settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala ensomesa egamba nti abantu bonna bajja kulokolebwa ekkiriziwa Bayibuli?

Okuddamu


Waliwo abantu banji abakkiriza nti abantu bonna bagenda kulokolebwa era nti bonna bajja kumalira mu gulu. Osanga ekirowoozo kyabantu okumala emirembe n’emirembe mu geyeena kyekiretera abantu abamu okugaana okusomesebwa kw’ebyawandiikibwa ku nsonga eno. Eri abamu, kuba kukkatiiriza kwagala n’ekisa kya Katonda ekitagwaawo— wabula nga bewala obutuukirivu n’obwenkanya bwa Katonda— nga kyekibaletera okukkiriza nti Katonda alisaasira buli muntu yenna omulamu. Wabula ebywandiikibwa bisomesa nti abantu abamu bagenda kumalira obulamu obutaggwaawo mu geyeena.

Okusookera ddala, eyogera lunywe nyi abantu abaliba nga tebalokoleddwa balibeera mu geyeena emirembe n’emirembe. Ebigambo bya Yesu byenyini biraga nti ekiseera abalokoleddwa kyebanamala mu gulu kyenkanankana n’ekyo abaliba nga tebalokoleddwa kyebanamala mu geyena. Matayo 25:46 agamba “Ne bano baligenda mu kibonerezo ekitaggwaawo; naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.” Okusinziira ku lunyiriri luno, ekibonerezo ky’abatali balokole kyaluberera ng’obulamu bwabatuukirivu. Abamu bakkiriza nti abo abalibeera mu geyeena bajakutuuka bagweewo, wabula Mukama yenyini akikakasa nti balibeerayo emirembe n’emirembe. Matayo 25:41 ne Makko 9:44 enyonyola geyeena okuba “omuliro teguzikira” era “omuliro ogutaggwaawo.”

Omuntu awona atya omuliro guno ogutazikira? Abantu abamu bakkiriza nti amakubo gonna—amadiini n’enzikiriza zona zitwala mu gulu oba batwala Katonda okuba nga ajjudde okwagala n’ekisa era nti alikiriza abantu bonna okuyingira egulu. Amazima gali Katonda ajjudde ekisa era n’okwagala; bino byebyamuletera okusinzika omwana we Yesu Kristu ku nsi okufa ku musalaba ku lwaffe. Yesu lwelujji lwoka olutwala mu gulu. Ebikolwa 4:12 egamba, “So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.” “Kubanga waliwo Katonda omu, era omutabaganya wa Katonda n'abantu omu, omuntu Kristo Yesu,” (1 Timoseewo 2:5). Mu Yokaana 14:6, Yesu agamba, “Yesu n'amugamba nti Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze.” Yokaana 3:16 agamba, “Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo.” Bwetusalawo okugaana omwana wa Katonda, kitegeeza tetutukiiriza byetaago byakulokolebwa (Yokaana 3:16, 18, 36).

Nebyawandiikibwa nga ebyo wagulu, kiragibwa bulungi nti okulokolebwa kw’abantu bonna ssikuwagirwa Bayibuli. Kukontana ne Bayibuli kyesomesa. Newankubadde nga abantu bangi bavunaana Abakristaayo obutagumikiriza ndowooza na nzikiriza ndala era okuba nga bamanyi ekubo limu lyokka, kikulu okumanya nti bino by’ebigambo bya Kristu mwenyini. Abakristaayo tebekolera bwekolezi ndowooza zino kulwabwe; Abakristaayo batula bwatuzi ebyo Mukama bye yayogera. Abantu basalawo okugaana obubaka kubanga tebagala kwaŋŋanga kibi kyabwe nga bakkiriza nti betaaga Mukama okubalokola. Okugamba nti abagaana enkola eyokulokolebwamu Katonda gyeteekawo okuyita mu Mwanawe balilokolebwa kuba kuyisaamu maaso obutukuvu n’obwenkanya bwa Katonda era kuba kwewala saddaka ya Yesu eyakolebwa ku lwaffe.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala ensomesa egamba nti abantu bonna bajja kulokolebwa ekkiriziwa Bayibuli?
© Copyright Got Questions Ministries