settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayiuli eyogera kki bunakuwavu oba obulwadde bw’ebirowoozo? Omukristaayo asobola atya okuwangula obunakuwavu?

Okuddamu


Okunakuwala okuyitiridde oba kyebayita obulwadde bw’ebirowoozo mbeera eri buli wamu era nga ekosa obukadde n’obukadde bw’abantu, abakristaayo nabatali Bakristaayo bonna mu ngeri yemu. Abo abalina ekirwadde ky’ebirowoozo oba abali obunakuwavu bawulira enaku ey’ekika ekyawagulu, obusungu, okubulwa essubi, okulemererwa okwebaka, n’embeera endala. Basobola okutandika okuloowoza nti tebalina mugaso era nebafuna n’ebirowoozo by’okwetta, nga tebakyayagala bintu wamu n’abantu bebaali bagala. Obulwadde bw’ebirowoozo buleterwa embeera nga, okufirwa omulimu, okufirwa omwagalwa, okwawukana mu bufumbo, oba embeera yonna ekosa ebirowoozo nga okuyisibwa obubi oba okuba nga omuntu teyewulira.

Bayiuli etugamba okujula esanyu n’okutendereza (Abaffiripi 4:4; Abaruumi 15:11), n’olwekyo Katonda alina ekigendererwa ffena okuba okuba n’obulamu obujjudde esanyu. Kino ssi kyangu eri omuntu alina okunakuwala oba ekirwadde ky’ebirowoozo, wabula kisobola okujibwawo okiyita mu kirabo kya Katonda eky’okusaba, okusom Bayibuli n’okugiteeka munkola, okukuŋŋaana mu guluupu ezibuudabuuda, okukuŋŋaana n’abakkiriza, okwatuliragana, okusonyiwa, n’okufuna okubudabuudibwa okuva mu bakugu.. Tulina okufuba okulaba nga tetubulira mu kwelowoozako oba okukola ebyo byetuwulira. Ebiroowo eby’ennaku bisobola okuwangulwa ebiseera ebisinga singa omuntu ajja ebirowoozo ku yye nabiteeka ku Kristu.

Okunakuwala okwagulu ennyo kirwadde ekirina okukeberebwa abakugu oba abasawo.Kisobola obutaletebwa mbeera ezireeta ennaku mu bulamu, era nga obubonero tebusobola kukakanyizibwa muntu ku lulwe. Okwawukana ku bantu abalala Abakristaayo kyebogera, embeera eno ebiseera ebisinga teretebwa kibi. Ekirwadde by’ebirowoozo ebiseera ebimu biretebwa ndwadde era nga kyetaagisa kuwonyezebwa na dagala oba okubudabuudibwa abakugu. Amazima gali nti Katonda asobola okuwonya ekirwadde kyona. Wabula, mu mbeera ezimu, okugenda eri omusawo ng’olina okunakuwala okuyitiridde tekyawukana na kugenda eri omusawo ng’okoseddwa ku mubiri gwo.

Waliwo ebintu bingi abantu abalina ekirwadde ky’ebirowoozo byebasobola okukola okukakanya embeera eno. Balina okufuba okulaba nga benyigira mu kusoma ekigambo, nebwebaba nga tebakiwulira. Ebirowoozo bisobola okutuwabya, wabula ekigambo kya Katonda kiyimirira era tekikyuka. Tulina okunyweza okukkiriza kwaffe mu Katonda era netumwekwatako ne tumunyweza bwetuyita mu bizibu oba okukemebwa. Bayiuli etugamba nti Katonda talitugannya kukemebwa kusinga bwetuyinza oba kusukkuluma busobozi bwaffe.(1 Abakkolinso 10:13). Newankuadde ng’okunakuwala okuyitiridde ssi kibi, omuntu yenna akuyitamu alina obuvunanyizibwa kw’ebyo byakola ng’ayita mu mbeera eno, nga kwekuli n’okufuna obuyambi obwetagiisa, okuyita mu bakugu. ‘Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey'ettendo, kye kibala eky'emimwa egyatula erinnya lye.’ (Abaebbulaniya 13:15).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayiuli eyogera kki bunakuwavu oba obulwadde bw’ebirowoozo? Omukristaayo asobola atya okuwangula obunakuwavu?
© Copyright Got Questions Ministries