settings icon
share icon
Ekibuuzo

Abajehova be baani era bakkiriza kki?

Okuddamu


Abajehova batandiika mukifo ekiyitibwa Penisilaviiya mu mwaka 1870 nga kilaasi ya Bayibuli eyali okulememberwa Kaloli Taze Luseelo ( Charles Taze Russell). Luseeo yatuuma ekibiina ekisoma ayibuli kino “Ekibiina kya Bayibuli eky’ekyaasa ekisembayo”, era abaali bamugoberera baali bayitibwa abasomi ba Bayibuli. Luseelo yatandiika okuwandiika ebitabo ebyayitibwa “Akawungeezi k’ekyasa” era nga yawandiika ebitabo mukaaga nga tanafa era omwo mwemuli ensomesa y’Abajehova esinga. Watchtower Bible and Tract Society yatandikibwa mu 1886 era nefuuka emotoka eyatambuza ensomesa ya “Akawungeezi k’eekyasa”. Abantu abaali mu kisinde kino bayitibwanga “Abaluseeli”(Soma Russelites). Nga Luseeli amaze okufa, mu mwaka 1916, Omulamuzi J.F Rutherfold (Soma Luuzafolodi), era nga ono yali mukwano gwa Luseeli era nga yeyamuddilira mu bigere yawandiika ekitabo ekyasembayo eky’Akaseera akasembayo eky’ekyasa era nga Kyayitibwa “Ekyama ekimalirizibwa” mu mwaka 1917. Guno gwe gwali omwaka ekitongole kino gwekyayawukanira mu. Abo abagoberara Luuzafolodi batandika okuyitibwa “Abajehova”

Abajehova bakkiriza kki? Okwekenenya ensomesa yabwe ku bwakatonda bwa Kristu, obulokozi, Obusatu, Omwoyo Mutukuvu, n’okusalibwa kw’omutango gw’ebibi kulaba awatali kuwakana nti tebakkiriza nga Abakristaayo bwebakkiriza ku nsonga ezo. Abajehova, bakkiriza nti Yesu ye malayika omukulu, Mikayiri, era nga ky’ekitonda ekikyasinze okuba n’ekitiibwa. Kino kikontana n’ebyawandiikiwa bingi ebiraga Yesu okuba Katonda ( Yokaana 1;1; 14; 8:58; 10:30). Abajehova bakkiriza nti obulokozi bufunibwa okuyita mu kukkiriza, ebikolwa, n’okugonda. Kino kikontana n’ebyawandikibwa bingi ebiraga obulokozi okuba nti bufunibwa okuyita lwakisa okuyita mu kukkiriza . ( Yokaana 3:16; Abaefeeso 2:8-9; Tito 3:5). Abajehova bagana Obusatu Obwakatonda, era bagamba nti Yesu yatondebwa butondebwa era nti Omwoyo mutukirivu mannyi bwannyi ga Katonda. Abajehova bagaana okuba nti yasasula omutango gw’ebibi gwetandisasudde era nebagamba nti okusasula kwa Yesu kwali kwa kibi kya Adamu nga yye.

Abajehova bawolereza batya ensomesa eno? Okusooka, bagamba nti Ekanisa yayonoona Bayibuli okumala emyaa emingi era nga bbo bagivuunulamu kyebayita “Enzivuunula empya ey’ensi” Bakyuusa ebyawandiikibwa bya Bayibuli okusobola okuwagira ensomesa yabwe, mukifo ky’okusomesa okusinziira ku ekyo Bayibuli kyesomesa. Enzivuunula empya ey’ensi eyise mu nzivuunula ez’enjawulo Abajehove jebakomye okulaba ebyawandiikibwa ebikontana n’ensomesa yabwe.

Aba Watchtower(Soma Wakyi Tawa), basinziirira ku nsomesa ya Charles T. Russells, n’Omulamuzi Joseph Franklin. R naabo ababaddira mu bigere, okusomesa era okufuna enzikiriza. Obufuzi bwa Watch Tower bwebulina obuyinza okuvuunula ebyawandiikibwa eby’enzikiriza eno ey’obulimba. Kwekugamba, Watch Tower kyeyogera ku byawandiikibwa, kitwalibwa okuba ekigambo ekisembayo era tebakkiriza muntu yenna kwenonyeza makulu gage kububwe. Kino kikontana n’ekyo Pawulo omutume kyeyagamba Timoseewo (wamu naffe fenna) okusoma era okuba abasimibwa Katonda, okusobola obutakwasibwa nsonyi nga tukozesa ekigambo kya Katonda. Okukuutira kuno kusangibwa mu 2 Timoseewo 2:15, era kiragiro okuva eri Katonda eri buli mwana we okuba nga abe Beroya abanonyerezanga ebyawandiikibwa okulaba oba ebyo ebyali bisomesebwa bikwataggana n’ebyawandiikibwa.

Tewali ddini yonna nesigwa kutambuza bubaka bwayo okusinga Abajehova. Eky’embi, obubaka bwabwe bulimu obukyamu bungi, obulimba, n’ensomesa enkyamu. Nsaba Katonda agule amaaso g’abo abakkiriza mu nsomesa y’Abajehova basobole okulaba amazima ag’enjiri n’okusomesa kwa Bayibuli.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Abajehova be baani era bakkiriza kki?
© Copyright Got Questions Ministries