Ekibuuzo
Lwaki kikulu okukuɲɲaana mu Kanisa?
Okuddamu
Bayibuli etugamba nti tulina okuuɲɲaana mu Kanisa tusobole okusinza Katonda wamu n’abakkiriza abalala era tusobole okusomesebwa ekigambo okusobola okukula mu mwoyo. Ekanisa eyasooka “ banyiikiriranga okuyigirizibwa kw'abatume, ne mu kusseekimu, ne mu kumenya emigaati ne mu kusaba.” (Ebikolwa 2:42). Tulina okugoberera eky’okulabirako ekyo era netukola ebintu byekimu.
Tewaliyo Kanisa oba kizimbe mu naku ezasooka, naye “Nabo nga banyiikiriranga bulijjo n'omwoyo gumu mu yeekaalu, nga bamenya emigaati mu nnyumba eka, ne balyanga emmere n'essanyu n'omutima ogutalina bukuusa,” (Ebikolwa 2:46). Wona okukuɲɲaana wekwali, abakkiriza abafuba era bateeka esira ku kusa ekimu n’abakkiriza abalala era n’okusomera ekigambo kya Katonda.
Okukuɲɲaana mu Kanisa si “kiteeso kirungi” kyoka, wabula kwagala kwa Katonda eri Abakkiriza. Baebbulaniya 10:25 egamba tetulekangayo “kukuŋŋaana wamu, ng'abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.” Ne mu Kanisa eyasooka, waaliyo abantu abalina omuze gw’obutayagala okukuɲɲaana. Omuwandiisi w’Abaebbulaniya agamba nti ekyo kikyamu. Twetaaga okuzibwamu amanyi okuva mu Kanisa.
Ekanisa kifo abakkiriza webasobola okwagalana n’abaoluganda (1Yokaana 4:12), okwezaɲɲanamu amanyi (Abaebbulaniya 3:13), okuzaamu ab’oluganda okwagalana n’okukola obulungi.(Abaebbukaniya 10:24), okuwereganya (Abaggalatiya 5:13), okukulemberegana (Abaruumi 15:14), okwesaɲɲamu ekitiibwa (Abaruumi 12:10), n’okukwatibwagana ekisa(Abaefeeso 4:32).
Omuntu bweyesiga Yesu Kristu olw’okulokoka, afulibwa memba oba ekitundu ku mubiri gwa Kristu (1 Abakkolinso 12: 27). Omubiri gw’ekanisa okukola obulungi, byonna ebitundu bilina okuba nga webiri era nga bikola. (1 Abakkolinso 12:14-20). Tekimala kukuɲɲaana mu Kanisa, tulina okwenyigira mu buwereeza eri abantu abalala, nga tukozesa ebirabo by’Omwoyo Katonda byatuwadde (Abaefeeso 4:11-13). Omukkiriza tasobola kutuuka ku kigera kya bukulu mu mwoyo okujako nga afulumiza obuwereza, ate era ffena twetaaga okuyambibwa era okuzibwaamu amanyi abalunga abalala (1 Abakkolinso 12:21-26).
Olw’ensonga zino n’endala, okukuɲɲaana, okwenyigira mu buwereza, n’okusa ekimu n’aboluganda kilina okuba ekitundu ku bulamu bw’omukkiriza. Okugenda ku Kanisa buli wiiki ssi kkatala eri omukkiriza, wabula omuntu wa Kristu yenna alina kuba n’okuyayaana okusinza Katonda, okuwulira ekigambo kye, n’okusa ekimu n’aboluganda.
Yesu lye Jinja lyekanisa elyomusonda (1 Petero 2:6), era tulinga “era nammwe ng'amayinja amalamu muzimbibwa ennyumba ey'omwoyo okubeeranga bakabona abatukuvu okuwangayo ssaddaaka ez'omwoyo, ezisiimibwa Katonda ku bwa Yesu Kristo.” (1 Peter 2:5). Ng’ebizibisibwa ebyenyumba ya Ya Katonda “ey’omwoyo” , tulina akakwate ku buli omu era akakwate ako kalabisibwa ekanisa bwekuɲɲaana ku Kanisa.
English
Lwaki kikulu okukuɲɲaana mu Kanisa?