settings icon
share icon
Ekibuuzo

Lwaki kikulu Yesu okuzaalibwa emberera? Lwaki Yesu yalina kuzalibwa mberera?

Okuddamu


Ensomesa y’okuzaalibwa kwa Yesu omuwala emberera kukulu nnyo (Isaaya 7:14; Matayo 1:23; Lukka 1:27, 34) Okussoka, katulabe engeri Bayibuli gyenyonyola ebyaliwo. Mu kuddamu ekibuuzo kya Malyamu, “Kiriba kitya ekyo” (Lukka 1:34), Gabulyeri yamugamba, “Ne malayika n'addamu n'amugamba nti Omwoyo Omutukuvu alikujjira, n'amaanyi g'Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza”(Lukka 1:35). Malayika azaamu Yozefu amannyi obutagaana kuwasa Malyamu n’ebigambo bino: “kubanga olubuto lwe lwa Mwoyo Mutukuvu.” (Matayo 1:20). Matayo agamba nti omuwala emberera “ n'alabika ng'ali lubuto olw'Omwoyo Omutukuvu.”(Matayo 1:18). Abagalatiya 4:4 nayo esomesa ku kukuzaalibwa omuwala emberera: “ Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi.”

Okusinziira ku byawandiikibwa wagulu, kirabika bulungi nti okuzalibwa kwa Yesu kwava ku Mwoyo mutukuvu okukolera mu mubiri gwa Malyamu. Omwoyo(Ogutalina mubiri) n’olubuto lwa Malyamu (Alina omubiri) bonna benyigira mu kuzaala kwa Yesu. Malyamu yali tasobola kwefunyisa lubuto, era yali “kikozesebwa”. Katonda yekka yeyali asobola okukola ekyamagero kya Katonda okuja kunsi okufuuka omuntu.

Wabula, okugaana enkolagana wakati Malyamu ne Yozefu kuba kugaana nti Yesu yali muntu ddala. Ebyawandiikibwa biraga nt Yesu yali muntu awedde emirimu ngalina omubiri ng’ogwaffe. Guno yagufuna okuva ku Malyamu. Mungeri yemu, Yesu yali Katonda Katonda ddala, abeerera emirembe gyonna era atalina mbala yonna ya kibi.( Yokaana 1:14; 1 Timossewo 3:16; Abaebbulaniya 2:14-17)

Yesu teyazaalibwa mu kibi; kitegeeza nti, teyalina mbala ya kibi yonna (Abaebbulaniya 7:26). Kirabika nga embala y’ekibi esikizibwa okuva ku mulembe ogumu otukuka ku mulembe omulala okuyita mu Taata ( Abaruumi 5:12; 17,19). Yesu okuzaalibwa omuwala embeerera kwayamba okwewala okusikira embala y’ekibi era kyasobozesa Katonda abeerera emirembe gyonna okuba omuntu atalina kibi.

EnglishDdayo ku Luganda Ewasokerwa

Lwaki kikulu Yesu okuzaalibwa emberera? Lwaki Yesu yalina kuzalibwa mberera?
© Copyright Got Questions Ministries