settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli esomesa kki ku Busatu obwa Katonda?

Okuddamu


Ekintu ekikyasinze okuba ekikalubo ku nsomesa y'obusatu kiri nti, tewali ngeri yakugisomesaamu emala okugitegeera obulungi. Obusatu y'ensonga etasobola kutegerebwa muntu yenna, n'okunyonyola okugimalayo. Katonda munene okusinga ffe era okusinga bwetuyinza okutegeera. Tetulina kulowooza nti tusobola okumutegeera okumumalayo. Bayibuli esomesa nti Kitaffe Katonda, Yesu Katonda, era nti n'Omwoyo Mutukirivu Katonda. Bayibuli era esomesa nti Katonda ali omu. Newankubadde tusobola okutegeera amazima agamu kubuli ali mu busatu obwa Katonda, amazima gali nti obwongo bw'omuntu tebusobola kutegeera bulungi mazima gonna. Wabula, kino tekitegeeza nti obusatu si butuufu oba nti ensomesa y'obusatu ssi ya Bayibuli.

Obusatu butegeeza Katonda omu ali mu basatu. Kitegeere nti kino tekitegeeza ba Katonda basatu. Era kimanye nti bwoba osoma ku mulamwa guno nti ekigambo "Obusatu" tekiri mu Bayibuli. Kino kigambo ekikozesebwa okunyonyola abali mu Busatu nga babeerawo bonna omulundi gumu, era nga bonna baberera emirembe gyonna era nga Katonda. Kikulu nnyo okutegeera nti omulamwa ogukyikirirwa ekigambo Obusatu teguli mu Bayibuli. Bino wamanga ekigambo kya Katonda byekyogera ku Busatu.

1. Katonda ali omu (Ekyamateeka 6:4; 1 Abakolinso 8:4; Abagalatiya 3:20; 1Timoseeyo 2:5)

2. Obusatu bulimu basatu (Oluberyeberye 1:1, 2:6; 3:22; 11:7; Isaaya 6:8; 48:16; 61:1; Matayo 3:16-17; 28:19; 2 Abakolinso 13 13:14) Mu Oluberyeberye 1:1, ekigambo eky'olwebbulaniya Elohim (Soma Elokiimu) kitegeeza abasukka mw'omu, n'ekigambo "Katukole". Newankubadde enyinyonyola enno tematiza, wabula esonga ku basukkuluma kw'omu mu Busatu. Ekigambo ekitegeeza Katonda, Elohimu (Soma Elokiimu) mu lw'ebbulaniya kisobozesa obusatu.

Mu Isaaya 48:16 ne 16:1, omwana ayogera ku Taata n'omwoyo omutukkirivu. Wetegere Isaaya 61:1 Wamu ne Lukka 4:14-19. Matayo 3:16-17 enyonyola ebyatukawo ku kubatiza kwa Yesu. Tulaba Omwoyo omutukuvu nga akka ku Katonda omwana era nga Katonda Kitaffe ayogera kungeri gyasanyukira omwana. Matayo 28:19 ne 2 Abakolinso 13:14 byakulabirako ebya abasatu abali mu Busatu obwa Katonda.

3. Abali mu busatu banjawulo okusinziira ku byawandiikibwa eby'enjawulo. Mu ndagaano enkadde, "MUKAMA" ayawukana ku "Mukama" (Oluberyeberye 19:24; Koseya 1:4). MUKAMA mu Zabbuli 2:7, 12; Engero 30:2-4 ategeeza Omwana. Omwoyo omutukuvu ayawulibwa ku mu MUKAMA mu Kubala 27:18 era ku Katonda Taata ( Zabbuli 45 6-7 Abaebbulaniya 1:8-9) Mu ndagaano empya, Yesu ayogera ku Taata ku nsonga y'okusindika omwoyo Omuyambi, Omwoyo mutukuvu (Yokaana 14:16-17). Kitegeeza nti Yesu teyetwaala kuba Taata oba omwoyo mutukuvu. Tunuulira emirundi emirala Yesu mu njiri Yesu weyayogera ku Kitaawe. Yali yeyogerako? Yali ayogera ku muntu omulala mu Busatu- Kitaawe.

4. Buli ali mu Busatu Katonda. Taata Katonda( Yokaana 6:27; Abaruumi 1:7; 1 Petero 1:2). Omwana Katonda(Yokaana 1:1, 14; Abaruumu 1:7; Abakolosaayi 2:9; Abaebbulaniya 1:8; 1 Yokaana 5:20). Omwoyo Omutukuvu Katonda( Ebikolwa 5:3-4; 1 Abakolinso 3:16).

