settings icon
share icon
Ekibuuzo

Kiki ekituuka kwabo abatawuliranga ku Kristu? Katonda anabasalira omusango abo abatamuwulirangako?

Okuddamu


Abantu bonna balina okuwa embalirira oba bamuwulirako oba nedda. Bayibuli atugamba nti Katonda yelaze bulungi okuyita mu butonde (Abaruumi 1:20) era mu mitima gy’abantu (Omubuulizi 3:11). Ekizibu kiri nti omuntu mwonoonyi; fenna tugaana okumanya kuno okuva eri Katonda era netutamugondera.( Abaruumi 1:21-23) Singa tekyali kisa kya Katonda, twandiweredwaayo eri okwegomba kw’emitima gyaffe, okutusobozesa okutegeera engeri obulamu gyebusobola okuba nga tebigasa nga tetuli na Katonda. Katonda akikola abeyongera okumugaana ( Abaruumi 1: 24-24).

Mu mazima, ekizibu tekiri ku bantu kuba nti tebawuliranga ku Katonda. Wabula ekizibu kiri nti abantu bagaanaebyo byebawulira era byebalaba okuyita mu butonde. Eky’Amateeka 4:29 egamba, “Naye nga muyima eyo bwe munaanoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga bw'onoomunoonyanga n'omutima gwo gwonna n'obulamu bwo bwonna.” Olunyiriri luno lusomesa ensonga enkulu— buli muntu anonya Katonda mu mazima alimuzuula. Omuntu bwaba ayayaanira okumanya Katonda, Katonda aja kumweraga.

Ekizibu kiri nti “Tewali ategeera, Tewali anoonya Katonda; (Abaruumi 3:11). Abantu bagaana okumanya okuva eri Katonda okuli mu butonde era okuli mu mitima gyabwe nebasalawo okusinza katonda gwebetondedde. Kyabusiru nnyo okuwakana obwenkanya bwa Katonda okuzindika omuntu atafunangako mukisa kuwulira njiri. Abantu balina buvunanyizibwa eri Katonda eri ebyo Katonda byababikkulidde. Bayibuli egamba nti abantu bagaana okumanya kuno, era Katonda aba mwenkanya okubasindika mu geyeena.

Mu kifo ky’okuwakanya entuuko y’abo abatawulirangako njiri, ffe nga Abakristaayo tulina okukola ekisoboka okulaba nga bawulira. Twayitibwa okubunnya enjiri mu nsi yonna (Matayo 28:19-20; Ebikolwa 1:8). Tumanyi nti abantu bagaana amazima ga Katonda galabalaga okuyita mu butonde, era ekyo kirina okuzaamu amanyi okubuulira amawulire amalungi ag’obulokozi obuli mu Kristu Yesu. Okuyita mu kukkiriza ekisa kya Katonda ekiri mu Kristu Yesu, abantu webasobola okulokolebwa okuva my bibi byabwe era nebanunulibwa okuva mu bibi byabwe ne geyeena.

Bwetulowooza nti abo abatawuliranga njiri bafuna okusaasirwa okuva eri Katonda, amanyi ag’okubuulira enjiri gatuggwaamu. Era twesanga mu katubagiro. Singa abantu abatawulirangako njiri beesanga nga balokoleddwa awatali kubuulirwa, kitegeeza nti kyandibadde kirungi abantu obutababuulira njiri kubanga emikisa mingi ogy’okujigaana nebasalirwa omusango.

Bayibuli eyogera bulungi nti abafa nga tebalina Kristu baja kumalira mu geyeena. Ekiragiro kya Yesu eky’okubuulira enjiri kikyakola. Abantu balina okuyita erinnya lya Mukama, naye, “Kale balikaabirira batya gwe batannakkiriza? era balikkiriza batya gwe batannawulirako? era baliwulira batya awatali abuulira? era balibuulira batya nga tebatumiddwa? nga bwe kyawandiikibwa nti Ebigere byabwe nga birungi?” (Abaruumi 10:14-15). Abatawuliranga ko ku Kristu betaaga okuwuulira era ekyo kireteera Pawulo okugamba nti, “kubanga zinsanze, bwe ssibuulira njiri.” (1 Abakkolinso 9:16).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Kiki ekituuka kwabo abatawuliranga ku Kristu? Katonda anabasalira omusango abo abatamuwulirangako?
© Copyright Got Questions Ministries