mu kigera ekitono, ssi mubi era gusobola okufugibwa. Abasawo balagira okunywa ka wayini akamyufu olw'omugaso gwako omunene eri omutima. Okunywa omwenge mu kigera ekitono nsonga erina okusalibwawo omukristaayo era omukristaayo alina eddeembe mu nsonga enno. Obutamiivu n'obutafuga kunywa mwenge kibi. Wabula, olw'ebyo Bayibibuli by'etunuulira ebikwata ku mwenge n'ebiguvaamu, olw'okukemebwa okunywa omwenge mu bungi nga kwogasse obwangu omuntu bwabeera nabwo okuzza emisango era/oba okwesitaza abalala, ebiseera ebisinga kirungi Omukristaayo obutanywa mwenge.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kki ku kunywa Omwenge? Kibi omulokole okunywa omwenge oba Wayini?
© Copyright Got Questions Ministries