settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala okuzuukira kwa Yesu Kutuufu?

Okuddamu


Ebyawandiikibwa byogera bulungi nti Yesu Kristu yazuukira okuva mu bafu. Okuzuukira kwa Yesu kwawandiikibwa bulungi mu Matayo 28:1-20; Makko 16:1-20; Lukka 24:1-53; Yokaana 20:1-21; 25. Yesu eyazuukira era yalabika mu Bikolwa by’abatume (Ebikolwa 1:1-11). Mu byawandiikibwa bino osobola okufuna obukakafu bungi obw’okuzuukira kwa Yesu. Okusooka, y’engeri abayigirizibwa gyebakyukamu. Baava mu kibinja ky’abasajja abali batidde era abakwese, nebafuuka abasajja abamanyi, abavumu mu kubuliira enjiri mu nsi yonna. Kiki ekirala ekisobola okunyonyola enkyukakyuka okugyako ensonga nti Yesu eyazuukira yali abalabikkidde?

Eky’okubiri bwe bulamu bwa Pawulo Omutume. Kiki ekyamukyuusa okuva kukuyiganya ekanisa okufuuka omutume w’ekanisa? Kyatukawo ku luguudo lw’edamasiko (Ebikolwa 9:1-6). Obukakafu obulala y’entaana eyali enkalu. Kristu bwaba teyazuukira, omulambo gwe gwadda wa? Abayigirizwa n’abalala balaaba entaana weyaziikibwa. Bwebadda basanga entaana nkalu. Basanga omulambo teguliyo. Bamalayika balangirira nti yazuukira mu bafu nga bweyasubiiza.(Mataayo 28:5-7). Obujuizi Obwokuna, obw’okuzuukira be bantu abangi beyalabikira (Matayo 28:5; 9, 16-17; Makko 16:9; Lukka 24:13-35; Yokaana 20: 19, 24, 26-29, 21:1-14; Ebikolwa 1:6-8; 1 Abakolinso 15:5-7).

Obukakafu obulala obw’okuzuukira kwa Yesu bwe buzito obunene abatume bwebaateeka ku Kuzuukira kwa Yesu. Ekyawandiikibwa ekikulu kiri mu 1 Bakolinso 15. Mu suula eno, omutume Pawulo anyonyola lwaki kikulu okutegeera n’okukkiriza okuzuukira kwa Yesu. Okuzuukira kukulu olw’ensonga zino wamanga.

1. Bwaba Kristu teyazuukira, abakkiriza nabo tebalizuukira. (1 Abakolinso 15: 12-15). 2)

2. Bwaba nga Kristu teyazuukira, okuva mu bafu, Saddaka y’ebibi byaffe teyamala.

Olw’ensonga eyo abakkiriza tebasonyiyibwa bibi byabwe era balisigala bafu n’ebanaafa. (Abakolinso 15:16-19) Tewagya kubaawo bulamu obutaggwaawo (Yokaana 3:16), “Naye kaakano Kristo yazuukizibwa mu bafu, gwe mwaka omubereberye ogw'abo abeebaka. (1 Abakkolinso 15:20).

Ekisembayo, ebyawandiikibwa bikaka nti abo bonna abakkiriza mu Kristu balizukizibwa mu bulamu obutaggwaawo nga yye (1Abakkolinso 15:20-23). 1 Abakkolinso 15 egenda mumaaso okunyonyola engeri okuzuukira kwa Kristu bwe kukakasa obuwanguzi bwe eri ekibi era n’ekutuwa amanyi okutambulira mu buwanguzi eri ekibi (1 Abakkolinso 15:24-34). Eraga engeri ey’ekitiibwa omubiri gwetunafuna ngatuzuukidde bwegunabeera. (1 Abakkolinso 15:35-49). Egamba nti, olw’okuzuukira kwa Kristu, bonna abamukkiriza balina obuwanguzi eri okufa (1 Abakkolinso 15:50-58).

Okuzuukira kwa Kristu nga mazima ga kitiibwa! Kale, baganda bange abaagalwa, munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongeranga bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng'okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe. ( 1 Abakkolinso 15:58). Okusinzira ku Bayibuli, okuzuukira kwa Yesu Kristu kutuufu. Bayibuli elaga okuzuukira kwa Yesu Kristu, eraga nti kwalabibwa abantu binna era yeyongerayo okuzimba ensomesa ku mazima agali mu byafaayo by’okuzuukira kwa Yesu Kristu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala okuzuukira kwa Yesu Kutuufu?
© Copyright Got Questions Ministries