settings icon
share icon
Ekibuuzo

Amazima agatuukiridde. Ddala gyegali?

Okuddamu


Okusobola okuteegera amazima amatuufu, oba ag;ensi yonna, tulina kutandikira ku kuzuula mazima. Amazima kitegeeza ekintu ekyekute ku bukakafu oba ekintu eky’obuliwo, ekikkirizibwa era nga kituufu. Abantu abamu basobola okugambe nti tewali tewali kintu mu buliwo kituufu wabula buli kimu kisinziira ku ndowooza oba ndaba y’omuntu. Abalala nebagamba nti walina okubawo amazima agatuukiridde era amatuufu.

Endowooza endala egamba nti tewali bintu bituufu ku lwabyo ebiraga ebintu ebyaddala. Abo abakkiriza mu ndowooza eno bakkiriza nti buli kintu ki kilina enkaaso oba akakakwte ku kirala nekitegeeza nti tewali tewali kintu kituufu ku lwakyo. Olw’ensonga eyo, tewasobla kubaawo mpisa ntuufu oba nkyamu ku lwayo, tewaliiwo buyinza bwona busobola kusalawo ku kintu oba kirungi oba kibi oba kikkirizibwa oba tekkirizibwa. Endowooza eno eretera endowooza nti ekituufu oba ekikyamu kyawukana okusinziira ku mbeera eriwo. Tewali kituufu oba kikyamu, n’olwekyo, kyoka omuntu kyawulira mu kaseera akamu ng’ali mu mbeera emu kiba kituufu okusinziira ku mbeera eyo. Amazima gali nti endowooza eno eretera buli muntu okuba n’empisa ezize nga yye ekintu ekikyamu ennyo era eky’obulabe eri abantu abalala. Eno ndowooza ya mulembe guno ogwagala okuteekawo embeera ekiriza empisa zonna, n’enzikiriza zonna okuba nga zonna zikirizibwa.

Endowooza endala egamba nti waliwo mu buliwo ebintu ebinyonyola ekituufu oba ekikyamu. N’olwekyo, ebikolwa bitwalibwa okuba ebituufu okuba ebituufu oba ebikyamu olw’engeri gyebizitowamu eri enkola oba ebintu ebyo ebinyonyola kki ekituufu oba ekikyamu. Bwewaba nga tewali, nga tewali masima mu mwebyo byetulaba, waba waliwo kavuyo. Katugeze, eteeka erikwata ku bintu ebiri mu bisasukibwa mu banga okusikibwa nga biddizibwa wansi oba okugwa. Singa tewali mazima gamanyiddwa ku nsonga eyo, tetwandisoboddde kutuula mu kifo okutuusa lwetusalawo okuvaawo. Amateeka ga sayaansi gandibadde tegalina makulu era eby’obusuubuzi yandibadde tebisoboka. Buli kimu kayndibadde mu kavuyo. Wabalu kirungi nti ebiri bwogatako ebiri ofuna nnya. Waliwo amazima agamatuufu era gasobola okufunibwa.

Okugamba nti tewali mazima matuufu kuba kwogera kintu kitakola makulu. Kyoka, abantu bangi bawambatidde endowooza egaana amazima gonna. Ekibuuzo ekirungi okubuuza abantu abagamba nti “tewali mazima gaddala” kyekino: Ddala okakasa nti mu butuufu tewali mazima mazima gaddala? Bwebagamba nti “yye, baba bakkiriza nti waliwo amazima agaddala kubanga baba balowooza nti bamanyi amazima ekitegeeza nti waliwo amazima. Okugamba nti tewali mazima matuufu kuba kugamba nti waliwo amazima amatuufu.

Ng’ogyeko okwekontana, waliwo ebizibu ebirala omuntu byalina okweyoleka okusobola okukkiriza nto tewali mazima gannamaddala. Ekimu kiri nti, Amagezi g’abantu gakoma era nti obwongo bwabwe bukoma era nti tebasobola tebasobola kwegaana bintu birabika kuba kituufu. Omuntu tasobola kugamba nti “Katonda taliiyo” (newankubadde nga banji bakyogera), kubanga, okusobola okwogera ekigambo ekyo, alina okuba n’okumanya okutuufu okw’ensi yonna okuva gyetandikira okutuusa gyekoma. Olw’okuba ekyo tekisoboka, ekintu omuntu yenna kyasobola okugamba kiri nti, “N’amagezi amatono genina, ssikiriza nti waliyo Katonda.”

