settings icon
share icon
Ekibuuzo

Dala Yesu yakomererwa ku lwakutano?

Okuddamu


Bayibuli tenyonyola bulungi lunaku lwa wiki Yesu lwe yakomererwa. Enaku olw’okutano no lw’okusatu ze ziteberezebwa. Wabula abamu nga endowwoza egata olw’Okusatu n’olw’Okutaano, abagamba nti olwokuna lwe lunakuYesu lwe yakomererwa

Yesu mu Matayo 12 :40 yagamba, “oba nga Yona bwe yamala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu lubuto lwa lukwata; bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'alimala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu mutima gw'ettaka.” Abo abagamba nti yakomererwa lwakutano bagamba nti waliwo engeri gyeyali asubirwa okueera muntana muzino enaku esatu. Mu ndowooza y’Abayudaya ebekyasa ekisoka, ekitundu ky’olunaku kyabalibwamu olunaku olulamba. Olwokuba Yesu yabeera muntana ekitundu ky’Olwokutano, Olwomukaaga ne kitundu kya Sunday. Asubirwa okuba nga yamala mu ntaana enaku satu. Ebimu ku bilaga nti Yesu yakomererwa ku lwakutano biri mu Makko 15:42, “Awo bwe bwawungeera, kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, lwe lunaku olusooka ssabbiiti,.” Bweluba nga olunaku lwa sabiti luli ku lwamukaaga , olwokutano lwe luba olunaku Yesu lwe yakomererwa, endowwoza endala eva mu Matayo 16:21 ne Luka 9:22 era esomesa nti Yesu yali wakuzuukira ku lunaku olw’okusatu era yali teyetaga kubeera mu ntaana enaku satu n’ebiro bisatu. Newankubadde enzivunula endala zikozesa”ku lunaku olwo kusatu” ku lwe nyiriri zino, si buli muntu akiriza nti “ku lunaku olw’okusatu” y’enzivuunula esinga okuba ennungi. Ekkirala, Mark 8:31 egamba nti Yesu alizukira “nga wayiseewo” ennaku satu.

Endowwoza y’Olwokuna eyongeereza ku bilowoozo by’Olwokutaano era egamba nti waliwo emikolo oba ebyatuukawo bingi (Abamu babala abiri) ebyatuukawo wakati w’okuziikibwa kwa Yesu n’amakya ga Sande ebyatuukawo okuva ku kawungeezi k’Olw’Olutaano okutuuka ku makya ga Sande. Abakkiriza olw’okuna bagamba nti kino kiba kizibu kubanga lunaku olulamba wakati w’Olw’Okutaano ne Sande lwamukaaga, Sabbiti y’Abayudaaya. Ogwongeramu olunaku lumu oba biri kyijawo ekizibu kino. Abakkiriza mu Lw’okuna bagamba nti: Kubamu akafaanyi singa oba tolabye mukwano gwo okuva ku kawungeezi ka Mande.Olunaku lw’oddamu okumulaba nga lwakuna kumakya era nogamba, “Sikulabye okumala ennaku satu, newankubade nga zibadde esaawa 60(enaku biri nekitundu). Bwaba Yesu yakomererwa Lwakuna, ekyokulabirako kino kiraga engeri gyekisoboka okuba enaku esatu.

Okunyonyola ku olunaku ol’wokuna egaziwa ku ndowoza yo lw’okutano era enyonyola nti waliyo ebyagenndamaso mu bibuli bingi (ebimu bisuka nemwabiri)ebyaliwowakati wokuzikaYesu Ebyaliwookuva ku lw’okutano olw’egulo paka Sunday kumakya` endowoza yolwokunaegyayo ensonga ntiwaliwo obuzibu nti olunaku oluguvu wakati w’olwokutano ne Sunday lwe lwomukaaaga sabiti yaBayudaayaera ,olunaku oba enaku biri zezisobola okugyawo ekizibu . abgamba nti lwakunaawo be basobola okutesa awo tugeze nti tunasisinkana okuva ku lwegulo lwa Monday.olumulaba olwokuna olumulaba ng’o mugamba mbadde sinakulaba naku satu newankubadde zali enakubbiri ne kitundu.Bwaba Yesuyakomererwa ku lwakuna Ekyokulabirako kiraga engeri gyekisobola okuba enaku Satu

