settings icon
share icon
Ekibuuzo

Yesu yaliwa okumala enaku esatu eziri wakati w’okufa n’okuzukira?

Okuddamu


Ekyawandiikibwa ekikulu mu kukubaganya ebilowoozo ku wa Yesu gyeyali okumala enaku satu ezaali wakati w'okufa kwe n'okuzuukira luli mu 1 Petero 3:18-19 egamba "Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda; bwe yattibwa omubiri, naye n'azuukizibwa omwoyo; era gwe yagenderamu n'abuulira emyoyo egiri mu kkomera". Ekigambo "Omwoyo" kitegeeza Omwoyo gwa Kristo. Enjawulo eri wakati w'omubiri gwa Kristu(Flesh) n'omwoyo, n'omubiri gwa Kristo n'omwoyo mutukuvu. Omubiri gwa Kristu gwafa, wabula omwoyo gwe gwasigala mulamu. Omubiri gwa Kristu gwaziikibwa mu ntaana, wabula omwoyo gwe gwali walala kubanga gwali guvudde mu mubiri gwe, (Matayo 27:50), okumala enaku ezo esatu.

Petero awa ebisingawo ku byatukaawo mu naku esatu okuva Yesu lwe Yafa okutuusa lwe Yazuukira. Bayibuli egamba nti Yesu Yabulira enjiri emyoyo egyali mukomera. Mu lw'ebbulaniya kitegeeza nti Yesu yabuulira "amawulire amalungi". Yesu yabonabona naafa ku musaalaba, Omubiri gwe gwattibwa. Wabula omwoyo gwe gwali mulamu era yaguwayo eri Kitawe(Luka 46). Okusinziira ku Petero, akaseera akamu, wakati Yesu ng'amaze okufa era nga tanazuukira, yabuulira emyoyo egyali mu komera amawulire amalungi.

Emyoyo gino Yesu gyeyabuulira amawulire amalungi ng'amaze okufa era nga tanazuukira, gyali luddawa? Tewali wantu wonna mu Bayibuli wetugambibwa nti Yesu yakyalilako geyeena. Ekirowoozo nti Yesu yagenda mu Geyeena okwongera okubonabona si kya Bayibuli. Okubonabona kwe kwakoma ku musalaba bweyagamba nti kiwedde(Yokaana 19:30). Bayibuli egamba nti Yesu yagenda mu "magombe "(Ebikolwa 2:31), wabula amagombe ssi geyeena. Amagombe kigambo ekikozesebwa okutegeeza ekifo abaffu gyebamala ngabalindirira okuzuukira. Okubbikulirwa 20:11-15 kulaga enjawulo wakati wa geyeena n'enyanja eyaka n'omuliro. Enyanja eyaka n'omuliro, ky'ekifo ekisembayo eky'abo abaabula. Amagombe kifo awabeera abaafa nga tebalokose, n'abendagaano enkadde.

Mukama waffe Yesu yawayo omwoyo gwe eri Kitaawe, naafa mu buliwo mu mubiri era nagenda mu kwesiima nga bweyasuubiza omubbi ku musaalaba (Lukka 23:43). Wakati nga Yesu amaze okufa era nga tanazuukira, yakyalirako ekifo weyabulira amawulire amalungi eri emyoyo—ndowooza bamalayika abagwa (soma Yuda 1:6); emyoyo gino kisoboka okuba nga gyali mu komera kubanga gyali gyenyigira mu kibi ekinene ng'amataba teganaba mu biseera bya Nuuwa.(1 Petero 3:20). Petero tatubuulira kki Yesu kyeyagamba emyoyo gyali mu Komera, wabula tekisobola kuba amawulire aga okununulibwa kubanga bamalayika tabasobola kulokolebwa (Abaebbulaniya 2:16). Ndowooza amawulire Yesu geyabulira gaali ga kulangirila buwangunzi eri Sitaani ne bamalayika be (1 Petero 3:22; Abakkolosaayi 2:15).

Abaefeeso 4:8-10 nayo etulaga ekirala ekikwata ku naku esatu Yesu zeyamala ng'afudde era nga tanazuukira. Ngakozesa Zabbuli 68:18, Pawulo ayogera ku Kristu. "Kyava ayogera nti Bwe yalinnya waggulu, n'anyaga okunyaga, ..." Kino kisobola okutegeeza akaseera akatogerebwaako walala mu Bayibuli, nti Yesu yakunŋŋanya bonna abanunule nabatwaala mu ggulu gyebalina okubeera emirembe gyonna. Ekyo kyatukawo, ng'amaze okubawa obulokozi okuyita ku Musalaba. Yesu yaleeta Yibulayimu, Yoswa, Dawudi, Danyeri, Lazaaro n'omubbi nabuli muntu yenna eyali yaweebwa obutukirivu olw'okukkiriza kwabwe, n'abajja mu magombe okubatwaala mu kifo kyaabwe ekiggya.

Bino byonna kwekugamba nti Bayibuli tetulaga kki Yesu kyeyakola mu nnaku esatu zeyamala ng'afudde. Kyetusobola okugamba kiri nti, yakola ebintu bibiri; Yagumya abaana ba Katonda abali bawuumula era nabatwaala mu kifo eky'oluberera, era yalangirira obuwanguzi bwe eri bamalayika abagwa abali mu komera. Kyetumanyi kiri nti Yesu yali tawa muntu yenna mukisa gwa kubiri ogw'okulokoka. Tulamulwa nga tumaze okufa (Abaebbulaniya 9:27), wabula ssi mukisa gwa kubiri ogw'obulokozi. Era Yesu yali tabonabona mu geyeena. Emirimu gye egy'okununula abonoonyi gyagweera ku musaalaba.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Yesu yaliwa okumala enaku esatu eziri wakati w’okufa n’okuzukira?
© Copyright Got Questions Ministries