settings icon
share icon
Ekibuuzo

Sabbiti elina kuba ku lunaku ki, Lwamukaaga oba Sande? Abakristaayo ddala balina okukuza Sabbiti?

Okuddamu


Abantu bangi bagamba elina e “Katonda yatekaawo Sabbiti okuva mu Edeni kubanga waliwo enkolagana wakati Sabbiti n’okutondebwa mu Kuva 20:11. Newankubade Katonda Okuwumula kwa Katonda ku lunaku Olwomusanvu (Oluberyeberye 2:3) kwasonga ku teeka lya Sabbiti elirija, tewali kyawandiikibwa kya Sabbiti ekikwata ku baana ba Yisirayeri nga tebanava mu Misiri. Tewali mu byawandiikibwa kakwate akagamba nti Sabbiti yakwatibwa okuva ku Adamu okutuusa mu Musa.

Ekigambo kya Katonda kyogera lunywe nti sabbiti nti okukwata sabbiti kaboneo wakati wa Katonda n’bana ba Yisirayeri, “Abaana ba Isiraeri kyebanaavanga bakwata ssabbiiti, okwekuumanga ssabbiiti mu mirembe gyabwe gyonna, okuba endagaano etaliggwaawo. Ke kabonero wakati wange n'abaana ba Isiraeri ennaku zonna: kubanga mu nnaku mukaaga Mukama yakola eggulu n'ensi, ne ku lunaku olw'omusanvu n'awummula, n'aweera.” Okuva 31:16-17)

Mu Kyamateeka 5 Musa adamu okwogera ku mateeka ekumi eri omulembe ogwadako ogwa Yisirayeeri. Era bweyamala okuduumira okukuza sabbiti mu nyiriri 12-14. Musa awa ensonga lwaki Sabbiti yawebwa abana ba Yisirayeri, “Abaana ba Isiraeri kyebanaavanga bakwata ssabbiiti, okwekuumanga ssabbiiti mu mirembe gyabwe gyonna, okuba endagaano etaliggwaawo. Ke kabonero wakati wange n'abaana ba Isiraeri ennaku zonna: kubanga mu nnaku mukaaga Mukama yakola eggulu n'ensi, ne ku lunaku olw'omusanvu n'awummula, n'aweera.” (Ekyamaeeka 5:15)

Ekigendererwa kya Katonda okuwa Sabbiti eri Yisirayeri tekyali kya baana ba Yisirayeri kujukira butonde, wabula basobole okujjukuira obuddu bwabwe mu Misiri, okotwaliza awamu. Jukkira ebintu omuntu byeyalina okukebera: Omuntu eyali wansi w’eteeka lya Sabbiti yali talina kuva waka ku Sabbiti (Okuva 16:29), yali talina kukuma muliro (Okuva 35:3), yali talina kukozesa muntu yenna ku Ssabiiti ( Ekyamateeka 5:14) Omuntu yenna eyamenya Sabbiti yali wa kutiibwa (Okuva 31:15; Okubala 15:32-35).

Eky’okulabirako mu Ndagaano empya kitulaga ensonga nnya enkulu:

1) Kristu, buli lwalabika mu ngeri ye ey’okuzuukira, olunaku nelwogerwako, luba lunaku lusooka mu wiiki.(Matayo 28:1, 9, 10, Makko 16:9; Lukka 24: 1:13; Yokaana 20:19, 26)

2) Emirund gyokka sabbiti gyeyogerwako okuva Mu Bikolwa okutuuka mu Okubikkulirwa, guba omukolo gw’abayudaaya kubuuliramu enjiri era munkola eya weema oba sinagiiga ( Ebikolwa 13-18). Pawulo awanddiika, “ N'eri Abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya, nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nnafuuka ng'afugibwa amateeka, nze kennyini nga sifugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka;”( 1 Abakkolinso 9:20). Pawulo tagenda mu yekaalu okukuŋŋana oba okuzimba abakkiriza, agenda kulokola abo ababula nga ayita mu kubasongera ku kibi kyabwe.

3) Bwamala awo, Pawulo agamba, “kaakano nnaagenda eri ab'amawanga”( Ebikolwa 18:6), Sabbiti teddamu kwogerwako wantu wonna walala.

