settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli Kigambo kya Ddala tulokolebwa lwa Kukkiriza kwoka, oba lwakukkiriza wamu nebikolwa?

Okuddamu


Kinno kiyinza okuba nga kye kibuuzo ekisinga okuba ekikulu mu bintu byona omuntu bye yandiyagadde okumanya ku Katonda. Kino ekibuuzo ye nsonga ya Reformation (Y’obwanakyewa), eyayawula ekanisa y'abapentekooti naba Katoliki. Ekibuuzo kino kyekyawula obukristaayo obwa Bayibuli, n'obwobulimba. Ddala tulokoka lwa kukkiriza kwoka oba okukkiriza wamu n'ebikolwa? Ndi mulokole lwakuba nzikiriza mu Kristu, oba nina okukkiriza Yesu nengattako okukola ebintu ebimu?

Ekibuuzo eky'okukkiriza kwoka oba okukkiriza ne bikolwa kifuulibwa kizibu olw'ebyawandiikibwa ebimu ebizibu okugatta oba okwawula. Kwanaganya Abaruumi 3:28 n'Abagalatiya 3:24 ne Yakobo 2:24. Abamu balaba enjawulo wakati wa Pawulo (Obulokozi obugya olw'okukkiriza kwoka),ne Yakobo( Obulokozi obugya olw’okukkiriza wamu n'ebikolwa). Paulo asengeka omulamwa gwe ngayimiridde ku mazima nti Okulokolebwa kuva mu kukkiriza kwoka (Abaefeso 2:8-9), ate Yakobo ye ng'agamba okulokolebwa kuva mu kukkiriza wamu n'ebikolwa. Ekizibu kino kiddibwamu nga tukebera kiki Yakobo kyeyali ategeeza bweyagamba okukkiriza wamu n’ebikolwa. Yakobo aganira ddala enzikiriza egamba nti omuntu asobola okuba n'okukkiriza nga talina wadde emirimu oba ebikolwa ebirungi byakola (Yakobo 2:17-18). Yakobo akattiriza ensonga nti okukkiriza okutuufu kuleeta obulamu obukyuse n'ebikolwa ebilungi (Yakobo 2:20-26). Yakobo tagamba nti okulokolebwa kuva mu kukkiriza wamu n’ebikolwa, naye agamba nti omuntu olokoleddwa olw'okukkiriza alina okuba n'ebikolwa ebirungi mu bulamu bwe. Omuntu bwaba agamba nti mukkiriza, naye nga talina bikolwa birungi, omuntu oyo aba talina kukkiriza kutuufu mu Kristu( Yakobo 2:14, 17, 20, 26).

Pawulo agamba ekintu kyekimu ngawandiika. Ebibala ebirungi omukkiriza byalina okuba nabyo mu bulamu bwe abilaga mu Bagalatiya 5:22-23. Mbagirawo ngamaze okutugamba nti Tulokoka lwa kukkiriza, si lwa bikolwa((Abaefeeso 2:8-9), Pawulo atugamba nti twatondebwa kukola emirimu emirungi(Abaefeeso 2:10). Paulo asubira obulamu obukyusiddwa nga Yakobo. "Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya."(2 Abakolinso 5:17). Yakobo ne Paulo tebeekontana mu nsomesa yabwe ku bulokozi. Bombi batunulira ensonga emu mungeri, n'endowooza ezenjawulo. Paulo yakatiriza nti Obulokozi buva mu Kukkiriza kwoka ate Yakoba nakatiriza nti okukkiriza mu Kristu kulina okuzaala ebikolwa ebirungi.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli Kigambo kya Ddala tulokolebwa lwa Kukkiriza kwoka, oba lwakukkiriza wamu nebikolwa?
© Copyright Got Questions Ministries