settings icon
share icon
Ekibuuzo

Nsobola ntya okujjuzibwa Omwoyo mutukuvu?

Okuddamu


Olunyiriri olukulu mu kutegeera okujjuzibwa kw’omwoyo mutukuvu luri mu Yokaana 14:16, Yesu bweyasuubiza Omwoyo okuba mu bakkiriza era nti ajja kubababeera mu ebanga lyona. Kikulu okwawula okujjuzibwa Omwoo mutukuvu n’okuweebwa Omwoyo mutukuvu. Omwoyo mutukuvu okuba mu bantu si kya balondemu wabula kya Bakkiriza bonna. Waliwo ebyawandiikibwa bingi ebiwagira ensonga eno. Okusooka, Omwoyo mutukuvu kirabo ekiweebwa bonna abakkiriza mu Kristu nga tewali alekeddwa era nga tewali kakwakulizo konna okujako okukkiriza mu Kristu Yesu. (Yokaana 7:37-37). Eky’okubiri, Omwoyo mutukuvu awebwa ku kaseera omuntu wakkiriza Yesu oba walokokera.(Abaefeeso 1:13). Abagalatiya 3:2 ekattiriza amazima gegame era egamba nti akabonero akateekebwa mulokole n’omwoyo okutuula mu mulokole byonna bitukawo ku kaseera ak’okukkiriza. Eky’okusatu,Omwoyo Mutukuvu atuula mu mukkiriza ebanga lyonna era lubeerera. Omwoyo mutukuvu aweebwa amukiriza nga ekinamuyamba okufuna okugulumizibwa okugya mu Kristu (2 Abakkolinso 1:22; Abaefeeso 4:30).

Kino kyawukana ku kujuzibwa Omwoyo okwogerwako mu Abaefeeso 5:18. Tusobola okwewaayo eri Omwoyo asobole okutufuga era okutujulira. Abaruumi 8:9, n’Abaefeeso 1;13-14 egamba Omwoyo atuula mu buli mukkiriza yenna wabula nti asobola okumunakuwazanga (Abaefeeso 4:30), era emirimu gye muffe netugizikiza. (1 Abasessalonika 5:19). Bwetukkiriza kino okutuukawo, tetufuna bujjuvu bwemirimu gy’Omwoyo Mutukuvu muffe era n’amanyi ge. Okujjuzibwa Omwoyo Mutukuvu kitegeeza nti alina eddembe okukolera mu buli kitundu muffe netusobola okukola Katonda byayagala. Okujjuzibwa Omwoyo mutukuvu tekikwatagana ku bikolwa bya wabweru byokka; wabula akola mu bilowoozo byaffe ebyomunda era n’ebigenderwerwa by’ebikolwa byaffe. Zabbuli 19:14 egamba, “Ebigambo eby'omu kamwa kange n'okulowooza okw'omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange.”

Ekibi kyekilemesa okujjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, era okugondera Katonda y’engeri Omwoyo gyakumibwamu. Abaefeeso 5: etulagira okujjuzibwa Omwoyo omutukuvu: wabula, si kusaba kujjuzibwa Omwoyo kwetuletera okujjuzibwa. Okugondera ebyo Katonda byalagira kisobozesa Omwoyo okukola muffe mu ddembe. Kubanga tukyalina ekibi, tekiboka kujjuzibwa mwoyo buli kiseera. Bwetuyonoona, tulina okwenenya eri Katonda netuza buggya obweyamu bwaffe obw’okujjuzibwa Omwoyo n’okukulemberwa Omwoyo.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Nsobola ntya okujjuzibwa Omwoyo mutukuvu?
© Copyright Got Questions Ministries