settings icon
share icon
Ekibuuzo

Kitegeeza kki Yesu okuba omwana wa Katonda?

Okuddamu


Yesu si mwanawa Katonda mu ngeri ng’eya Taata n’omwana eyaffe abantu. Katonda teyewasa oluvanyuma nazaala omwana ow’obulenzi. Katonda teyebaka ne Malyamu, nebazaala omwana. Yesu mwana wa Katonda mu ngeri nti Ye Katonda eyalabisibwa mu ngeri y’omuntu. (Yokaana 1:1, 14). Yesu mwana wa Katonda mu ngeri nti yazaalibwa Malyamu ku lw’Omwoyo mutukuvu. Lukka 1:35 egamba, “Ne malayika n'addamu n'amugamba nti Omwoyo Omutukuvu alikujjira, n'amaanyi g'Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza: era ekyo ekirizaalibwa kyekiriva kiyitibwa ekitukuvu, omwana wa Katonda.”

Ng’ali mu maaso ga mukulu wa Bayudaaya, Kabona omukulu yamubuuza nti “… Nkulayiza Katonda omulamu, tubuulire oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”(Matayo 26:63). “Yesu n'amugamba nti Oyogedde: Yesu n'amugamba nti Oyogedde: naye mbagamba nti Okusooka leero muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajjira ku bire eby'eggulu. Awo kabona asinga obukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti Avvodde Katonda: twagalira ki nate bajulirwa? laba, muwulidde kaakano obuvvoozi bwe mulowooza mutya? Ne baddamu ne bagamba nti Agwanidde kufa.”(Matayo 26:65-66 ) Oluvanyuma, ngali mumaso ga Pantiyo Pilato, “Abayudaaya ne bamuddamu nti ‘Ffe tulina etteeka n'olw'etteeka eryo agwanidde okufa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda.”’ (Yokaana 19:70.) Lwaki Yesu okweyita omwana wa Katonda kyali kivve era nga kigwanirwa kusalilwa gwa kufa? Abakulu b’Abayudaaya baali bamannyi kki Yesu kyateegeza bwagamba mu bigambo “Omwana wa Katonda” Okubeera omwana wa Katonda kuba kwetwaala kuba na kikula oba n’engeri emu ne Katonda. Kuba kweyita Katonda., era kuba kuvvoola Katonda mu maso g’Abakulu b’Abayudaaya era yensonga lwaki , basalawo attibwe okutuukiriza ekiri mu Abaleevi 24:15. Abaebbulaniya 1:3, egamba bulungi, “oyo bw'ali okumasamasa kw'ekitiibwa kye n'ekifaananyi kye ddala bw'ali”

Eky’okulabirako ekirala kiri mu Yokaana 17:12 nga Yudda ayogerwako nga “ omwana w'okubula.” Yokaana 6:71 atugamba nti Yuda yali mwana wa Simoni. Yokaana 17:12 etegeeza ki bweyita Yuda “ng’omwana w’okubula”? Ekigambo okubula kitegeeza “okusanyawo, okwononeka, ekisasiro.” Yuda teyali mwana wa “kwonooneka, kusanyaawo oba kisasiro,” wabula ebyo byali bintu ebiraga enfanana y’obulamu bwa Yuda. Yuda yali kulabisibwa kw’okubula. Mungeri yemu, Yesu yali mwana wa Katonda. Omwana wa Katonda aba Katonda. Yesu ye Katonda alabisibwa(Yokaana 1:1, 14)

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Kitegeeza kki Yesu okuba omwana wa Katonda?
© Copyright Got Questions Ministries