5. Waliwo okwekakanira mu Busatu. Ebyawandiika biraga nti Omwoyo mutukuvu agondera Katonda Taata era n'omwana, n'omwana agondera Katonda Taata. Enkolagana eno yamirembe gyonna era teyingira mu bwakatonda byoyo yenna ali mu Busatu. Enno yemu ku nsonga obwongo bwafe obukoma gye butasobola kutegeera ku Katonda atakoma. Ku mwana laba Lukka 22:42, Yokaana 5:36, Yokaana 20:21, ne 1 Yokaana 4:14. Ebikwata ku mwoyo mutukuvu, laba Yokaana 14:16, Yokaana 14:26, 15:26, 16:7, n'okusingira ddala Yokaana 16:13-14.

6. Buli ali mu Busatu alina omulimu ogwenjawulo. Katonda Taata ye mutandisi era ensibuko yensi.(1 Abakolinso 8:6; Okubikkulirwa 4:11); okubikkulirwa kw'obwakatonda (Okubikkulirwa 1:1); Obulokozi (Yokaana 3:16-17); era emirimu gya Yesu egy'obuntu(Yokaana 5:17, 14:10). Katonda Taata yatandiika buli kimu.

Omwana ye musigire Katonda Taata gw'ayitamu okukola emirimu gino wamanga; okutonda n'okulabirila ensi(1 Abakolinso 8:6; Yokaana 1:3; Abakkolosaayi 1:16-17); okubikkulilwa kw'obwakatonda (Yokaana 1:1, 16:12-15; Matayo 11:27; Okubbikulirwa 1:1); era obulokozi(2 Abakolinso 5:19; Matayo 1:21; Yokaana 4:42). Katonda Taata akola byonna okuyita mu mwana, akola ng'omusigire oba ejenti we.

Katonda Taata mukuyita mu Mwoyo Mutukuvu Akola ebintu bino wamanga: Okutonda n'okulabirila ensi (Oluberyeberye 1:2; Yobbu 26:13; Zabbuli 104:30); okubikkulirwa okw'obwakatonda (Yokaana 16:12-15; Abaefeeso 3:5; 2 Petero 1:21); obulokozi (Yokaana 3:6; Tito 3:5; 1 Petero 1:2); n'emirimu gya Yesu (Isaaya 61:1; Ebikolwa 10:38). Kitegeeza nti Katonda Taata akola byona okuyita mu manyi g'Omwoyo Mutukuvu.

Wabaddewo okukegezaako kungi okulaga Obusatu mu bifananyi ebisobola okutegerebwa obwongo bw'omuntu wabula, tewali kifanaanyi kyatiikiirivu kituufu, okugeza ekifaananyi ky'ejji oba apo. Ejji liremererwa kubanga ekisusunku, enjuba, n’ekyeru bitundu ku jji, wabula ssi buli kitundu kubino nti kisobola okubeera jji ku lwakyo. Kyekimu ne apo, ekikuta, ekinyama, n'ensigo bitundu ku apo, wabula ssi nti buli kitundu kiba apo kulwakyo.

Katonda Taata, omwana, n'omwoyo mutukuvu ssi bitundu ku Katonda, buli omu Katonda. Ekifaananyi ky'amazzi kisingako, wabula nakyo tekimala kunyonyola Busatu. Amazzi, Balaafu oba ayisi, n'omukka (Vapor) byonna ngeri ya amazzi kubanga kyonna bisobola okufulibwa amazzi. Katonda Taata, Omwana, n'omwoyo ssi ngeri ya Katonda, Buli omu Katonda. Newankubadde ebifaananyi bino bisobola okutuwa ekifanaanyi ky'Obusatu, tebimala era tebinyonyola bulungi nsonga eno. Katonda atakoma tasobola kunyonyolwa ngokozesa ebintu ebikoma.

Ensomesa y'Obusatu ebadde nsonga elese okwawukana mu bantu okuva mu byafaayo by'ekanisa y'Abakristaayo. Newankubadde ng'ebikwata ku Busatu biragibwa mu byawandiikibwa, ebimu tebitegerekeka bulungi. Taata Katonda, Omwana Katonda, n'Omwoyo Mutukuvu Katonda—wabula Katonda ali omu. Eyo yensomesa ya Bayibuli ku Busatu. Okusukuluma kwebyo, ebisigadde biba byakukubaganyizibwaako birowoozo era tebirina nnyo makulu. Mukifo ky’okugezaako okunyonyola obulungi Obusatu nga tukozesa obwongo bwaffe obulina webukoma, kyandibadde kirungi okuteeka essira ku mazima ga Katonda okuba omunene era owamanyi era atakoma."Obuziba bw'obugagga obw'amagezi n'obw'okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! emisango gye nga tegikeberekeka, n'amakubo ge nga tegekkaanyizika! Kubanga ani eyali amanye ebirowoozo bya Mukama? oba ani eyali amuwadde amagezi?" Abaruumi 11:33-34.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli esomesa kki ku Busatu obwa Katonda?
© Copyright Got Questions Ministries