settings icon
share icon
Ekibuuzo

Lwaki tusaba? Lwaki tusaba kyoka nga Katonda amanyi ebigenda okutuukawo era nga yafuga buli kimu ekitukaawo? Bwetuba nga tetusobola kukyusa birowoozo bya Katonda, lwaki ate tusaba?

Okuddamu


Eri abakristaayo, okusaba kulina kuba nga kusa, nga kyangu kukukola okusinga obutakukola. Tusaba olw’ensonga ez’enjawulo. Olw’ensonga endala, okusaba ngeri ya kuweereza Katonda (Lukka 2:36-38) n’okumugondera. Tusaba kubanga Katonda atulagira okusaba (Abafiripi 4:6-7). Yesu wamu e’kanisa eyasooka batulaga eky’okulabirako mu kusaba (Makko 1:35; Ebikolwa 1:14; 2:42; 3:1 4:23-31; 6:4; 13:1-3). Bwaba nga Yesu yalowooza nti okusaba kikulu, nafe tulina okukolowoo ekintu kyekimu.

Ensonga endala ey’okusaba eri nti Katonda agenderera okusaba okuba enkola gyetuyitamu okufuna ebyokuddamu mu mbeera ez’enjawulo. Tusaba nga tweteekateeka okukola okusalawo okwamanyi (Lukka 6:12-13; okuwangula emiziziko gyasitaani (Matayo 17:14-21); n’okufuna engeri y’okuzaamu abalala amanyi mu by’Omwoyo (Abaefeeso 6:18-19).

Tugenda eri Katonda n’okusaba kwaffe okwenjawulo era tulina ekisuubizo nti okusaba kwaffe si kwa bwerere, nebwetutafuna ebyo byetusabye nga bwetubisabye (Matayo 6:6; Abaruumi 8:26-27). Asuubiza nti bwetusaba ebyo ebiri mu kwagala kwe, aja kuddamu ebyo byetusabye (I Yokaana 5:14-15) Ebiseera ebisinga Katonda alwawo okudaamu okusinziira ku magezi ge era akikola kulwaffe okutugasa.. Mu mbeera ezo, tulina kunyiikira era kulemerako mu kusaba (Matayo 7:7; Lukka 18:1-8). Okusaba tekulina kutunuulirwa ng’engeri y’okufuna okwagala kwaffe kunsi, wabula ng’engeri y’okulaba ng’okwagala kwa Katonda kukoleddwa ku nsi. Amagezi ga Katonda mangi nnyo okusukkuluma agaffe.

Mu mbeera we tuba nga tetumanyi kwagala kwa Katonda,okusaba y’engeri y’okukwawula okwagala kwe ku kw’ensi. Singa omukazi Omwasuuli eyalina omwana eyaliko zi dayimooni teyasaba eri Kristu, omwan we teyandisumuluddwa (Makko 7:26-30). Singa omusajja omuzibe eyali wabweru wa Yeriko teyayita Kristu, yandisigadde muzibe (Lukka 18:35-43). Katonda yagamba nti ebiseera ebisinga tusigala tetulina kubanga tetusaba (Yakobo 4:2). Mu ngeri emu, okusaba kulinga kugabana njiri n’abantu abalala. Tetumanyi ani anakkiriza enjiri paka nga tujibuulidde. Mu ngeri endala, tetugenda kulaba kuddibwamu kwa saala zaffe okutuusa nga tusabye.

Obutasaba kiraga obutaba na kukkiriza mu kigambo kya Katonda. Tusaba okulaga okukkriza kwaffe mu Katonda, nti aja kukola ebyo nga bweyasuubiza mu kigambo kye era aja kutuwa emikisa egyomuyiika n’okusinga bwetusuubira (Abaefeeso 3:20) Okusaba y’engeri esinga obukulu gyetulina etuyamba okulaba emirimu gya Katonda mu bulamu bwaffe. Kubanga y’engeri yaffe ey’okwenyika mu manyi ga Katonda, y’engeri gyetulina okuwangula sitaani nabalwanyi be betutasobola kuwangula kulwaffe. Nolw’ekyo, nsaba nti Katonda atusangenga ku namulondo ye buli kiseera, kubanga tulina kabona asinga obukulu alumirwa wamu naffe mu mw’ebyo byonna byetuyitamu. (Abaebbulaniya 4:15-16). Tulina ekisuubizo nti okusaba kw'omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo mu kukola kwakwo. (Yakobo 5:16-18). Nsaba Katonda agulumize elinnya lye mu bulamu bwaffe nga tumukkiriza ekimala okusoboa okuja gyali ebiseera ebisinga mu saala.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Lwaki tusaba? Lwaki tusaba kyoka nga Katonda amanyi ebigenda okutuukawo era nga yafuga buli kimu ekitukaawo? Bwetuba nga tetusobola kukyusa birowoozo bya Katonda, lwaki ate tusaba?
© Copyright Got Questions Ministries