Ekibuuzo
Amawanga agasooka gavaawa?
Okuddamu
Bayibuli tetubulira butereevu wa amawanga oba langi ez’olususu ez’enjawulo gyezava. Mu mazima, waliwo egwanga limu lyokka—ely’abantu. Mu gwanga erimu, mulimu langi ez’olususu nyingi era n’ebika ebirala bingi. Abamu batebereza ntI Katonda bweyakyusakyusa ennimi ku munaala gw’Ebabbiloni (Olub 11:1-9), Yatekawo enjawulo mu mawanga. Kisoboka Okuba nga Katonda yakyusa olukusiko lw’obuzaale olw’abantu okusobozesa abantu okubeera mu biffo ebyenjawulo, katugeze abaddugavu okusobola okuba ku bifo bya Afrika ebirimu omusana omungi. Okusinziira ku ndowooza eno, Katonda yakyukyusa ennimi naletera abantu okweyawula okusinziira ku nnimi zabwe, era n’atondawo enjawulo mu lukusiko lw’endagabutonde ezamawanga okusinziira ku kifo egwanga werinabeera. Newankubadde nga kisoboka, tewali wantu wonna bayibuli wewagira ndowooza eno. Amawaga, langi z’olususu ez’abantu tewali wezikwataganyizibwa n’omunaala gw’ebabbiloni.
Oluvanyuma lw’amataba, ennimi ez’enjawulo nga zimaze okubeerawo, ebiwayi ebyali byogera ennimi ezifaanagana zeyawula. Mu kukola ekyo, olukusiko lw’obuzaale olw’ekiwayi ekimu lweyongera okunywezebwa olw’okuba nga ekiwayi ekyo kyali tekikyasobola kwegatta n’amawanga amalala. Abantu abekiwayi ekimu beyongera okwezaalamu era abantu beyongera okufaanagana mu bintu ebimu mu biwayi ebyenkawulo (byonna nga bisubirwa okuba mu lukusiko lw’obuzaale). Abantu ab’ekiwayi ekimu gyebakoma emirembe nga gitambuddeko, ennabuzaale (genes) ezenjawulo zakendera mu bungi okutuuka okuba nti abantu ab’olulimi olumu batuuka nga bafaanagana.
Enyonyola endala eri nti, Adam ne Kaawa balina ennabuzaale ezibasobozesa okuzaala abaana abaddugavu, abakitaka, n’abeeru (n’abalala abalinga abo). Kino kisobola okufaanaganako n’abafumbo ababiri abava mu mawanga agenjawulo(katugeze omweru n’omuddugavu) okuzaala abana abalangi ezenjawulo. Olw’okuba Katonda yayagala abantu okuba nga balina enfaanana ez’enjawulo, kikola amakulu okuba Katonda yawa Adamu ne Kaawa obusobozi okuzaala abaana abalina langi ez’olususu ez’enjawulo. Oluvanyuma, bakawonawo bamataba baali Nuuwa nemukyala we, batabanibe basatu nebakyala babwe—omugatte abantu munaana(Oluberyeberye 7:13). Osanga bakazi babatabani ba Nuuwa baali ba mawanga malala. Kisoboka okuba nga Mukyala wa Nuuwa naye yali wa gwanga ddala. Osanga bonna bali ba mawanga ga njawulo. Kyonna kyekiri, ekisinga obukulu ku kibuuzo kino kiri nti tuli ba gwanga limu, nga twatondebwa Katonda yonna, era nga twatondebwa olw’ekigendererwa kimu—kumuwa kitibwa.
English
Amawanga agasooka gavaawa?