settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala Abakristaayo balina okugondera amateeka g’ensi?

Okuddamu


Abaruumi 13:1-7 etugaamba, “Buli muntu awulirenga abakulu abafuga: kubanga tewali bukulu butava eri Katonda; n'abakulu abaliwo baalagirwa Katonda. Awakanya obukulu kyava awakanya okulagira kwa Katonda: era abawakana balyezzaako omusango bo bokka. Kubanga abafuga si ba kutiisa mu kikolwa ekirungi, wabula mu kibi: Era oyagala obutatya bukulu? kola bulungi, alikusiima: kubanga ye muweereza wa Katonda eri ggwe olw'obulungi. Naye bw'okola obubi, tya; kubanga takwatira kitala bwereere: kubanga ye muweereza wa Katonda, awalana obusungu ku oyo akola obubi.

Kyekivudde kibagwanira okuwulira, si lwa busungu bwokka, naye era ku lw'omwoyo gwammwe. Era kyemuva muwa omusolo; kubanga be baweereza ba Katonda, nga banyiikirira mu mulimu ogwo. Musasulenga bonna amabanja gaabwe: ab'omusolo musolo; ab'empooza mpooza; ab'okutiibwa kutya; ab'ekitiibwa kitiibwa.”

Ekyawandiikibwa kino kiraga bulungi ntitulina okugondera obufuzi Katonda bwatadde wagulu waffe. Katonda yatonda gavumenti okusobola okuteekawo ensengeka entuufu y’ebintu, okukangavvula obubi, n’okuteeka obwenkanya. (Oluberyerye 9:6; 1 Abakkolinso 14:33; Abaruumi 12:8). Tulina okugondera gavumenti mu buli kimu— nag tuwa omusolo, nga tugoberera amateeka, era nga tuwa ekitiibwa. Bwetutakikola, tula tuyisaamu Katonda amaaso kubanga yeyateekawo gavumnenti zino okutufuga. Omutume Pawulo bweyawandiikira Abaruumi, yali wansi wa gavumenti ya Ruumi nga Empula Nero yafuga, era nga kisobola okuba Nero ye Empula akyasinze okuba omubi mu ba empula ba Ruumi bonna. Pawulo asaamu ekitiibwa obufuzi bwa Ruumi obwali bumutwala. Tusobola tutya okujeema?

Ekibuuzo ekirala kiri nti, “Ddala wasobola okubawo akaseera omukristaayo walina okujeemera eteeka ly’ensi? Ekuddamu eri ekibuuzo kusangibwa mu Ebikolwa 5:27-29, “Ne babaleeta ne babateeka mu maaso g'olukiiko. Kabona asinga obukulu n'ababuuza

ng'agamba nti Okulagira twabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo: era, laba, mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, ne mwagala okuleeta ku ffe omusaayi gw'omuntu oyo. Naye Peetero n'abatume ne baddamu ne bagamba nti Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.” Kino kitulaga nti singa eteeka ly’ensi terikonyana na teeka lya Katonda, tulina okuligondera. Eteeka ly’ensi werikontana n’eteeka lya Katonda, tulina kujeemera teeka ly’ensi okusobola okugondera eteeka lya Mukama. Wabula, ne mu ngeri eno, tulina okukkiriza obuyinza gavumenti bwetulinako. Kino tukiraba nga Pawulo ne Yokaana tebagaana kukubibwa kibooko, wabula basunyuka busanyufu nti babonaabona olw’okugondera Katonda (Ebikolwa 5:40-42)

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala Abakristaayo balina okugondera amateeka g’ensi?
© Copyright Got Questions Ministries