Ekizibu ekirala ekiri mu kugaana amazima agannamaddala kiri nti kikontana n’ebyo byetumanyi okuba ebituufu mu ndowoozaa zaffe, mu bintu byetuyisemu, ne byetulaba mu nsi eyeddala. Bwewaba nga tewali mazima gaddala, kitegeeza nti tewali tewai kintu kikyamu oba kituufu. Ekiyinza okuba nga kituufu eri gwe kisobola okuba nga ssi kituufu gyendi. Newankubadde ku ngulu, endowooza eno esobola okuba nga esanyusa, etegeeza nti buli muntu asobola okuba n’amateekage agamufuga era nga akola ekyo kyalowooza nti kituufu ku lulwe. Tekyewalika okuba nti ekituufu eri kiba kikuubagana n’ekituufu eri omuntu omulala. Kki ekituukawo singa kiba kituufu gyendi obugondera bitaala bya kunguudo newankubadde nga biraga kala myufu? Nteeka obulamu bwabantu bangi mu mattiga. Oba nsobola okulowooza nti kituufu okukubako ekintu, kyoka gwe nga olowooza nti kikyamu. Mu butuufu, enkola zaffe eziraga ebituufu oba ebikyamu ziba zekontana. Singa tewaba mazima gannamaddala, nga tewali nkola mutindo gwonna oba nkola yonna eraga kiruufu oba ekikyamu wetukebera oba kitufuga, kitegeeza nti tetugenda kuba bakakafu eri ensonga yonna. Abantu baba balina eddembe okukola kyonna kyebagala, katugeze basobola okukwata abakazi, okutta, okulimba, oba ekintu kyonna ekiringa ekyo nga tewali asobola kubakwata ku mukono kubalaga nti ekyo kyebakola kikyamu. Tewandibadde gavumenti, mateeka, oba nkola yonna ya bwenkanya kubanga tewali asobola kusalawo nti abasinga obungi mu bantu basobola okuteeka enkola ezifuga abatono. Ensi etalina mazima gankomeredde yandibadde mbi nnyo era nga tegambika.

Bwetudda mu mwoyo, endowooza eno egamba nti buli omu alina amazima agage ku bubwe ereta okubuuzabuzibwa mu bintu by’Omwoyo nga tewali diini ntuufu era nga tewali ngeri yonna muntu gyasobola kufuna nkolaggana ntuufu ne Katonda. Amadiini gonna gandibadde makyamu kubanga galowooza galina amazima ku bulamu obuja nga tufudde. Abantu bangi bakkiriza nti amadiini abiri agolekanye gasobola okuba nga gombi matuufu newankubadde nga buli limu ku go ligamba nti lyerina ekubo eritwala mu gulu. Abantu abakkiriziza mu ndowooza eno bawakanya Abalokole abakkiriza okuva mu Bayibuli nti Yesu ly’ekubo n’amazima, n’obulamu, era nti yye kwekulabisibwa kw’amazima era nga ye kubo lyokka eritwala mu gulu. (Yokaana 14:6).

Okukkiriza buli kimu kifuuse emisa mu mulembe guno nga omuntu yenna agamba nti yalina amazima atwalibwa okuba omubi era atakkiriza bintu byonna kukolera wamu. Enzikiriza yonna naddala ekkiriza mu mazima amatuufu etwalibwa okuba enkyamu era embi. Abo abagaana amazima bagamba ebiseera ebisinga nti tekirina buzibu kukkiriza kyonna kyoyagala kasita oba nga tokuba bantu nzikiriza yo. Wabula endowooza eno nzikiriza ekwata ku kikyamu n’ekituufu, era abo abakiriza mu ndowooza eno bagezaako okujikua abantu abalala. Bateekawo enkola gyebakaka abantu abalala okugoberera, nebamala ng’ate basobeza endowooza yabwe yenyini egaana okukuba abantu ebo byokiriza era nebamaliriza nga bekontanye. Bwewaba nga aliwo amazima kitegeeza nti waliwo enkola entuufu eziraga ekikyamu n’ekituufu, era enkola eyo yetufuga. Okufugibwa kuno abantu abalala kwebawakanya bebaba nga bawakanya amazima.

