Ekibuuzo
Ddi era tufuna tutya Omwoyo Mutukuvu?
Okuddamu
Omutume Pawulo asomesa bulungi nti tufuna Omwoyo Mutukuvu akaseera we tukkiriza Yesu okuba Omulokozi waffe. 1 Abakkolinso 12:13 egamba, “Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu.”Abaruumi 8:9 etugamba nti omuntu bwaba talina Mwoyo Mutukuvu, taba wa Kristu: “Naye mmwe temuli mu mubiri, wabula mu mwoyo, oba ng'Omwoyo gwa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw'ataba na Mwoyo gwa Kristo, oyo si wuwe.” Abaefeeso 1;13-14 esomesa nti Omwoyo Mutukuvu ke kabonero akatekebwa kwabo bonna abakkiriza. “era nammwe mu ye, bwe mwawulira ekigambo eky'amazima, enjiri ey'obulokozi bwammwe, mu oyo, n'okukkiriza bwe mwakkiriza, ne muteekebwako akabonero n'Omwoyo Omutukuvu eyasuubizibwa, gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa envuma ya Katonda lw'erinunulibwa, ekitiibwa kye kitenderezebwe.”
Ebwayandiikibwa bino biraga bulungi nti Omwoyo Mutukuvu afunibwa akaseera omuntu walokolebwa. Pawulo teyandigambye nti ffena twabattizibwa Omwoyo omu era ffena twaweebwa Omwoyo gumu singa Abakkiriza bonna Abekkolinso bali tebalina Mwoyo Mutukuvu.Abaruumi 8:9 eyogezamanyi nyi omuntu yenna bwaba talina Mwoyo, tabeera wa Kristu. N’olwekyo, okuba n’Omwoyo Mutukuvu ke kabonero akalaga oba muntu yafuna obulokozi. Ekirala, Omwoyo Mutukuvu tasobola kubeera kabonero “Ka bulokozi” (Abaefeeso 1:13-14) bwaba tafunibwa kaseera muntu walokoleddwa. Ebyawandiika bingi biraga bulungi nti obulokozi bwaffe bunywezebwa akaseera we tukkiriza Kristu ng’Omulokozi.
Ensonga eno ebuzabuza era eriko oluyogaano lungi kubanga obuwereeza bw’Omwoyo Mutukuvu bubuzibwabuzibwa. Okufuna/era Omwoyo Mutukuvu okubeera muffe kubeerawo akaseera wetulokolebwa. Okujuzibwa Omwoyo si kya kaseera katono wabula kitukawo mu lugendo lw’omulokole lwonna. Newankubadde tugamba nti okubattizibwa kw’Omwoyo Mutukuvu kutukawo akaseera omuntu ng’afunye obulokozi, Abakristaayo abamu bakifuna. Kino kiretera Okubattizibwa kw’Omwoyo Mutukuvu okubuzaabuziibwa n’okufuna Omwoyo Mutukuvu nebalowooza nti akubattibibwa Omwoyo Mutukuvu nakwo kulina okutuukawo ku Kaseera ng’Omuntu afunye obulokozi.
Mu kumaliliza, tufuna tutya Omwoyo Mutukuvu? Tufuna Omwoyo Mutukuvu nga tukkiriza Yesu okubeera omulokozi waffe.(Yokaana 3:5-16). Tufuna tutya Omwoyo Mutukuvu? Omwoyo Mutukuvu afuuka waffe lubereera nga tumaze okukkiriza.
English
Ddi era tufuna tutya Omwoyo Mutukuvu?