settings icon
share icon
Ekibuuzo

Lwaki ssetta?

Okuddamu


Emitima gyaffe gigenda eri abo abalina ebirowoozo eby'okumaliriza obulamu bwabwe okuyita mu kwetta. Bwoba nga yegwe kakano, ensonga eyinza okuba nga olina ebirowoozo bingi okuli, okuba nti tokyalina suubi, oweddemu amanyi. Owulira ngaali mu kinnya era obusabusa nti waliwo esuubi ely'ebintu okuterera. Tewali afaayo gyoli, oba ategeera bikki byoyitamu. Obulamu tebukyalina mugaso, oba?

Singa okkiriza okuwaayo akadde okukkiriza Katonda okuba Katonda mu bulamu bwo. Agya kukukakasa obunene bwe." Kubanga tewali kigambo ekiva eri Katonda kiribulwa maanyi."(Lukka 1:37). Osanga enkovu okuva mu bulumi bwewayitamu zikuletedde okuwulira okuganiibwa, oba okulekebwawo. Ekyo kisobola okkuletera okwesaasira, obusungu, obukaawu, ebirowoozo eby'okwagala okuwoolera, okutya, oba ebizibu mu nkolaganaazo naabo ab'okulusegere.

Ensonga lwaki tolina kwetta. Mukwano gwange, ebintu nebwebyononeka bitya, waliyo Katonda ojjude okwagala akulinze omukkirize akulembere akuyise mu mbera ey'ekizikiza akutwaale mu kitangaala kye. Ye suubi lyo elitalemererwa. Elinnya lye ye Yesu.

Ono Yesu omwana wa Katonda ataayonoona, amanyi buli kimu kyoyitamu mu biseera eby'okugaanibwa n'okuswaazibwa. Nnabbi Isaaya amuwandiikako ng'omusajja eyaswazibwa era nanyoomebwa buli muntu. Obulamu bwe bwali bujjude ennaku n'okubonabona. Naye enaku gye yettika teyali yiye, yali yaffe. Yafumitibwa, nakosebwa, nabetentebwa olw'ekibi kyaffe. Olw'okubonaboona kwe, tusobola okununulibwa ne tufuulibwa balamba.

Mukwano gwange, Yesu Kristu yaguminkiriza bino byonna gwe osobole okusonyiyibwa ebibi byo. Buli musango gw’owulira ku mutima gwo, manya nti aggya kukusonyiwa singa mubwetowaze omukkiriza okubeera omulokoziiwo." Era onkoowoolenga ku lunaku olw'okulaba ennaku; Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze!"(Zabbuli 50:15). Tewali kintu kyonna kyewali okoze kinene nnyo oba kibi nnyo obutasonyiyibwa. Abamu ku bawereeza be bakola ebibi ebinene ng'okutta (Musa), okutta n'obwenzi (Kabaka Dawudi), nabalala nga Pawulo abakola obubi mu kulowoza, n'emubuliwo. Kyoka bafuna okusonyiyibwa n'obulamu obungi mu Mukama. "Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya "(2 Abakolinso 5:17).

Lwaki tolina kwetta? Mukwano gwange, Katonda alinze okuddabiriza ekyo "ekyayonooneka", ng'obulamu bwolina kati, obulamu bwoyagala okumaliriza nga wesse. Mu Isaaya 61:1-3 Nnabbi yawanddika, "Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe okuggulirwawo ekkomera; Okulanga omwaka gwa Mukama ogw'okukkiririzibwamu, n'olunaku lwa Katonda waffe olw'okuwalanirwamu eggwanga; okusanyusa bonna abanakuwadde; okubateekerawo abanakuwalidde mu Sayuuni, okubawa engule mu kifo ky'evvu, amafuta ag'okusanyuka mu kifo ky'okunakuwala, ekyambalo eky'okutendereza mu kifo ky'omwoyo ogw'okukungubaga; "

Jangu eri Yesu omukkirize azze buggya esanyu n'omugaso gwo nga bw'omukkiriza okutandiika omulimu omuggya mu bulamu bwo. Asuubiza okuza buggya esanyu lyewafiirwa era akuwe Omwoyo omuggya okukuwanirira. Omutima gwo ogumenyese gwa muwendo gyali. Saddaka esanyusa Katonda gwemutima ogumenyese, ai Katonda, toogugayenga (Zabbuli 51:12, 15-17).

Onokkiriza Yesu okuba Omulokozi wo era Omusuumba wo? Agya kukulembera ebirowoozo byo nebigere byo—olunaku lumu ku lumu—okuyita mu kigambo kye, Bayibuli."Naakuyigirizanga naakulanganga mu kkubo ly'onooyitangamu: Naakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe." ( Zabbuli 32:8)." Era walibaawo enkalakkalira mu biro byo, obulokozi obusukkirira, amagezi n'okumanya: okutya Mukama bwe bugagga bwe (Isaaya 33:6). Mu Kristu ogya kuba nebikutawanya, naye kakano ogya kuba n'esuubi. "Naye waliwo ow'omukwano eyeegatta ennyo okusinga ow'oluganda (Engero 18:24). Ekisa kya Katonda kibere nawe ng’osalawo.

Bwoba oyagala okuteeka obwesige bwo mu Kristu ng'omulokoziiwo, Yogera ebigambo bino mu mutima gwo eri Katonda. "Katonda, nkwetaaga mu bulamu bwange. Nsaba onsonyiwe byonna byenkoze. Nteeka okukkiriza mu Yesu era nzikkiriza nti Mulokozi wange. Nsaba onaaze, omponye, era Ozze buggya esanyu mu bulamu bwange. Webale olw'okunjagala n'okuffa kwa Yesu ku musalaba kulwange."

Gwe okusalawo okukiriza Kristo kuvudde ku byosomye wano? Oba Kyekyo, nyiga wano "Nzikiriza Kristo leero" ku peesa wansi.v
English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Lwaki ssetta?
© Copyright Got Questions Ministries