Okugaana amazima agannanaddala n’empisa wamu n’enkola ezivaamu kyeki byebuddemu endowooza y’okweyubula kw’ebitonde okukyaaka ensangi zino mu ngeri y’okunyonyola obuvvo bw’obulamu. Bweba nga endowooza eno ntuufu, kitegeza nti obulamu tebulina makulu, tetulina kiruubirirwa, era tewasobola kubaawo kituufu oba kikyamu. Omuntu waddembe okubeerawo nga bwayagala era talina gwalina kuwa mbalirira y’ebikolwa bye. Kyoka, omuntu gyakoma okwegaana okubaawo kwa Katonda n’amazima, aliyimirira mu maasoge (mu maaso ga Katonda) okusalirwa omusango. Bayibuli agamba nti, “kubanga ebya Katonda ebimanyika birabika eri bo: kubanga Katonda yabibalabisa. Kubanga ebibye ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; babeere nga tebalina kya kuwoza: kubanga, bwe baamanya Katonda, ne batamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne guzikirizibwa. Bwe beeyita ab'amagezi, so nga baasiruwala,”(Abaruumi 1:19-22).

Ddala waliwo obukakafu bwonna ku kubaawo kw’amazima? Yye. Okusooka, waliwo endowooza, erimu ekintu ekitubuulira ensi bwerina okuba., nti ebintu ebimu bituufu era ebirala bikyamu. Endowooza zaffe zitukakasa nti kubonaabona, okulumwa enjala, okuwata abakazi, obubi ssi birungi era nekijjukiza nti okwagala, okugaba, ekisa, emirembe, by’ebintu ensi kwerina okutambulira. Kino kituufu buli wamu mu nsi mu buwangwa bwonna ebiseera byonna. Bayibuli enyonyola omugaso gw’endowooza y’omuntu mu Abaruumi 2:14-16: “kubanga ab'amawanga abatalina mateeka bwe bakola mu buzaaliranwa eby'amateeka, abo, bwe bataba na mateeka, beebeerera amateeka bokka: kubanga balaga omulimu gw'amateeka nga gwawandiikibwa mu mitima gyabwe, omwoyo gwabwe nga gutegeeza wamu, n’ebirowoozo byabwe nga biroopagana oba nga biwozagana byokka na byokka; ku lunaku Katonda kw'alisalira omusango gw'ebyama by'abantu ng'enjiri yange bw'eri, ku bwa Yesu Kristo.”

Obukakafu obw’okubiri obulaga nti amazima wegali ye sayansi. Sayansi mu bimpimpi kwekunoonya amagezi, essomo kw’ebyo byetumanyi, n’okunonya okwongera okumanya. N’olwekyo, okusoma kwonna okwa Sayansi kulina okuba nga kwesigamye ku nzikiriza nti amazima gyegali mu nsi era nti gasobola okuzuulibwa n’okukakasibwa. Awatali mazima gankomeredde, waba waliwo kiki ekiba kisigadde okusomebwako. Omuntu asobola atya okutegeera oba okunonyereza okukolebwa mu sayansi kutuufu? Mu mazima, amateeka ga sayansi gasimbiddwa ku musinji gwa mazima ag’enkomeredde.

Obukakafu obw’okusatu obulaga okubaawo kw’amazima y’ediini. Amadiini gonna ag’ensi gagezaako okuwa makulu g’obulamu. Gazaalibwa okuva mu kwagala kw’omuntu okufuna ekyo ekisinga okubaawo obubeezi ku nsi. Okuyita mu diini, omuntu anoonya Katonda, esuubi ly’ebiseera by’omumaso, okusonyiyibwa kw’ebibi, okuba n’eddembe mu kutawaana, n’okuddibwamu eri ebibuuzo ebisinga okuba eby’ebuziba. Ediini bukkafu nto omuntu asingawo ku nsolo obusolo eyeyubula. Bukakafu obulaga ekiruubirwa ekyawagulu era ekirage nti waliwo omutonzi eyateeka mu muntu okwagala okumumanya. Bwewaba nga waliwo omutonzi, awo ayabeera ensibuko era omutindo ogusinga okuba ogwawaggulu ogwamazima era obuyinza obuteekawo amazima.

Ekirungi kiri nti, waliwo omutonzi era nga atubikkulidde amazima okuyita mu kigambo kye, Bayibuli. Okumanya amazima kisobola kuyita mu kuba na nkolagana n’oyo ayeyita amazima—Yesu Kristu. Yesu yeyita okuba ekubo lyokka, amazima gokka, era obulamu era nga ye kubo lyokka erigenda eri Katonda. (Yokaana 14:6). Okuba nti amazima gyegali kitusongera ku mazima nti Katonda yatonda egulu n’ensi era eyeraga ffe tusobole okumumanya okuyita mu nkolagana n’omwana we Yesu Kristu. Gano ge amazima amatuufu eg’enkomeredde.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Amazima agatuukiridde. Ddala gyegali?
© Copyright Got Questions Ministries