settings icon
share icon
Ekibuuzo

Kiki ekitukawo nga tuffudde?

Okuddamu


Mu nzikiriza y'eKristaayo, mulimu okubuzabuzibwa kungi eri kiki ekitukawo ng'omuntu amaze okuffa. Abamu bagamba nti okuffa nga kutuuse, buli muntu "yebaka" okutuusa okusala omusango okusembayo olwo buli muntu asindikibwe muggulu oba mu Geyena. Abalala nti omuntu olumala okufa, ng'asalilwa omusango, awo ng'asindikibwa gyalina okumala obulamu obutagwawo. Abalala bakkiriza nti omuntu bwaffa, omwoyo/emeeme bisindikibwa mu "geyeena oba eggulu" eritali lya luberera okulindirira okuzuukira okusembayo, okulamulwa okusembayo, olwo basindikibwe mu kifo gyebalina okubeera emirembe n'emirembe. Naye Bayibuli egamba kki ekitukawo ga tumaze okuffa?

Okusokera ddala, eri abakkiriza mu Yesu, bayibuli egamba nti nga bamaze okuffa, emyoyo/emeeme zabwe zitwalibwa mu Ggulu, kubanga ebibi byabwe byasonyiyibwa olw'okukkiriza Yesu okubeera Omulokozi wabwe (Yokaana 3:16, 18, 36). Eri abakkiriza, okuffa kubeera "okuba ewala ku mubiri naye atte wamu ne Mukama waffe gy'ali." (2 Abakolinso 5:6-8, Abafirippi 1:23). Wabula ebyawandiikibwa nga 1 Abakolinso 15:50-54, n'Abasessaloniika 4:13-17 bitunyonyola nti abakiriza bazuukizibwa era n'ebaweebwa emibiri emiggya egyekitiibwa. Abakkiriza bwe baba nga bwebaffa babeera wamu ne Kristu, lwaki atte balina okuzuukira? Kirabika nti emyoyo/emeeme z'Abakkiriza zigenderawo okubeera ne Kristu omuntu ng'amaze okuffa, omubiri ne gusigala mu taka (Muntaana) nga "gwebase." Mu Kuzuukira, omubiri guzuukizibwa, neguweebwa ekitiibwa, era negugattibwa wamu n'omwoyo/emeeme. Omubiri guno oguwereddwa ekitiibwa era ogugattidwa wamu n'omwoyo era nemeeme gubeera gwa mukkiriza emirembe gyonna mu Ggulu n'ensi empya (Okubikkulilwa 21-22).

Eky'okubiri, eri abo abatakkiriza Yesu okubeera omulokozi wabwe, okuffa kutegeeza okubonerezebwa okutaggwaawo. Okufanana n'abakkiriza, abakkiriza nabo basindikibwamu kifo webakuumibwa okulindilira okuzuukira era n'okulamula okusembayo olwo basindikibwe gyebalina okubeera emirembe gyonna. Lukka 16:22-23 enyonyola omusajja omugagga eyabonyabonyezebwa amangu ddala nga yakaffa. Okubikkuliwa 20:11-15 eyogera ku kuzuukira, okulamulwa mu maaso g'entebbe enjeru ennene, okwaabo abaafa nga tebakkiriza, olwo balyokke bakanyugibwe mu nyanja eyaka n'omuliro. Abatakkiriza, kitegeeza nti tebasindikibwa mu geyeena (Enyanja eyaka n'omuliro) amangu ddala nga bafudde, naye babeera mu kifo webalina okusalirwa omusango era okunenyezebwa. Wabula newankubadde abatakkiriza tebasindikibwa mu munyanja eyaka n'omuliro nga bakafa, entuuko yabwe nga bafudde si nnungi. Omusajja omugagga yakaaba "... nnumwa mu muliro guno."(Lukka 16:24)

N'olwekyo, omuntu nga amaze okuffa, abeera mu "Ggulu oba Geyeena" etali ya lubeerera. Bwava mu kifo kino ekitali kyalubeerera, yonna gyalaga talivaayo emirembe n'emirembe. Akafo kano akatali kalubeerera ke kakyuuka. Abakkiriza bagya kukkirizibwa okuyingira mu Ggulu n'ensi empya byonna nga biwedde (Okubikkulirwa 21:1). Abatakkiriza nabo baggya kusindiikibwa mu nyanja eyaka n'omuliro byonna nga biwedde(Okubikkulirwa 20:11-15). Binno bye bifo ebisembayo, eby'olubeerera abantu bonna gyebanalaga—okusinziira ku kusalawo kwabwe oba bakkiriza Yesu olw'okulokoka, oba nedda ( Matayo 25:46; Yokaana 3:36).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Kiki ekitukawo nga tuffudde?
© Copyright Got Questions Ministries