settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala omuntu okuba nga tasobola kufiirwa bulokozi kimuwa eddembe okwonoona nga bwayagala?

Okuddamu


Ensonga esinga okugaanibwa ku nsonga y’omulokole okuba nga tasobola kufiirwa bulokole eri ku kuba omuntu akkirizibwa okutambula nga bwayagala nasigala nga nga mulokole. Newankubadde nga kino kisobola okuba nga kituufu, tekisoboka. Omuntu alokoleddwa Kristu tasobola kwyongera kutambulira mu bulamu bwakonoona kyeyagalire. Tulina okumanya enjawulo wakati w’engeri omulokole gyalina akubaamu n’ekyoomulokole kyalina okukola okusobola okufuna obulokozi.

Bayibuli eyogera bulungi nti obulokozi tubufuna lwa kisa, okuyita mu kukkira kwoka, mu Kristu yekka( Yokaana 3;16, Abaefeeso 2:8-9; Yokaana 14:6). Akaseera omuntu lwakkiriza mu Yesu Kristu, omuntu yo alokolebwa era obulokole bwe bunywezebwa. Omutume Pawulo ayogera ku nsonga mu Abagalattiya 3:3 bwabuuza, “Bwe mutyo bwe mutalina magezi? Abaasookera mu Mwoyo, kaakati mutuukiririzibwa mu mubiri?” bwetuba nga okulokoka tuyita mu kukkiriza, kitegeeza nti obulokole tubukuuma na kukkiriza. Tetusobola kukolerera bulokole bwaffe era y’ensonga lwaki tetusobola kubukuuma oba kubunyweza. Katonda yekka yatukumira mu bulokole(Yudda 24). Katonda yekka yatunweza mu mukono gww(Yokaana 10:28-29). Tewali kintu kyona kisobola kutwawula ku kwagala kwa Katonda.(Abaruumi 8:38:39).

Okugaana ensonga y’obunywevu bw’obulokole bwaffe, mukyo kuba kukkiriza nti tulina okukuuma obulokozi bwaffe n’ebikolwa byaffe n’okufuba. Kino kyawukaana nnyo ku kuba nti twalokoka lwa Kisa. Tulokolebwa olw’ekyo Kristu kyeyakola, si olw’ekyo kyetwakola. (Abaruumi 4:3-8) Okugamba nti ffe okusigala nga tuli balokole tulina okugondera ekigambo kya Katonda kuba kugamba nti okufa kwa Yesu kwali tekumala kusasula banja ly’ebibi byaffe. Okufa kwa Yesu kumala okusasula ebibi ebyayita, ebyaleero, n’ebijja. Ebibi byetwakola nga tetunalokoka n’ebyetukola nga tumaze okulokolebwa. (Abaruumi 5:8; 1Abakkolinso 15:3; 2Abakkolinso 5:21).

Ddala kino kitegeeza nti Omukristaayo asobola okubeera mu bulamu bwonna bwayagala nasigala nga mulokole? Kino ekibuuzo ndowooza bulowooza za bantu kubanga Bayibuli ekyogera bulungi nti Omulokole talina kutambula nga bwayagala kubanga aba kitonde kiggya.( 2 Abakkolinso 5:17). Abakristaayo boolesa ebibala eby’Omwoyo(Abalattiya 5:22-23), bikolwa bya mubiri ( Abagattiya 5:19-21) Okusooka Yokaana 3;6-9 Eyogera omulokole talina kweyongera kutambulira mu kibi. Mu kuddamu eri enjogera agamba nti “ekisa kiwagira ekibi” Paulo agamba nti, “Kale tunaayogeza tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga? Kitalo. Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate?”(Abaruumi 6:1-2)

Okuba nga tetusobola kufiirwa bulokole tekituwa bbeetu kwonoona nga bwetwagala. Wabula, kya kutunweza okumanya nti okwagala kwa Katonda kuli eri abo bonna abateeka obwesigemu Kristu. Okumanya era okutegeera ekirabo kya Katonda eky’obulokozi kituwa bbeetu butatambula nga bwetwagala oba butayonoona. Omuntu ategedde omuwendo Kristu gweyasasula ku lwaffe ayinz’atya okutambulira mu bulamu bw’ekibi (Abaruumi 6:15-23)? Omuntu ategedde okwagala kwa katonda okutaliko bukwakkulizo, ayinza atya okukukwata nakumukasukira mu maso? Omuntu oyo aba talaga nti yalokoka era nti obulokole bwe bwanwezebwa mu Kristu wabula nti, talokokanga. “Buli muntu yenna abeera mu ye takola kibi: buli muntu yenna akola ekibi nga tamulabangako, so tamutegeera.” (1 Yokaana 3:6).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala omuntu okuba nga tasobola kufiirwa bulokozi kimuwa eddembe okwonoona nga bwayagala?
© Copyright Got Questions Ministries