settings icon
share icon
Ekibuuzo

Eyogera kki ku Balokole okwewola? Omulokole akkirizibwa okwewola?

Okuddamu


Pawulo okutulagira mu Abaruumi 13:8 obutabanjibwa kintu kyonna okujako okwagala kijukizo kinene ku ngeri Katonda gyeyewala engeri yonna eyebanja eritasassuddwa mu budde (era laba Zabbuli 37:21). Mu kaseera ke kamu, bayibuli tetugaana buterevu kwewola bintu bimu. Bayibuli etulaula amabanja era etukubiriza obutayingira mu mabanja wabula tegaana mabanja. Bayibuli erina ebigambo ebikambwe eri abawola abayisa obubi abo bebawoze, wabula tevunaana abanjibwa.

Abantu abamu bawakanya okugatako amagoba ku looni, wabula emirundi egiwerako mu bayibuli tulaba amagoba amasaamusaamu gasuubirwa ku sente ezibwa zewoleddwa (Engero 28:8; Matayo 25:27). Mu Yisirayeeri eyedda, bayibuli yagaana okugatta amabanja ku mabanja agamu naddala ago agawoleddwa abaavu. (Aaleevi 25:35:38). Eteeka lyali litegeeza ebintu binji mu by’ensibi, n’eby’omwoyo wabula ebintu bibiri byamugaso okwogerebwako. Okusooka, eteeka lyayambanga abaavu obutayongera kuzibuwaza bulamu bwabwe. Okusooka kyali kibi okuba omwavu, era kyali kiswaza okusaba obuyambi. Wabula singa okusasula ebanja omwavu alina okusasulirako amagoba amanji, ekigendererwa kiba kikosa okusinga okuyamba.

Eky’okubiri, amateeka gasomesa essomo ekkulu ennyo ery’omwoyo. Oyo awola, okwewala amagoba ku ku sente zawola kiba kikolwa kya kisa. Aba afirwa okukozesa sente ezo kubanga aba aziwoze. Kyoka mu ngeri yemu, ekyo kiba kikolwa kya kwebaza Katonda olw’ekisa kye ekinji olw’obutasasuza bantu magoba ku kisa kyabawadde. Nga Katonda bweyaja abaana ba Yisirateeri mu Misiri bwebali nga tebalina wadde n’ekikumi era nga batwalibwa nga abaddu, era nabawa ensi eyabwe (Abaleevi 25:38), nolw’ekyo yali abasuubira okulaga ekisa kyekimu eri abaavu mu bbo.

Abakristaayo bali mu kifo ky;ekimu. Obulamu, okufa, n’okuzuukira kwa Kristu kwa Yesu kwasasula ebanja lyaffe ely’ebibi eri Katonda. Kakano, nga bwetulina omukisa, tusobola okuyamba abalala abali mu bwetaavu, okusingira ddala Bakkiriza banaffe nga tubawa looni ezitayongerayongera ku mitawaa gyabwe. Yesu yawa n’olugero ku nsonga eno nga lukwata ku bantu babiri abali babanjibwa n’engeri gyebalamu okusonyiwa. (Matayo 18:23-35)

Bayibuli tewakanya oba okukkiriza okwewola amabanja. Amagezi ga Bayibuli gatusomesa nti ssi kirungi okwewola. Amabanja gatuleteera okuba abaddu eri oyo atuwa looni. Mu kaseera ke kamu, okwewola kiba „kibi ekyetaagisa.” Kasita sente ziba nga zikozeseddwa bulungi era nga ensasula esoboka, omulokole asobola okwewola bwaba ali ddala ali mu bwetaavu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Eyogera kki ku Balokole okwewola? Omulokole akkirizibwa okwewola?
© Copyright Got Questions Ministries