4) Era Mukifo ky’okukunga abantu okukuuma sabbiti, ekittundu ekisigadde eky’Endagaano empya ate kigya abantu ku sabbiti (Okujjako Abakkoluosaayi 2:16)

Bwetutunuulira akatundu ak’okuna wagulu, tulaba nga tewali Mukkiriza w’omundagaano mpya alina kukuuma sabbiti, era tujja kulaba nga ensonga y’omukkiriza akuŋŋaana ku Sande Lwokka Bayibuli tegiwagira. Nga bwetugambye wagulu, waliwo omulundi gumu Pawulo wayogerera ku Sabbiti bwamala natandiika okuteeka esira ku Bannamawanga. “Kale omuntu yenna tabanenyanga mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti: ebyo kye kisiikirize ky'ebyo ebigenda okujja; naye omubiri gwe gwa Kristo. (Abakkolosaayi 2: 16-17). Sabbiti y’abayudaaya yajibwawo ku musaalaba Kristu weyasangula “endagaano eyawandiikibwa mu mateeka, eyatwolekera, eyali omulabe waffe: nayo n’agiggyamu wakati mu kkubo, bwe yagikomerera ku musalaba:” (Abakkolosaayi 2:14).

Ensonga eno eyogerwako emirund egisuka mu gumu mu Ndagaano empya: “Omuntu omulala alowooza olunaku olumu okusinga olulala, omulala alowooza ennaku zonna okwenkanankana. Buli muntu ategeererenga ddala mu magezi ge yekka. Alowooza olunaku, alulowooza ku bwa Mukama waffe: n'oyo alya, alya ku bwa Mukama waffe, kubanga (Abaruumi 14:5-6). “aye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya ennyuma mu bigambo eby'olubereberye ebitalina maanyi ebinafu, ate bye mwagala okufugibwa omulundi ogw'okubiri? Mukwata ennaku n'emyezi n'ebiro n'emyaka. (Abaggalatiya 4:9-10).

Wabula abamu bagamba nti ekiragiro kya Konsitanteeni mu mwana A.D. 321, kyakuusa Sabbiti okuva ku Lwomukaaga okudda ku Sande. Lunaku kki ekanisa eyasooka lweyasisinkananga okusinza? Ebyawandiikibwa tebyogerako ku bakkiriza kukuŋŋana Kulwomukaaga (Sabbiti) okusinza. Wabula waliwo ebyawandiikibwa ebiraga obulungi okukuŋŋana ku lunaku olusooka olwa Wiiki okugeza Ebikolwa 20:7 egamba, “Awo ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti, bwe twakuŋŋaana okumenya emigaati,” Mu 1 Abakkolinso 16:2, Pawulo akuutira Abekkolinso. “Ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti buli muntu mu mmwe aterekenga ewuwe nga bw'ayambiddwa”. Kubanga Pawulo okuwaao kuno okuba “saviisi” mu 2 Abakkolinso 9:12, okuwaayo kuno kuwaayo kuno kuteekwa okuba nga kukwatagana n’okusinza ku Sande okw’abakristaayo. Mu byafaayo, Sande wabula si Lwamukaaga, lwelwali olunaku olutuufu olw’okukuŋŋaana mu Kanisa era ekintu kino kyatandika mu kyasa ekisooka eky’ekanisa.

Sabbiti yaweebwa Yisirayeri, si Kanisa. Sabbiti ekyali ku lunaku Lwamukaaga, si Sande era tekyukanga. Wabula Sabbiti kitundu ku mateeka g’Endagaano enkadde, era Abakristaayo basumululwa okuva mu mateeka ( Abaggalatiya 4:1-26; Abaruumi 6:14). Tekyetaagisa Mukristaayo kukuuma Sabbiti kebeere Sande oba Olwomukaaga. Olunaku olusooka mu wiiki Olwa Sande, Olunaku lwa Mukama ( Okubikkulirwa 1:10) lukuza Ekitonde Ekigya, nga Kristu ye Mutwe gwaffe mu kuzuukira. Tetulina kukuuma mateeka ga Musa agalagira okuwumula ku lunaku lwa Sabbiti., wabula tulina eddembe okugoberera Kristu eyazuukira. Omutume Pawulo yagamba ntu buli muntu alina okusalawo oba alina okukuuma Sabbiti, “Omuntu omulala alowooza olunaku olumu okusinga olulala, omulala alowooza ennaku zonna okwenkanankana. Buli muntu ategeererenga ddala mu magezi ge yekka.” (Abaruumi 14:5). Tulina okusinza Katonda buli lunaku ssi Lwamukaaga lwokka oba Sande.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Sabbiti elina kuba ku lunaku ki, Lwamukaaga oba Sande? Abakristaayo ddala balina okukuza Sabbiti?
© Copyright Got Questions Ministries