settings icon
share icon
Ekibuuzo

Lwaki Katonda yateeka omuti gw’okumanya obulungi n’obubi mu Nimiro ya Edeni?

Okuddamu


Katonda yateeka omuti gw’okumanya obulungo n’obubi mu nimiro ya Edeni ouwa Adamu ne Kaawa eddembe okusalawo okumugondera oba okumujemeera. Adamu ne Kaawa balina eddembe okukola kyonna kyebaali baagala., okujako okulya okuva ku muti gw’okumanya obulungi n’obubi. Oluberyeberye 2:16-17, “Mukama Katonda n'alagira omuntu n'amugamba nti Buli muti ogw'omu lusuku olyangako nga bw'onooyagalanga: naye omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi togulyangako: kubanga olunaku lw'oligulyako tolirema kufa.” Singa Katonda teyawa Adamu ne Kaawa kusalawo oba dembe kulondawo, nandibadda nga Loboti oba ebyuma nga bikola ebyo byokka ebyabiteekwamu okukola. Katonda yatonda Adamu ne Kaawa okuba ebitonde ebirina edembe okusalawo, ebisobola okulondawo wakati w’ekirungi n;ekibi. Adamu ne Kaawa okusobola okuba n’edembe, baali balina okuba nga basobola okulondawo.

Tewaliwo kintu kibi kyali ku muti oba ku kibala eky’omuti. Kiyinza okuba nti omuti nga ggwo oba ekibala kyagwo gwali tegusobola kuwa Adamu ne Kaawa kumanya kusingawo. Ekibala kisobola okuba kyalina Vitamini C n’ebiriisa ebirala wabula nga tekyalina kiriisa kyonna kya Mwoyo. Wabula, ekikolwa ky’okujeemera Katonda kyekyalina akatyabaga. Ekibi ekyo kyagula amaaso ga Adamu ne Kaawa eri obubi. Omulundi ogusooka, basobola okumanya okuba omwonoonyi, basobola okuwulira ensonyi, era okwagala okwekweka eri Katonda. Ekibi ky’okujeemera Katonda kyaleetera okwonooneka mu bulamu bwabwe era n’emunsi. Okulya ekibala, okuba ekikolw eky’obujeemu eri Katonda, kyekyawa Adamu ne Kaawa okumanya obubi—n’okumanya obwerere bwabwe (Oluberyeberye 3:6-7).

Katonda teyayagala Adamu ne Kaawa kwonoona. Katonda yamanya ngekikolwa tekinatuukawo nti kija kutuukawo. Katonda yamanya nti Adamu ne Kaawa bajja kwonoona era nti bajja kuleeta obubi, okuboonaboona n’okufa mu nsi. Lwaki kakano Katonda yaleka Sitaani okukema Adamu ne Kaawa? Katonda yaleka Sitaani okukema Adamu ne Kaawa okubasindiikiriza okukola okusalawo. Adamu ne Kaawa basalawo mu dembe okujeemera Katonda era okulya ekibala ekyali kibagaaniddwa. Ebyaddirira—obubi, ekibi, okuboonabona, endwadde, n’okufa—byalya ensi okuva olwo. Okusalawo kwa Adamu ne Kaawa kwaletera buli muntu okuzaalibwa n’embala y’ekibi, n’okwagala okwoonona. Okusalawo kw Adamu ne Kaawa kwekaletera Yesu okufa ku musalaba era okuyiwa omusaayi gwe ku lwaffe. Okuyita mu kukkiriza mu Kristu, tusobola okuwona ekibonerezo ky’ekibi, era oluvanyuma kunkomerero, okuwona ekibi kyenyini. Tuwogere wamu ebigambo bya Pawulo Omutume mu Abaruumi 7: 24-25, “Nze nga ndi muntu munaku! ani alindokola mu mubiri ogw'okufa kuno? Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe. Kale bwe kityo nze nzekka mu magezi ndi muddu wa mateeka ga Katonda, naye mu mubiri wa tteeka lya kibi.”

EnglishDdayo ku Luganda Ewasokerwa

Lwaki Katonda yateeka omuti gw’okumanya obulungi n’obubi mu Nimiro ya Edeni?
© Copyright Got Questions Ministries