settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala Bayibuli eyogera ku bwakatonda bwa Yesu?

Okuddamu


Ngo gaseeko Yesu ye mwenyini okweyita Katonda, abayigirizibwa be nabo bakkiriza obwakatonda bwe. Bayogera ku Yesu nti alina obuyinza okusonyiwa ebibi—ekintu ekikolwa Katonda yekka—kubanga Katonda gwetusobya bwetwonona.(Ebikolwa 5:31; Zabuli 130:4); Yeremiya 31:34). Era okufananako kuno okweyita kwa Yesu okuba Katonda, Yesu era agambibwa okuba nga yaalilamula abalamu n'abafu.(2 Timoseewo 4:1), Tomasi yakabirira Yesu "Mukama wange era Katonda wange" (Yokaana 20:28). Pawulo ayita Yesu, "Katonda owamanyi era Omulokozi" (Tito 2:13) era atulaga nga Yesu tanaba kuka kuva Muggulu, Yesu yali "mu kifaananyi kya Katonda"(Abafiripi 2:5-8). Katonda Kitaawe ayogera ku Yesu: "Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe n'emirembe;"(Abaebulaniya 1:8). Yokaana ayogera nti "Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda."(John 1:1). Ebyawandiikibwa ebirala ebiraga obwa Katonda bwa Yesu bingi( Laba Okubikkulirwa 1:17, 2:8, 22:13; 1 Abakolinso 10:4; 1 Petero 2:6-8); Zabbuli 18:2, 95:1; 1 Petero 5:4; Bebulaniya 13:20), naye ekyawandiikibwa kimu ku bino kimala okulaga nti Kristu yatwalibwa okuba Katonda abo abamugoberera.

Yesu era aweebwa ebitiibwa ebyamannya agenjawulo ku Yawe (Erinnya ekkulu elya Katonda) mu ndagaano enkadde. Ekitiibwa ekyerinnya "ely'omununuzi" mu ndagaaano enkadde(Zabbuli 130:7; Koseya 13:14) kikozesebwa mu ndagaano empya (Tito 2:13; Okubikkulirwa 5:9). Yesu ayitibwa Emmanweri—"Katonda ali naffe"—mu Matayo 1. Mu Zekkaliya 12:10, Yawe(YHWH) yagamba "era balitunuulira nze gwe baafumita". Naye endagaano empya ekyogera ku kukomererwa kwa Yesu (Yokaana 19:37; Okubikkulirwa 1:7). Bwaba nga Yawe(YHWH) yeyafumitibwa era nga gwe batunuulira, nga Yesu gwe bafumita era nga gwebatunulira, Yesu yaba Yawe(YHWH).

Pawulo avunulira Isaaya 45:22-23 ku Yesu mu Bafiripi 2:10-11.Erinnya lya Yesu kikozesebwa wamu nelya Katonda mu Saala,"ekisa kibenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo,"(Abagalatiya 1:3; Abaefeeso 1:2). Kuno kuba kuvoola Katonda, Yesu bwaba nga si Katonda. Erinnya lya Yesu tulilaba ne lya Katonda mu kiragiro ky'okubatiza "mu linnya lya Kitaffe n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu;" (Matayo 28:19; era soma 2 Abakolinso 13:14).

Ebintu Katonda Yekka byasobola okukola tulaba nga Yesu yabikola. Yesu teyazukkiza baffu bokka (Yokaana 5:21, 11:38-44) n’okusonyiwa ebibi (Ebokilwa 5:31, 13:38), Yatonda era yawanirira ensi (Yokaana 1:2; Abakolosaayi 1:16-17). Kino kitegerebwa bulungi singa omuntu ajjukira nti Yawe(YHWH) yagamba nti yali yekka ngatonda ensi(Isaaya 44:24) Bwe tweyongerayo, Kristu alina embala nga Katonda yekka yasobola okuba ba nayo: Okuberera emirembe gyona (Yokaana 8:58), Okuba nga ali buli wamu(Matayo 18;20, 28:20), Okumanya byona (Matayo 16:21) era okuba nga alina amanyi agakola buli kimu (Yokaana 11:38-44, Lukka 7:11-15;Makko 1:5:53). Ekisingira ddala, Kristu yazuukira okuva mu bafu. Ali wala nyo ku bakatonda abafa nebata zuukira ab’amadiini eg'obulimba, era teri kintu kyogerebwaako madiini malala ng'okuzuukira, era teri kyogerebwako ng’okuzuukira ekirina obukakafu obwebyawandiikibwa

