Ekibuuzo
Abaana ba Katonda n’abawala b'abantu abogerwako mu Oluberyeberye 6:1-4 be baani?
Okuddamu
Oluberyeberye 6:1-4 lwelunyiri olwogera ku baana ba Katonda n’ebawala b’abantu. Wabaddewo ebigambo bingi ku abaana ba Katonda be baani era lwaki abaana bebazzala bwe begatta n ‘abaana b’bantu baali bantu bawanvu era nga bawagguufu. (Ekigambo abanefirimu kyekiteegeza).
Entegeera essatu enkulu ku nsonga ezikwata ku nfanaana y’abaana ba Katonda zezino wamanga;
1) Baali bamalayika abagwa
2) Baali bafuzi ab’amanyi ab’abantu
3) Bantu baana ba Seezi abawasa abali batya Katonda abawasa abaana ba abaana ba Kayini abali batatya Katonda.
Ekiwa ensonga esooka obuzito y’ensonga nti mu ndagaano enkadde, “abaana ba Katonda” baali bategeeza bamalayika (Yobu 1:6; 2:1; 38:7). Ekizibu ekili ku nsonga eno kili mu Matayo 22:30 wetulaba nga bamalayika bali tewasa. Bayibuli tetuwa nsonga kukkiriza nti bamalayika bassaja oba bakazi oba nti basobola okuzaala.
Obunafu obuli ku nsonga ey’okubiri n’eyokusatu eri nti abasajja babulijjo bwebawasa abakazi ababulijo tekiwa nsonga yakuzaala bantu “banene” oba “bannaggwano abaasooka edda,” “abantu abaayatiikirira”. Era lwaki Katonda asalawo okuleeta amataba kunsi(Oluberyeberye 6:5-7) nga Katonda tagaananga bassajja bamanyi oba baana ba Seezi kuwasa bawala b’abantu ababulijjo oba abaana ba Kayini. Omusango oguli mu Oluberyeberye 6:5-7 gukwatagana nekyo ekyatukawo mu Oluberyeberye 6:1-4. Ekive kyali ku bamalayika abaagwa okuwasa bawala b’abantu era ekyo kiwa ensonga osanga lwaki Katonda yanyiiga era nabasalira omusango.
Nga bwetwalabye okusooka, obunafu obuli mu nsonga esooka buli mu Matayo 22:30 era egamba “ Kubanga mu kuzuukira tebawasa, so tebafumbirwa, naye bali nga bamalayika mu ggulu.” Wabula ekyawandikibwa tekigamba nti bamalayika tebasobola kuwasa, wabula kigamba nti Bamalayika tebawasa. Ekyokubiri, Matayo 22:30 eyogera ku “Bamalayika abali mu gulu,” Tekyogera ku bamalayika abatafaayo ku nteekateeka ya Katonda eri obutonde mungeri yemu nga tebalwana okutataganya enteekateeka za Katonda. Olw’okuba ba malayika ba Katonda tebawasa, oba okwegatta mu mukwano tekitegeza nti Sitaani ne zi dayimooni ze nazo tezizaala oba okwegatta n’abantu.
Ensonga esooka yesobola okuba nga ntuufu. Ddala kyekontana okungamba nti bamalayika tebalina kikula ng’ekyabantu(Bakazi oba bassajja) ate nogamba nti “abaana ba Katonda” baali bamaliya abagwa abegatta ne bawala b’abantu okuzaala abanefirimu. Wabula, newankubadde bamalayika myoyo, (Abaebbulaniya 1:14), basobola okubika eri abantu mu buliwo (Makko 16:5). Abassaja ba Sodomu ne Gomola bayagala okwegatta nebamalayika abaali ne Lotti (Oluberyeberye 19:1-5). Kisobola okuba bamalayika baali basobola okufuna omubiri okutuuka ku kigera eky’okufuna ekikula ng’eky’abantu era n’okuzaala. Lwaki bamalayika abagwa tebakyakikola mu naku zino?. Kirabika Kirabika Katonda yasiba bamaliya abakola ekikolwa kino nekiremesa bamalayika okuddamu okukikola. (nga bwekyawandiikibwa mu Yudda 6). Abavunuuzi abaebbulaniya abasooka n’ebyawandiikibwa ebipokurifa nabyo biwagira enzivula egamba nti “abaana ba Katonda” baali baana ba Katonda nga bwekyawandiikibwa mu Luberyeberye 6:1-4. Kino tekigalawo kuwakanya kwonna oba kukuba birowoozo ku nsonga eno. Wabula, enzivunuula egamba nti Oluberyebrye 6:1-4 eyogera ku bamalayika abagwa abagetta mu nsonga z’omukwano n’abawala b’abantu ewagirwa, ebyafaayo, amakalu agawamu ag’ebyawandiikibwa, n’amateeka g’ennimi.
English
Abaana ba Katonda n’abawala b'abantu abogerwako mu Oluberyeberye 6:1-4 be baani?