settings icon
share icon
Ekibuuzo

Sitaani yaani?

Okuddamu


Abantu byebakkiriza ku sitaani byakisiru okutuuka kw’ebyo ebitategerekeka. Abamumanyi ng’akasajja akatono akamyufu akalina amayembe akatudde ku kibeganega kyo akakusendasenda okwonoona, abalala ate bo bamumanyi nga obubi obwaambaziddwa obuntu. Bayibuli, wabula, etuwa ekifaananyi ekituufu ekya Sitaani era n’engeri gy’akosamu obulamu bwaffe. Mu byangu, Bayibuli egamba nti Sitaani malayika eyaggwa okuva mu kifo kye mu gulu olw’ekibi nga kakano agyemera Katonda, ng’akola buli ekiri mu manyi ge okulwanyisa enteekateeka za Katonda.

Sitaani yatondebwa Katonda nga Malayika entukuvu. Isaaya 14:12 etugamba nti erinnya lya Sitaani nga tanaggwa yali ayitibwa Lucifa. Ezekyeeri 28:12-14 enyonyola nti Sitaani yatondebwa nga Kerubiimu, era nga ye malayika eyali asinga ekitiibwa. Yamera amalala olw’obulungi bwe n’ekitiibwa era nayagala okutuula ku ntebe ey’ekitiibwa okusinga Katonda. (Isaaya 14:13-14; Ezekyeeri 28:15; 1 Timoseewo 3:6). Amalala ga Sitaani gamuletera okugwa. Wetegereze emirundi gyagamba nti “ndi (ndirinnya, ndigulumiza, ndituula, ndirinnya, ndifaanana) mu Isaaya 14:12-15. Olw’ekibi, Katonda yagoba Sitaani mu gulu.

Sitaani yafuuka omufuzi kunsi era omulangira w'obuyinza obw'omu bbanga( Yokaana 12:31; 2 Abakkolinso 4:4; Abaefeeso 2:2). Aloopa (Okubikkulirwa 12:10), omukemi (Matayo 4:3; 1 Abassesalonika 3:5), era omulimba (Oluberyeberye 3; 2 Abakkolinso 4:4, Okubikkulirwa 20:3). Erinnya lye litegeeza “omulabe” oba oyo “alwanyisa” era erinnya lye eddala litegeeza “aloopa”.

Newankubadde yagobebwa okuva mu gulu, akyanonya okuyimusa entebe ye wagulu okusinga Katonda. Akyupula buli kimu Katonda kyakola, ngasuubira okusinzibwa era okuletawo okuyekera mu bwakabaka bwa Katonda. Sitaani y’ensibuko yamadiini ag’obulimba n’abuli nzikiriza etali ntuufu. Sitaani aja kukola buli ekili mu manyi ge okulwanyisa Katonda n’abo abamugoberera. Wabula, entuuko ya Sitaani kolebwa dda era yasibibwako—alibeera mu nyanja eyaka n’omuliro emirembe n’emirembe.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Sitaani yaani?
© Copyright Got Questions Ministries