settings icon
share icon
Ekibuuzo

Abazadde abakristaayo balina kukola kki bwebaba nga balina omwana eyazaawa?

Okuddamu


Mu lugero lw’omwana eyazaawa mulimu ebintu bingi ebikulu abazadde bangi abakristaayo byebasobola okukozesa okukwasaganya omwana oba abaana ababa batambulira kubo ely’enjawulo kw’elyo lyebaba babakulizaamu. Abazadde baba balina okukitegeera nto omwana bwakula natuuka ku kigera eky’omuntu omukulu, aba takyali wansi w’amateeka ga bazadde be.

Mu lugero lw’omwana eyazaawa, omwana omuto atwala ebyobusika bwe nagenda mu nsi eyewala era nabyonoona. Omwana bwaba nga ssi mulokole, kuno kuba kukola kintu ekimusuubizibwaamu. Eri omwana eyasalawo era nayatula okukkiriza kwe mu Kristu, omwana ono tumuyita “eyazaawa” Ekigambo “eyazaawa” (mu kyawandiikibwa kino) kitegeeza omuntu eyayonoona eby’obuggaga bye. Ekyokulabirako ye mwana eyava ewaka nayonoona eby’obusika eby’omwoyo bazadde be byebaali bamutaddemu. Emyaka gyonna egy’okumukuza, okumusomesa, okumwagala, okufaayo gyaali gyonna omwana ajerabira nga ajemeera Katonda. Kubanga okujeema kwonna kuba eri Katonda okusooka, era kulabisibwa mu kujeemera buyinza bwa bazadde.

Bwewetegereza, Taata mu lugero tagaana mwana kugenda. Era tagoberera mwanawe okusobola okumukuuma. Wabula, abazadde basigala waka mu bwesigwa era basaba, era omwana “bweyeddamu” nakyuuka okuda ewaka, muzadde we aba amulinze era nga atunula era adduka okusanga era okwaniriza omwana nebwaba “nga akyali wala.”

Batabani ne bawala baffe bwebatuvaako nebagenda bokka—katugeze bakulu mu myaka era bakkiriza mu mateeka—era nebakola okusalawo kwetumanyi nga kugenda kuvaamu ebitali birungi, abazadde balina okubaleka nebagenda. Omuzadde tagoberera mwana, era yayimirira mu kubo ly’ebyo byona ebinatukawo. Wabula, omuzadde asigala waka, nga mwesigwa era nga asaba obubonero bw’okwenenya n’okukyuuka. Okutuusa nga abirabyeko, omuzadde asigala ayimiridde ku kuluŋŋamya kwe, talina kuwagira mwana ajeemye, era talina kuyimirira mu kubo lye (1 Petero 4:15).

Abaana bwebakula nebetuuka, baba wansi w’obuyinza bwa Katonda era n’obuyinza Katonda bweyawa Gavumenti. (Abaruumi 13:1-7). Nga abazadde, tusobola okuyamba abaana abaabula nga tubasabira era singa tweteekateeka okubayamba singa basalawo okudda eri Katonda. Katonda ebiseera ebimu akozesa okuboonaboona kwetwetusizaako okutuletera amagezi era kiri eri buli muntu osalawo kyalondako. Ng’abazadde, tetusobola kulokola baana baffe—Katonda yekka yasobola okukikola, Okutuusa nga akaseera ako katuuse, tulina kutunula na kusaba netulekera Katonda okusalawo eky’okukola. Kano kasobola okuba akaseera ak’obulumi, wabula bwekakwatibwa mu ngeri ya bayibuli, kasobola kuleeta mirembe mu mutima ne birowoozo. Tetusobola kusalira baana baffe musango, Katonda yekka yalina okubasalira omusango. Mu kino mulimu emirembe mingi: “Omulamuzi w'ensi zonna talikola bya butuukirivu?”

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Abazadde abakristaayo balina kukola kki bwebaba nga balina omwana eyazaawa?
© Copyright Got Questions Ministries