Waliwo ebyafaayo kumi na bibiri ebyamazima ebikwata ku Yesu nga abasomi abakenkufu abatali bakristaayo bye babikiriza okuba ebituufu.

1. Yesu yafa lwa kumukomerera ku Musaalaba.

2. Yaziikibwa.

3. Okufa kwe kwaletera abayigirizwa okutya n'okugwamu esuubi.

4. Entaana ya Yesu yazuulibwa(Oba egambibwa okuzuulibwa) oluvanyuma nga wayise enaku satu okuba nga nkalu.

5. Abayigirizwa bakkiriza nti balabikirwa era balaba Yesu eyazuukira.

6. Ebyo nga biwedde, abayigirizwa bakyusiibwa okuva mu kubusabusa. okufuuka. abakkiriza ob'olwatu.

7. Buno obubaka, gwe gwali omusingi gw'enjiri mu Kanisa eyasooka.

8. Obubaka buno bwabuliwo mu Yerusalemi.

9. Olw'obubaka okubulirwa, ekanisa yatandika era ku lwaabwo, nekula.

10. Olunaku lw'okuzuukira(Sunday) ne ludda mukifo kya Sabiiti (Olwomukaaga) ng'olunaku olukulu olw'okusinzizangako.

11. Yakobo, eyali omuwakanya era abusabusa yakyusibwa naye bweyakkiriza nti yalaba Yesu eyazuukira.

12. Pawulo, omulabe w'obukristaayo, yakyusibwa naye olw'okwolesebwa kwagamba nti kwali kwa Yesu eyazuukira.

Omuntu yenna ne bweyandiganye olukalala luno, wetagiisa bitono kulwo okunyweza engiri: Okufa kwa Yesu, okuziikibwa, okuzukkira n'okulabika kwe eri abo bonna beyalabikira (1 Abakolinso 15:1-5). Newankubadde wayinza okubaayo ebyogerwa bingi okunyonyola ekimu oba ebibiri ku bukakafu obwo wagulu, okuzuukira kwoka kunyonyola bulungi era kutwaliramu ebirala byonna. Abakolokota enjiri nabo bakkiriza nti Abayigirizibwa bagamba nga bwebalaba Yesu eyazuukira. Obulimba newankubadde ebirooto tebisobola kukyusa bantu mu ngeri yemu okuzuukira gye kwakyusaamu abantu. Okusooka, kki kyebandifunyemu okugamba nti balaba Yesu? Obukristaayo tebwali bwatiikirivu era tebaafunangamu sente. Eky’okubiri, abalimba tebabera bajulizi (kwewaayo kuffa) balungi. Tewali kunyonyola kusinga, okwaletera abayigirizibwa okukkiriza okufa okujjude obulumi olw'okukkiriza kwabwe, ng'okuzuukira. Yye! abantu bangi bafa olw'obulimba bwebalowooza nti butuufu, naye abantu tebasobola kuffa olw'ekyo kyebamanyi nti si kituufu.

Mu kumaliriza, Kristu yagamba nti ye Yawe(YHWH), era nti yali Katonda(si omu ku bakatonda, naye Katonda omu era omutuufu). Abagoberezi be(Abayudaaya abanditidde okusiinza ebifaananyi) bamukkiriza era bamuyita Katonda. Kristu yakakasa okweyita kwe Katonda okuyita mu byamagero, ngogaseko okuzuukira okwakyusa ensi. Tewali ndowoozo yona esobola kunyonyola mazima gano. Yye, kituufu obwa Katonda bwa Yesu Bayibuli ebwogerako.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala Bayibuli eyogera ku bwakatonda bwa Yesu?
© Copyright Got Questions Ministries