settings icon
share icon
Ekibuuzo

Okuvoola omwoyo kyeki? Manya ntya nti nvodde Omwoyo Omutukuvu?

Okuddamu


Ensonga “y’okuvoola omwoyo” eyogerwako mu Makko 3:22-30 ne Matayo 12:22-32. Yesu yali yakola ekyamagero. Omusajja eyalina emizimu yali aleteddwa eri Yesu era nga Yesu amugobyemu emizimu, namuwonya obuzibe n’obwakasiru. Abalabi bewunya oba ono ye mununuzi gwebali balinze okumala ebanga. Ekibiina ky’Abafalisaayo, bwebwawulira ebyogerwa ku mulokozi, bayanguwa okuzikiza okukkiriza kwona okwali kutandise okusibuka mu bantu: “Naye Abafalisaayo bwe baawulira, ne boogera nti Oyo tagoba dayimooni, wabula ku bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.” (Matayo 12:24). Yesu yaddamu Abafalisaayo n’ensonga lwaki yali tagoba mizimu mu linnya lwa Sitani.(Matayo 12:25-29). Era awo weyayogerera ku kuvoola omwoyo mutukuvu. “Kyenva mbagamba nti Abantu balisonyiyibwa buli kibi n'eky'okuvvoola, naye okuvvoola Omwoyo tekulisonyiyika. Buli muntu alivvoola Omwana w'omuntu alisonyiyibwa; naye buli muntu alivvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa, newakubadde mu mirembe egya kaakano, newakubadde mu mirembe egigenda okujja.”(31—32).

Ekigambo okuvoola kitegeeza, “Okuvuma” Ekigambo kisobola okukozesebwa eri ebibi nga okuvuma Katonda, oba okutyoboola ebintu ebikwatagana ku Katonda. Okuvoola era kusobola okutegeeza okusiba ku Katonda ebintu ebibi oba okugaana okumuwa ebintu ebirungi ebimugwaanira. Okuvoola kwetwogerako leero kuyitibwa, “Okuvoola omwoyo mutukuvu” mu Matayo 12:31. Abafalisaayo, bwebalaba obukakafu nti Yesu yali akola ebyamagero mu manyi g’omwoyo mutukuvu, bagamba nti Yesu yali ayambaddwa omwoyo omubi.(Matayo 12:24). Wetegereze mu Makko 3:30). “kubanga baayogera nti Alina dayimooni.”

Okuvoola Omwoyo Mutukuvu kwakwasiganyizibwa ku kulowooza nti Yesu yalina zi dayimooni wabula ssi Mwoyo Mutukuvu. Okuvoola kuno tekusobola kuddibwamu leero. Abafalisaayo bali mu kaseera akenjawulo mu byafaayo: balina bannabbi era wamu n’amateeka, balina Omwoyo Mutukuvu ng’akola mu mitima gyabwe. Balina Omwana wa Katonda mwenyini nga ayimiridde mu maso gabwe, era balaba ebyamagero byeyakola. Tewali mu byafaayo by’ensi(Oba tewabangayo) muntu yenna yaweebwa musana gwa bwakatonda nga akaseera ako. Bwewaba nga waliyo omuntu eyali alina okutegeera Yesu olw’ekyo kyeyali, bali balina kuba Bafalisaayo. Kyoka basalawo kugaana kukkiriza. Basalawo kigenderere kusiba emirimu gy’Omwo Mutukuvu ku Dayimoni, newankubadde bali bamanyi amazima era nga balina obukakafu. Yesu yabagamba nti okusalawo ekuziba amaso gabwe mu ngeri y’ekigenderere kwali tekusobola kusonyiyibwa. Okuvoola kwabwe okw’Omwoyo Mutukuvu kyekali ekisembayo mu kugaana ekisa kya Katonda. Bali batandise olugendo lwabwe, era Katonda yali agenda kubaleka bolekere okusaanawo nga tabakute ku mukono.

Yesu yagamba ebibiina nti okuvoola Abafalisaayo kwebali bakoze eri Omwoyo Mutukuvu tekulisonyibwa“ newakubadde mu mirembe egya kaakano, newakubadde mu mirembe egigenda okujja.”(Matayo 12:32). Kwekugamba nti ekibi kyabwe tekirisonyibwa emirembe gyonna. Si kati, oba mu bulamu obutaggwaawo. Nga Makko 3:29 bwagamba, “naye azzizza omusango ogw'ekibi eky'emirembe n'emirembe:”

kyaddirira amangu ago ng’Abafalisaayo beganye, Yesu mu lujjudde (era nga Katonda nabo abeganye) kirabibwa mu suula edddako. Yesu omulundi ogusooka, “N'ayogera nabo bingi mu ngero,”( Matayo 13:3, Makko 4:2). Abayigirizwa bewunya lwaki Yesu yakuusa engeri gyeyali asomesa era Yesu nanyonyola lwaki akozesa engero. “ N'addamu n'abagamba nti Mmwe muweereddwa okumanya ebigambo eby'ekyama eby'obwakabaka obw'omu ggulu naye bo tebaweereddwa. Kubanga buli alina, aliweebwa, era alisukkirirawo: naye buli atalina aliggibwako ne ky'ali nakyo.Kyenva njogera nabo mu ngero kubanga bwe balaba tebalaba, bwe bawulira, tebawulira, so tebategeera.”Yesu yatandika okubikula amazima ng’ayita mu mu ngero kubanga abakulu ba abayudaaya bali bamweganye.

Okuvoola omwoyo tekusobola kuddibwamu leero, wabula abantu abamu bagezaako. Yesu Kristu tali kunsi—Atudde ku kudyo okwa Katonda. Tewali muntu asobola kulaba Yesu nga akola ekyamagero nakiwa Sitaani mu kifo ky’Omwoyo.

Ekibi ekitasonyiyibwa ky’ekibi ky’obutakkiriza. Omwoyo alumiriza ensi ey’ekibi, obutukkirivu n’omusango(Yokaana 16:8). Okugaana okulumirizibwa n’ogaana okwenenya kuba kuvoola Mwoyo. Tewali kisonyiwo, mu nsi eno oba mu mirembe egijja okugaana okulunɲɲamya kw’omwoyo okukkiriza Yesu nafiira mu buttakkiriza. Okwagala kwa Katonda kwa lwatu: “Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo.”(Yokaana 3:16). Era ekyokulondako nakyo kwa lwatu, “Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.(Yokaana 3:36).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Okuvoola omwoyo kyeki? Manya ntya nti nvodde Omwoyo Omutukuvu?
© Copyright Got Questions Ministries