Ekibuuzo
Lwaki Katonda wanjawulo mu ndagaano enkadde okusinga mu ndagaano empya?
Okuddamu
Lwaki Katonda wanjawulo mu ndagaano enkadde okusinga mu ndagaano empya? Okuddamu: Ku ntobo y’ekibuuzo kino waliyo obutamanya bungi ku kki endagaano enkadde n’empya kyezilaga ku mbera oba enfaanana ya Katonda. Engeri endala abantu gyebalowooza efaanana ngeno wagulu agamba, “Katonda w’endagaano enkadde wabusungu ate Katonda w’endagaano empya Katonda wa Kwagala.” Ensonga okuba nti Bayibuli kubikulibwa kwa Kwa Katonda gyetuli okuyita mu byafaayo n’kuyita mu nkolagana yye n’abantu okuva mu byafaayo esobola okuletawo obutategeera bulungi kki Katonda kyali mu ndagaanao enkadde wamu n’endagaano empya. Wabula, omuntu bwasoma endagaano enkadde wamu n’empya, ekitegera lunnywe nti Katonda w’endagaano enkadde talina njawulo ku Katonda w’endagaano empya era nti okwagala kwa Katonda kulabisibwa mu ndagaano zombi.
Ekyokulabirako, mu ndagaano enkadde yonna, Katonda ayogerwako nga, “Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n'amazima amangi;”(Okuva 34:6, Okubala 14:18; Ekyamateeka 4:31; Nekemiya 9:17; Zabbuli 86:5; 108:4; 145:8; Yoweeri 2:13). Kyonga mu ndagaano empya, okwagala kwa Katonda kulabisibwa kubanga, “Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo.”(Yokaana 3:16) Okuyita mu ndagaano enkadde, tulaba enkolagana ya Katonda n’abana ba Yisirayeeri ng’elinga enkolagana wakatti wa Taata n’omwana. Bwebasalawo okwonoona eri Katonda nebatandika okusiinza ebibumbe, Katonda abakangavvula. Kyoka emirundi gyonna Katonda abanunula bwenenya olw’okusinza bakatonda abalala. Eno y’engeri yemu Katonda Katonda gyakwasaganyaamu abakristaayo mu Ndagaano empya. Okugeza, Abaebbulaniya 12:6 etugamba nti, “ Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula, Era akuba buli mwana gw'akkiriza.”
Mu ngeri yemu, okuyita mu ndagaano enkadde, tulaba obusungu bwa Katonda n’omusango nga biyiiriddwa ku kibi. Era, mu ndagaano empya, tulaba “ obusungu bwa Katonda bubikkulibwa okuva mu ggulu ku butatya Katonda bwonna n'obutaba na butuukirivu obw'abantu abaziyiza amazima mu butaba na butuukirivu;(Abaruumi 1:18). N’olwekyo, Katonda talina njawulo mu ndagaano mpya n’enkadde. Katonda mu mbala ye takyuuka. Newankubadde nga tulaba embeera zeezimu nga zilabisibwa mu nyiriri ezimu okusinga embeera endala, Katonda takyuka.
Nga tusoma mu ngeri y’okwekanya Bayibuli, tukiraba bulungi nti Katonda y’omu mu ndagaano enkadde n’empya. Newankubadde nga Bayibuli elina ebitabo 66 ebyenjawulo ebyawandiikibwa okuba mu zissemayanja biri(Oba sattu), mu nnimi sattu ezenjawulo, wakati w’emyaka egisoba mu lukumi mu bitaano(1500), abawandiisi abasoba mu anna(40), esigala nga kitabo kimu okuva ku luberyerye okutuuka ku nkomerero yakyo era nga tekyekontana. Mu kyo, tulaba, Katonda ajjudde okwagala, ekisa, era omwenkanya bwakwasaganya abantu abanonyi mu mbeera zoona. Amazima, Bayibuli baluwa eyaKatonda eyomukwano eri omwana w’omuntu. Okwagala kwa Katonda eri ebitonde bye, okusingira ddala omuntu, kulabisibwa mu byawandiikibwa. Mu Bayibuli yonna, tulaba nga mu kwagala okungi ne kisa, Katonda, ayita bantu okuyingira mu nkolagana naye, si lwakuba bakigwaana, wabula lwakuba alina ekisa rea mutukirivu, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n'amazima amangi. Kyoka tulaba Katonda omutukuvu era omutukirivu asalira omusango abo abagaana okugondera ekigambo kye era abagaana okumusinza, nebakyuka okisinza bakatonda abalala bebetondera(Soma Abaruumi 1)
Olw’embala ya Katonda ey’obutuukirivu n’obutukuvu, buli kibi—ekyakolebwa edda, ekikoleddwa leero, n’ekilikolebwa mu biseera ebigya—kilina okubonerezebwa. Kyoka Katonda, olw’okwagala kwe okungi yasasula omutango ogw’ebibi, era naateekawo ekubo ely’okutabagana abonoonyi basoboleokudduka obusungu bwe. Tulaba amazaima gano amablungi mu nyiriri nga 1 Yokaana 4:40: “ ”Mu ndagaano enkadde Katonda yawaayo enkola eya sadaaka okusobola okubonereza era okusasulira ekibi. Wabula, enkola eno eya Sadaaka yali ya kaseera katono, era yali esonga ku kuja kwa Yesu Kristu eyafa ku musalaba okusobola okusasula ekibonerezo eky’ekibi mu kifo kyaffe. Omulokozi eyasubizibwa mu ndagaano enkadde alabisibwa mu ndagaano empya. Ekyatekebwatekebwa mu ndagaano enkadde; Katonda okulaga okwagala kwe, okuweereza omwana we Yesu Kristu, kirabisibwa mu ndagaano empya mu kitiibwa. Endagaano enkadde ne empya zabweebwa ffe, “ okutugeziwaza okuyingira mu bulokovu olw'okukkiriza okuli mu Kristo Yesu.”(2 Abakolinso 3:15). Bwetusoma endagaano enkadde netugyekaanya, tutegeerera ddala nti Katonda “atayinza kuba na kufuukafuuka newankubadde ekisiikirize eky'okukyuka.” (Yakobo 1:17)
English
Lwaki Katonda wanjawulo mu ndagaano enkadde okusinga mu ndagaano empya?