settings icon
share icon
Ekibuuzo

Abayigirizwa ekumi n’ababiri(12)/ abatume ba Yesu Kristo be baani?

Okuddamu


Ekigambo “omuyigirizwa” kitegeeza omuyizi oba omugoberezi. Ekigambo “omutume” kitegeeza “omuntu atumiddwa ebweru.” Yesu bweyali nga’kyali kunsi, abamugoberera ekumi n’ababiri bayitibwa nga bayigirizwa. Abayigirizwa ekumi n’ababiri baagobereranga Yesu, ne bamuyigirako, era yeyabatendeka. Oluvanyuma lwo kuzukira n’okwambuka mu gulu, Yesu yatuma abayigirizwa be okubeera abajurirwa be (Matayo 28:18-20; Ebikolwa 1:8). olwo n’ebalyoka bayitibwa abatume. Naye, ne Yesu bwe yali akayali kunsi ebigambo omuyigirizwa n’omutume byakozesebwa ebiseera ebisinga okutegeeza ekintu ky’ekimu

Abayigirizwa ekumi n’ababiri/abatume abasooka bawandiikidwa mu Matayo 10:2-4, ”Abatume abo ekumi n’ababiri amanya gaabwe ge gano: eyasooka ye Simooni, ayitibwa Peetero, ne Andereya muganda we; Yakobo omwana we Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we; Firipo, ne Battolomaayo; Tomasi, ne Matayo omuwoozaYakobo omwana wa alufaayo ne Saddayo; Simooni omukananaayo, ne Yuda Isakalyoti,ye yamulyamu olukwe.” Bayibuli era ewaandika amanya gabayigirizwa ekumi n’ababiri/abatume mu Mako 3:16-19 ne mu Lukka 6:13-16. Bwogerageranya ebyawandiikibwa ebyo ebisatu olaba enkykakyuka entono mu mannya. Kirabika nga Saddayu (Matayo 10:3) ye yali ayitibwa “Yuda , mutaani wa Yakobo” (Lukka 6:16). Simooni omuzira yali era ayitibwa Simooni omukananaayo (Makko 3:18). Yuda Isikalyoti, eyalyamu Yesu olukwe, mukifo kye ekyomu batume ekumi n’ababiri batekawo Matiya (Bikolwa byabatume 1:20-26). Abamu ku basomesa ba Bayibuli balaba Matiya nga atali mutume era bakiriza nti Pawulo Katonda gwe yalonda okudda mubigere bya Yuda Isikalyoti omutume ow’ekumi nebbiri

Abayigirizwa ekumi n’ababiri bali bassajja ba bulijjo Katonda beyakozesa mu ngeri eyewunyisa. Mu bano ekumi n’ababiri mwalimu abavubi, omuwooza, ne n’omukulembeze. Enjiri eraga okugwa, okufuba n’okubuusabuusa okw’abasajja ekumi n’ababiri abagoberera nga Yesu Kristo. Oluvanyuma lw’okulaba okuzuukira n’okugenda mu ggulu okwa Yesu, Omwoyo mutukuvu yafuula abayigirizwa/abatume abasajja abamanyi abavuunika ensi (Ebikolwa 17:6). Enjawulo eba wa? Abayigirizwa/abatume ekumi n’ababiri bali “babaddeko ne Yesu” (Ebikolwa 4:13). Nsaba Katonda naffe twogerebweko ekintu ky’ekimu!

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Abayigirizwa ekumi n’ababiri(12)/ abatume ba Yesu Kristo be baani?
© Copyright Got Questions Ministries