settings icon
share icon
Ekibuuzo

Okukuba zaala kibi? Biki Bayibuli byeyogerako kukukuba Zaala?

Okuddamu


Bayibuli teyogera ku Zaala oba okubetiinga. Wabula Bayibuli etulabula okwewala okwagala sente( 1 Timoseewo 6:10, Abaebbulaniya 13:5) Ebyawandiikibwa era bitulabula okwewala okugagawala amangu( Engero 13:11; 23:5; Omubuulizi 5:10) Okuzanya zaala okusingira ddala kwesigamye ku kwagala sente era abantu okugezaako okugagawala mu ngeri enyangu.

Kibi kki ekiri mu kuzanya zaala? Okuzanya zaala, nsonga nzibu kubanga bwekuba tekukolwa buli lunaku, kati awo kuba kwonoona sente, wabula kiba kibi ekyetaagisa. Abantu bonoona sente mu bintu bingyi. Okuzanya zaala kwonoona sente ng'okulaba firimu(ebiseera ebisinga), okulya emere eyebeeyi etetaagisa, oba okugula ebintu ebyebeeyi ebitalina mugaso. Mu kaseera ke kamu, okuba nga sente zonoonebwa mu bintu ebirala bingyi, tekitegeeza nti zaala awo naye aba mutuufu. Sente tezilina kwonoonebwa. Sente esuka mwezo ezetagiibwa zilina okuterekebwa okukola ku byetaago ebyomu maaso, oba zilina okuweebwa eri omulimu gwa Katonda, wabula si kuzikubamu zaala.

Newankubadde nga Bayibuli teyogera ku Zaala, eyogera ku bintu nga kyansi, oba okuteeba. Ng'ekyokulabirako, okukuba obululu kukolebwa mu Ky'abaleevi okulonda embuzi ey'okuwaayo nga saddaka ey'ebibi n'eyokusindikiriza mu dungu. Yoswa akuba obululu okulaba ani anabeera munda mu bisenge bya Yerusalemi. Abatume bakuba obululu okulonda ani anadda mu bigere bya Yudda. Engero 16:33 egamba," Akalulu kasuulibwa okulaba ekivaamumu; Naye Mukama yasalawo ekivaamu."

Bayibuli eyinza kugamba kki ku zi Kasino n'ebifo ebya zaala? Zi kasino zikozesa buli ngeri yonna okuwaliriza omukubi wa zaala okukozesa sente zonna zasobola mubungi bwazo. Bawaayo omwenge ogwebeeyi oba ogw'obwerere, ekiwagira obutamiivu, era n'ekiretera omuntu okuba nga tasobola kulowooza bulungi ng'asalawo. Buli kimu mu Kasino kyabubba okusobola okutwaala sente mu bungi nga tewali kyebawaddeyo okujako esanyu olifumuuka ng'empewo. Ebifo ebilara ebilimu okuba obululu, zikola mu ngeri y'okuwagira eby'enjigiriza, oba ebintu ebifa ku mbeera za bantu ba bulijjo. Wabula okunonyereza kulaga nti abantu abetaba mu buzanyo buno si bebantu abalina kwetabamu kubanga tebasobola kugula tiketi za bululu buno. Okwagala okugagawala amangu kukemebwa kunene eri abo abayayana okugagawala. Emikisa gy’okuwangula mitono nnyo, ekiretera obulamu bw'abantu bangyi okwonooneka.

Okukuba obululu okuwangula kusobola okusanyusa Katonda? Abantu abangyi bagamba bayigira mu kukuba obululu bwa zaala okusobola okuwa sente eri ekanisa oba eri ekintu kyona ekirungi. Newankubade ng'ekigendererwa kisobola okuba ekirungi, amazima gali nti, abantu batono abakozesa sente za zaala okukola emirimu gya Katonda. Okunonyereza kulaga nti, abawangula obululu babeera baavu okusinga bwebaali nga tebanawangula bululu. Katonda teyetaaga sente zaffe kukola mirimu gye munsi. Engero 13:11 egamba,"Obugagga obufunibwa olw'ebigambo ebitaliimu bulikendeezebwa: Naye oyo akuŋaanya ng'akola emirimu aliba n'okwala." Katonda yemalirira era aja kugabirila ebyetaago by'ekanisa. Osubiira Katonda ayinza okusanyukira sente ezivudde mu kutuunda enjaga oba ezibiddwa okuva mu banka? Nedda. Munsonga yemu, Katonda teyetaaga sente "zibbiddwa" okuva "ku baavu", n'ekigendererwa eky’okugagawala.

Timoseewo ekisooka 6:10 egamba,"Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky'ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n'ennaku ennyingi". Abaebbulaniya 13:5 egamba, "Mubeerenga n'empisa ey'obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini yagamba nti Sirikuleka n'akatono, so sirikwabulira n'akatono." Matayo 6:24 egamba," Tewali muntu ayinza kuweereza baami babiri: kuba oba anaakyawanga omu, n'ayagalanga omulala; oba anaanywereranga ku omu, n'anyoomanga omulala. Temuyinza kuweereza Katonda ne mamona.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Okukuba zaala kibi? Biki Bayibuli byeyogerako kukukuba Zaala?
© Copyright Got Questions Ministries