settings icon
share icon
Ekibuuzo

Nsobola ntya okumanyira ddala oba bwenaafa naagenda mu Ggulu?

Okuddamu


Omanyidde ddala oba olina obulamu obutaggwaawo era nti ojagenda mu Ggulu bwonofa? Katonda ayagala obere nobukakafu. Bayibuli egamba: "era bwe tumanya nga atuwulira buli kye tusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye."(1 Yokaana 5:13). Lowozaamu singa akaseera kano oyimiridde mumaaso ga Katonda nakubuuza, lwaki oyagala Akukkirize oyingire eggulu? Oyinza obutamanya kyakuddamu. Kyoyina okumanya kiri nti, Katonda atwagala era atuteredewo ekkubo okusobola okumanyira ddala wa gye tunamalira obulamu obuttaggwaawo. Bayibuli etulaga bweti. "Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo."(Yokaana 3:16).

Tulina okusooka okumanya ekizibu ekitulemesa okugenda mu Ggulu. Ekizibu yengeri yaffe oy'obuntu ey'ekibi etulemesa okuba n'enkolagana ne Katonda. Tuli boononyi mungeri yaffe era nolw'okusalawo kwaffe."kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda;"(Abaruumi 3:23). Tetusobola kwelokola. "kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli: kye kirabo kya Katonda: tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga.(Abaefeeso 2:8-9). Ekitugwanira kwe kufa, ne geyeena." Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa;.."(Abaruumi 6:23).

Katonda mutukuvu era mwenkanya era alina okubonereza ekibi, kyoka nga atwagala era nga atuteredewo okusonyibwa kwebibi. Yesu Yagamba: "Yesu n'amugamba nti Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze."(Yokaana 14:6). Yesu yatufirira ku musalaba. "Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda; bwe yattibwa omubiri, naye n'azuukizibwa omwoyo;"(1 Petero 3:18). Yesu yazuukizibwa okuva mu bafu." eyaweebwayo olw'ebyonoono byaffe n'azuukira olw'okutuweesa obutuukirivu."(Abaruumi 4:25). Bwetuddayo ku kibuuzo kyaffe- "Mannya ntya oba naagenda mu Ggulu bwenaafa?

Okuddamu: Kkiriza Mukama waffe Yesu onolokolebwa (Ebikolwa 16:31). "Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye" (Yokaana 1:12). Osobola okufuna obulamu obuttaggwaawo ng'ekirabo."...ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaavo mu Kristo Yesu Mukama waffe."(Abaruumi 6:23). Osobola okubeera mu bulamu obunji kakano. Yesu Yagamba: "...Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi."(Yokaana 10:10). Osobola okubeera mu bulamu obuttaggwaawo ne Yesu mu Ggulu., kubanga yasuubiza. "Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo." (Yokaana 14:3).

Bwoba oyagala kukkiriza Yesu Kristo ng'Omulokozi wo ofune okusonyiyibwa, Yiino esaala gyosaba. Okusaba esaala eno oba esaala endala yonna, tesobola ku kulokola. Kuteeka Kukkiriza mu Kristu kwoka, kwekusobola okuwesa okusonyiyibwa bw'ekibi. Eno essala mubimpimpi ngeri yakwoleesa kukkiririza kwo mu Katonda, no okumwebaza olw'obulokozi." Katonda, nkimanyi nga nyonoonye gwe era nga nsaniira kibonerezo. Naye Yesu Kristu yatwala ekibonerezo ekyo kyensaana nsobore okusonyiyibwa okuyita mu kukiriza mu yye. Nteeka okukkiriza mu ggwe kulw'obulokozi. Webale olw'ekisakyo ekirungi, nokusonyiyibwa – ekirabo ekyobulamu obutaggwawo. Amiina.

Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Nsobola ntya okumanyira ddala oba bwenaafa naagenda mu Ggulu?
© Copyright Got Questions Ministries