settings icon
share icon
Ekibuuzo

Kitegeeza kki okusaba mu linnya lya Yesu?

Okuddamu


Esaala mu linnya lya Yesu esomesebwa mu Yokaana 14:13-14, “Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana. Bwe munansabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga.” Bamu bakozesa bubi ekyawandiikibwa kino nga balowooza nti bwogamba nti “mu linnya lya Yesu” ku nkomerero y’esaala kireteera Katonda okuddamu esaala yo. Kino kiba kutwala bigambo “mu linnya lya Yesu” okubaamu amanyi agenjawulo. Kino Bayibuli tekiwagira.

Okusaba mu linnya lya Yesu kitegeeza kusaba n’obuyinza bwe era kitegeeza okusaba Katonda Kitaaww e okukola ku kusaba kwaffe kubanga tuze gyali mu linnya ly’omwana we Yesu Kristu. Okusaba mu linnya lya Yesu kitegeeza ekintu kyekimu n’okusabira mu kwagala wa Katonda. “Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana. Bwe munansabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga.” (1 Yokaana 5:14-15). Okusaba mu linnya kwekusabira ebintu ebiwa Katonda ekitiibwa era ebigululiza Yesu.

Okugamba “mu linnya Yesu” ku nkomerero y’esaala ssi kwogera bigambo ebirina amamnyi ag’bufuusa. Bwetuba nga bwetusaba mu saala tebiweesa Katonda kitiibwa era nga tebiri mu kwagala kwe, okugamba “mu linnya lya Yesu tekukola makulu gonna. Okusaba mu linnya lya Yesu mu bwesimbu era nekigendererwa eky’okumuwa ekitiibwa kyekisinga obukulu, ssi kwogera ebigambo ebimu ku nkomerero y’esaala. Ebigambo ebiri mu saala ssi ky’ekikulu, wabula ekigendererwa ekiri emabega w’esaala. Okusabira ebintu ebiri mu kwagala kwa Katonda kyekinyusi ekiri mu kusaba mu linnya lya Yesu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Kitegeeza kki okusaba mu linnya lya Yesu?
© Copyright Got Questions Ministries