Ekibuuzo
Okubatizibwa kw’omwoyo kyeki? Abakristaayo bafuna ddi okubatiziba kw’omwoyo?
Okuddamu
Okubatizibwa kw’omwoyo omutukuvu kitegeeza Omwoyo wa Katonda bwagatta omukkiriza wamu ne Kristu era wamu n’abakkiriza abalala mu mubiri gwa Kristu omuntu bwalokolebwa. Okubatizibwa kw’omwoyo. Yokaana omubatiza(Makko 1:8), ne Yesu bayogera ku kubatiziba kw’omwoyo omutukuvu nga Yesu tanalinnya kugenda mu Gulu. “ kubanga Yokaana yabatiza n'amazzi; naye mmwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu mu nnaku si nnyingi.”(Ebikolwa 1;5). Ekisuubizo kino kyatukkirizibwa ku kulunaku lwa Pentekooti.(Ebikolwa 2:1-4); okusookera ddala. Abantu bajjuzibwa omutukuvu era ekanisa yali etandise.
1 Abakkolinso 12:12-13 nkulu nnyo ku kubattizibwa kw’omwoyo mutukuvu: “ Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani,”. Wetegereze nti “ffena” twabattizibwa omwoyo mutukuvu—abakkiririza bonna bafuna okubatizibwa, ekifananyizibwako n’obulokozi, era si balondemu bokka abakifuna. Newankubadde Abaruumi 6:1-4 teyogera ku Mwoyo wa Katonda, enyonyola ngeri omukkiriza ekifo kyaberamu mu maso ga Katonda, engeri efananako ku 1 1Abakkolinso. “Kale tunaayogeza tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga?
Kitalo. Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate? Oba temumanyi nga ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu nga twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe? Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu.
Amazima gano wamanga gamugaso nnyo okutuyamba okunyweza okutegerera kwafe okubatizibwa kw’omwoyo, Okusooka, 1 Abakkolinso 12:13 eyogera lunywe nti bonna babatizibwa, era nga bonna nga bwebawebwa omwoyo okunywa.(Omwoyo okubeera mu mukkiriza). Eky’okubiri, tewali mu byawandiikibwa, abakkiriza webagambibwa okubattizibwa n’omwoyo, mu mwoyo oba omwoyo, oba mu ngeri yonna okunoonya okubattizibwa omwoyo omutukuvu. Kino kitegeza nti bafuna omwoyo mutukuvu. Eky’okusatu, Abaefeeso 4:5 eyogera ku Mwoyo Mutukuvu. Eno bwebwa nga yensonga, okubattizibwa kw’omwoyo mutukuvu mazima buli mukkiriza akuyitamu nga bwekiri mu kukkiriza era ne mu Kitafe.
Mu kuwumbawumba, okubatizibwa kw’omyoyo mutukuvu kukola ebintu bibiri, 1) kutugatta ku mubiri gwa Kristu, era 2) kuteeka mu nkola okukomererwa kwaffe wamu ne Kristu. Okuba mu mubiri gwe kitegeza nti twazuukira wamu naye mu kuzibwa obuggya okw’obulamu(Abaruumi 6:4). N’olwekyo, tulina okukozesa ebirabo byaffe eby’omwoyo okuyamba omubiri okukola obulungi nga 1 Abakkolinso 12:13, Okufuna okubattizibwa kw’omwoyo omu kuyamba okukuma obumu mu Kanisa, nga bwekiri mu Abaefeeso 4:5.. Okusa ekimu ne Kristu mu Kufa, okuziikibwa, n’okuzuukira kwe okuyita mu kubattizibwa kw’omwoyo kunweeza okusobola okwawukana ku manyi ag’ekibi ekituula muffe era n’okutuyamba okutambulira mu bulamu obuggya.
English
Okubatizibwa kw’omwoyo kyeki? Abakristaayo bafuna ddi okubatiziba kw’omwoyo?