Endowooza y’Olw’Okusatu egamba nti waliwo Sabiiti biri wiki eyo, Etasooka bweyaggwa(eyatuukawo ku kawungeezi ako okukomererwa( Makko 15:42; Lukka 23:52-54), Omukazi eyagula ebyakaloosa—jukkira nti bagula nga ebintu nga Sabbiti ewedde (Makko 16:1). Endowooza y’Olw’osatu egamba nti Sabbiti eno lwali lunaku lwa kuyitako( Laba Abaleevi 16:29-31, 23:24-32, 39, zaali nnaku ntukuvu era zali tezeetaaga kuba lunaku lwa musanvu okuyitibwa Sabiiti). Sabbiti ey’okubiri mu wiki eyo yali Sabbiti emanyikiddwa. Jukkira nti mu Lukka 23:56, abakazi abagula ebyakaloosa nga Sabiiti ewedde bakomawo nebatekateka ebyakaloosa, olwo “nebawumula ku Sabiiti.” Endowooza egamba nti bali tebasobola kugula byakaloosa nga Sabbiti ewedde , ate nebabiteekateeka nga Sabbiti tenaba—okugyako nga waliwo Sabbiti biri. Okusinziira ku ndowooza ya Sabbiti, bwaba yakomererwa Lwakuna, kitegeeza nti olunaku olw’okuyitako lwatandiika Lwakuna akawungeezi era neluggwa Lwakutaano akawungeezi. —ku ntandikwa ya Sabbiti emanyikiddwa eya wiki ey’Olw’omukaaga. Okugula eby’kaloosa nga Sabbiti esooka ewedde (Olunaku Olw’okuyitako) kyanditegeezeza nti babigula ku Lwamukaaga era bandibadde bamenye Sabbiti.

N’olwekyo, okusinzira ku bakkiriza mu Lwokusatu, enyinyonyola yoka ettavoola njigiriza ya bayibuli ku mukyala n’ebyakaloosa era nga ekkiriganya n’amakulu agasokerwako mu Matayo 12:40 eri nti yesu yakomererwa ku lwakusatu. Sabbiti yaliwo lwakuna olutukuvu (Olunaku Olw’okuyitako), era omukyala ayagula ebyakaloosa ku lwokutano era nebaiteekateka ku lunaku lwelumu. Bawumula ku Lwomukaaga kubaanga ya Sabbiti era nebaleeta ebyakaloosa ku ntaana kumakya ga Sande.Yesu yazikibwa na buwungeera ku lwokusatu, olwatandiika olwokuna okusinziira ku Kalenda y’Abayudaaya. Bwokozesa Kalenda y’Abayudaaya, obeera olina Olwokuna ekiro(Ekiro ekisooka), Olwokuna emisana (Olunaku olusooka), Ekiro ky’Olw’okutaano(Ekiro ekyokubiri) , Olw’okutaano emisana( Olunaku olwokubiri). Olwomukaaga ekiro( ekiro ekyokusatu), Olwomukaaga emisana ( Olunaku olw’okusatu). Tetumanyi mu mazima saawa zeyazuukira wabula tumanyi nti gaali makya ga Sande ng’omusana tegunavaayo. Asobola okuba nga yazuukira ku Lwomukaaga ng’omusana tegunaggwa, ku ntandikwa y’olunaku olusooka olwa wiki mu Kalenda y’Abayudaaya. Okuzuula entaana enkalu kwakolebwa kumakya ( Makko 16:2) ng’akasana tekanavaayo.(Yokaana 20:1)

Ekizibu ekisoboka okubaawo ku ndowooza y’Olwokusatu kiri nti abayigirizwa batambula ne Yesu ku luguudo lwe Emawo, ku lunaku olwelumu lweyazuukira (Lukka 24:13). Abayigirizwa, abataategeera Yesu ng’atambula ku luguudo luno bamugamba ku kukomelebwa (24:12) era nebagamba nti”lero lwelunaku okuva ebintu bino lwe byatukawo (24:22). Okuva ku Lwokusatu okutuuka ku Sande waliwo enaku nnya. Enyinyonyola esoboka engamba nti kisoboka okuba nga baabala okuva ku Lwokusatu akawungeezi nga Yesu azikkibwa, akawumeezi akatandiika Olw’okuna ku Kalenda y’Abayudaaya, era okuva ku Lwokuna okutuuka ku Sande zisobola okuba enaku Satu.

Byona nga biwedde, si kikulu nnyo okumanya lunaku kki mu Wiki Kristu lweyakomererwa. Singa kyali kikulu, ekigambo kya Katonda kyandibadde kinyonyola bulungi olunaku n’esaawa. Ekikulu kiri nti yafa era Yazuukira mu mubiri okuva mu bafu. Era ekikulu ekirala y’ensonga lwaki Yafa—okwetika ekibonerezo abonoonyi bonna kyebagwanira. Yokaana 3:16 ne3:36 byombi bigamba nti bwosa obwesige bwo mu yye (Kristu) ofuna obulamu obutaggwaawo! Kino kituufu oba nga yakomererwa ku Lwakusatu, Lwakuna, oba Lwakutaano.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Dala Yesu yakomererwa ku lwakutano?
© Copyright Got Questions Ministries