Ekibuuzo
Abantu abakkiriza nti obunnabbi bw’enkomereo y’ensi batukkirira dda balina ndowooza kki ku nkomerero y’ensi?
Okuddamu
Okusinziira ku nsomesa egamba nti obunnabbi obukwata ku nkomerero y’ensi bwatukkirira dda, obunnabi bwonna obwa Bayibuli bwayita dda era byafaayo. Ensomesa eno etwala ekitabo ky’Okubikkulirwa okuba ekifaananyi ekiraga eintu ebyatukaawo mu kyasa ekisooka wabulas si biki ebigendawo okutuukawo ku nkomerero. Erinnya ly’ensomesa eno (preterist-soma puriterisiti) liva mu kigambo ekitegeeza ebyayita. Ekitegeeza nti ensomesa eno esomesa nti obunnabbi obukwata ku kunkomerero bwatuukirira ddal. Ensomesa eno ekontana n'eyo egamba nti obunnabi bwakutuukiriza mu biseera ebijja
Ensomesa y’ekipuliteeri erimu ebiwayi bibiri: Ekipuliteeri ekijjudde, n’ekipuliteeri eky’ekitundu. Emboozi eno egenda kwogera ku Kipuliteeri ekijuude.
Ensomesa eno egaana obunna obwebiseera ebijja mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Esomesa nti obunnabbi bwendagaano empya bwonna bwatuukkirizibwa mu mwaka oluvanyuma lw’emyaka nsanvu nga esu afudde Abaruumi bwebalumba nebasanyaawo Yerusalemi. Basomesa nti buli kintu kyona ekikwatagana n’enkomerero, katugeze, okukomawo kwa Yesu, akaseera ak’okuboonaboona, okuzuukira kw’abafu, n’omusango ogusemayo, byonna byatuukira dda. (Omusango ogusembayo gunateera okutuukirira). Okudda kwa Yesu kwali kwa "mwoyo" ssi kwa mu mubiri.
Ensomesa ey’Ekipuliteeri esomesa nti Eteeka lyatuukirizibwa nga wayiseewo emyaka nsaavu nga Yesu amaze okufa era endagaano ya Katonda ne Yisirayeeri nekoma. “Ensi n’egulu ebiggya” ebyogerwako mu Okubikkulirwa 21:1 bagamba nti enyonyola ensi empya wali w’endagaano empya. Ng’omukristaayo bwafuuka ekitonde ekiggya (2 Abakkolinso 5:17), n’ensi wansi w’endagaano empya efuuka “nsi mpya.”
Abakkiriza mu nsomesa eno basonga ku kyawandiikibwa ekiri mu Matayo 24:34, Yesu bweyanyonyola ebigenda okutuukawo kunkomerero. Yagamba, “Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo, okutuusa ebyo byonna lwe birikolebwa.” Bakkiriza nti kino kitegeeza nti buli kimu Yesu kyeyagera mu Matayo 24 kyalina okutuukawo mu mulembe gumu gweyayogeramu— era okusanyaawo kwa Yerusalemi nga wayiseewo emyaka nsaavu gwali “omusango ogusembayo.”
Ebizibu bingi ebiri ku nsomesa y’Ekipuliteeri. Ekisooka, Endagaano ya Katonda n’e Yisirayeri yalubeerera (Yeremiya 31:33-36) era walibaawo okuddizibwa obuggya okwa Yisirayeri (Isaaya 11:12). Omutume Pawulo yalabula abo abalinga Kumenayo ne Fireeto, abasomesa bulimba nti “ ng'okuzuukira kwamala okubeerawo, era waliwo abantu be baavuunikirira okukkiriza kwabwe.”(2 Timoseewo 2:17-18). Ne Yesu okwogera ku “mulembe guno” kirina okutwalibwa okutegeeza omulembe ogunabeerawo okulaba ebintu ebyo byeyagerako mu Matayo 24 nga bitandiise okubaawo.
Essomo ly’enkomerero zibu okutegeera, era Bayibuli okukozesa ebifaananyi ebitali byabulijjo kiretedde enzivuunula ez’enjawulo ezikwata ku nkomerero. Waliwo ebintu bingi ebisobola okukubibwako ebilowoozo Abakristaayo, wabula, Ekipuliteeri ekijudde kirina obukyamu bungi nti mukyo kigaana okudda kwa Yesu mu mubiri era n’ekibikkirira mu ngeri y’okunyooma okuboonaboona nga kigamba kwatuukawo nga Yerusalemi esanyiziddwawo oba nga egudde.
English
Abantu abakkiriza nti obunnabbi bw’enkomereo y’ensi batukkirira dda balina ndowooza kki ku nkomerero y’ensi?