settings icon
share icon
Ekibuuzo

Obukristaayo kyeki? Era Abakristaayo bakkiriza kki?

Okuddamu


1 Abakolinso 15:1-4 egamba, "Kale mbategeeza, ab'oluganda, enjiri gye nnababuulira, era gye mwaweebwa, era gye munywereramu, era gye mulokokeramu; mbategeeza ebigambo bye nnagibuuliriramu, oba nga muginyweza, wabula nga mwakkiririza bwereere. Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe byogera; era nga yaziikibwa; era nga yazuukizibwa ku lunaku olw'okusatu ng'ebyawandiikibwa bwe byogera;"

Mu bimpimpi, ekyo kyenyusi eky'enzikiriza y'Abaktistaayo. Okuba nga kwa njawulo ku nzikkiriza endala, obukristaayo businga kutunulira nkolagana okusiinga enkola oba eneeyisa y'ekinadiini. Mu kifo ky’okugoberera olukalala lw'ebyo byolina okukola n'ebyotalina kukola, ekigendererwa ky'obukristaayo kwekusobozesa omuntu okuba n’enkolagana ne Katonda Kitaffe. Enkolagana eno, omuntu asobola okugifuna olw'omulimu Yesu Kristu gwe Yakola n'ebyo omwoyo mutukuvu byakola mu bulamu bw'omukristaayo.

Abakristaayo bakkiriza nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda, kigambo kya Katonda ekitalimu nsobi, era ensomesa yakyo erina obuyinza obwenkomeredde.(2 Timosewo 3:16; 2 Petero 1:20-21). Abakristaayo bakkiriza mu Katonda omu ali mu busatu; Taata, Omwana, n'Omwoyo Omutukuvu.

Abakristaayo bakkiriza nti omuntu yatondebwa okuba n'enkolagana ne Katonda, naye ekibi kyayawula omuntu ne Katonda (Abaruumi 3:23, 5:12). Obukristaayo busomesa nti Kristu yatambula ensi, nga Katonda ajjude ate nga muntu ajjude (Abafiripi 2:6-11), nafa ku Musaalaba. Abakristaayo bakkiriza nti bweyamala kufa ku musaalaba, Kristu yaziikibwa, nazuukira , era kati ali ku mukono ogwa ddyo ogwa kitaawe, yegayirira kulw’abakkiriza emirembe gyonna.(Abaebulaniya 7:25). Obukristaayo bulangirira nti okufa kwa Kristu ku Musalaba kwamala okusasula ebanja ely'ekibi elibanjibwa abantu bonna era kuno kwa zaawo enkolagana wakati wa Katonda n'omutu eyali emenyese.( Abaebulaniya 9:11-14, 10:10; Abaruumi 5:8, 6:23).

Omuntu yenna okusobola okulokolebwa, alina okuteeka okukkiriza kwe kwona mu mulimu Kristu gweyamaliriza ku Musaalaba. Omuntu bwakkiriza nti Kristu yafa mu kifo kye nasasula omutango gw'ebibi bye, era nazuukira okuva mu bafu, omuntu oyo alokolebwa. Tewali kintu kyona muntu kyayinza kkola kufuna bulokozi. Tewali asobola kuba "mulungi ekimala" okusanyusa Katonda ku lulwe, kubanga ffena tuli bonoonyi.(Isaaya 53:6, 64:6-7). Eky’okubiri, Tewali kisigaddeyo kukolebwa kubanga Kristu omulimu gwona agukoze! Bweyali kumusaalaba, Yesu yagamba, "Kiwedde"(Yokaana 19:30).

Nga bwekiri nti tewalli kintu kyona omuntu kyayinza okukola okufuna obulokozi, omuntu bwateeka obwesige bwe mu mulimu gwa Kristu ku musaalaba, tewali kintu kyona omuntu kyayinza kukola okufiirwa obulokozi, kubanga omulimu Kristu yagumaliriza!. Tewali kintu kyona mu bulokozi kyesigamye kw'oyo afuna obulokozi. Yokaana 10:27-29 egamba, "Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera; nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n'emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange. Kitange eyazimpa ye mukulu okusinga bonna, so tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange."

Abamu bayinza okulowooza, "Eeeh kino kirungi—bwe mala okulokoka, nsobola okukola byona byenjagala nesitafiirwa bulokozi" Naye obukolozi ssi ddembe gwe okukola nga bwoyagala. Obulokozi kwekuba ng'oteeredwa, ng'olina eddembe obutabeera muddu w’embeera eyekibi eyedda, era ng'olina edembe okunoonya enkolagana entufu ne Katonda. Eyo gyetwali abaddu ab’ekibi, kati tuli baddu ba Kristu (Abaruumi 6:15-22). Ng'abantu bakkiriza bakyali kunsi mu mibiri egyonona, bajja kuba nga balwana buli lunaku n'ekibi. Wabula Abakristaayo basobola okuwangula olutalo n'ekibi nga basoma era nga bateeka munkola ekigambo kya Katonda (Bayibuli) mu bulamu bwabwe, era nga bakulemberwa omwoyo mutukuvu— kwegamba okukakanira okulemberwa kw'omwoyo mutukuvu buli lunaku era ku lw'amanyi g'omwoyo mutukuvu, ngogondera ekigambo kya Katonda.

Newankubadde enkola z'amadiini agenjawulo zilagira omuntu okukola ebintu ebimu oba obutakola ebintu ebimu, Obukristaayo bwo bwa kukkiriza nti Kristu Yafa ku Musalaba ng'omutango gw'ebibi byaffe era nazuukira. Ebanja ly'ekibi kyo lyasasulibwa dda era osobola okuba wamu ne Katonda. Osobola okuwangula embeera eye'kibi notambula wamu era nogonderra Katonda. Obwo bwe bukristaayo obwa Bayibuli obutuufu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Obukristaayo kyeki? Era Abakristaayo bakkiriza kki?
© Copyright Got Questions Ministries