settings icon
share icon
Ekibuuzo

Katonda wa ddala? Manya ntya oba Katonda wa ddala?

Okuddamu


Tumanyidde ddala nti Katonda wa ddala kubanga atweraze okuyita mu ngeri satu: Mu butonde, mu Kigambo kye, n'okuyita mu mwana we Yesu Kristu.

Obukakafu obusookerwako obulaga okuberawo kwa Katonda mwebyo byeyatonda. "Kubanga ebibye ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; babeere nga tebalina kya kuwoza:"( Abaruumi 1:20). "Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: N'ebbanga libuulira emirimu gy'emikono gye."( Zabbuli 19:1)

Bwensanga esaawa y'okumukono ng'egudde ewantu, sisobola kulowooza nti yalabisewo bulabisi, terina gyeyavudde, oba nti ebaddewo emirembe gyonna. Okusinzira ku dizayini oba endabika yaayo, mba nina okusuubira nti erina eyagikola. Wabula dizayini mpitirivu ezitwetoolodde. Engeri gyetutegera obudde oba esaawa teva ku saawa zetwambala ku mikono, naye okusinzira ku mirimu gya Katonda—engeri ensi gyeyetoolola. Ensi elaga zi dizayini mpitirivu era kino kisonga ku mukozi oba dizayina owamanyi.

Katonda takoze bukozi nsi mu bukuggu obutagambika era mu ngeri etayinza kutegerebwa, atadde obutakoma mu mutima gwa buli muntu(Omubuulizi 3:11). Omuntu alina empulira munda muye nti waliyo ekisinga ebyo amaso byegalaba era waliyo obulamu obusukuluma ku buno obw'okunsi—obw’okuzukuka, okukola,okulya, n'okwebaka. Entegera yaffe ey'obutakoma erabisibwa mu ngeri bbiri; Mu kukola amateeka ne mu Kusinza.

Buli nkulakulana mu mbeera z'abantu okuva mu byafaayo etwaala empisa ezimu okuba enkulu okusinga endala, era kino okisanga mu buli mawanga. Eky’okulabirako, ensonga y'okwagala etwalibwa okuba nga nkulu mu nsi yonna, kyoka era obulimba tebukirizibwa mu nsi yonna. Entegera eno eyekibi n'ekirungi mu nsi yonna esonga ku mukwaasisa owempisa eyatuwa enkola eyo.

Mu ngeri yeemu, abantu bonna, mu nsi yonna ,mu buwangwa bwonna, balina enkola ey'okusinza. Ekyo ekisinzibwa kisobola okuba ekyenjawulo, naye entegeera nti waliyo "omufuzi omukulu ali waggulu" teyegaanika ate kitundutundu ku bulamu bw'omuntu. Okwagala kwaffe okusinza kusonga kunsonga ey'amazima nti waliyo Katonda yatutonda "mukifaananyi kye"(Oluberyeberye 1:27)

Katonda atweraze okuyita mu kigambo kye, Bayibuli. Mu byawandiikibwa byona, okuberawo kwa katonda kutwalibwa okuba nga kwa mazima agobuliwo (Oluberyeberye 1:1 Okuva 3:14) Benjamin Franklin nga awandiika ku bulamu bwe, teyamala budde kunyonyola kuberawo kwe. Kyekimu: Katonda tamala budde kunyonyola kuberawo kwe mu Kitabo kye. Enkyusa Bayibuli gyekyusa obulamu bw’abantu, amazima gerina, ebyamagero ebiwerekera okuwandiikibwa kwayo, bimala okukakasa omuntu yenna, era okuletera omuntu okwongera okugikebera.

Engeri eyokusatu Katonda gyeyatweraga eri mu mwana we Yesu Kristu (Abakolosaayi 2:9)."Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda. Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'eky'oyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima. (Yokaana 1:14: 6-11).

Mu bulamu bwa Yesu obwewuunyisa, Yatukiriza endagaano enkadde bulungi nnyo era natukkiriza obunnabbi obukwatagana ku Mununuzi( Matayo 5:17.) Yakola ebikolwa bingi eby'ekisa n'ebyamagero okukakasa obubaka bwe, n'okuba omujulizi eri obwa Katonda bwe(Yokaana21:4-25). Nga wayise ennaku satu ng'amaze okukomerebwa, Yazuukira mu baffu. Kino kyalabibwako abantu bangi(1 Abakolinso 15:6). Ebyafaayo ebyawandiikibwa bijjudde obukakafu obulaga Yesu Yaani. Ng'omutume Pawulo bweyagamba,"; kubanga ekyo tekyakolebwa mu bubba"(Ebikolwa 26:26)

Tukiriza nti waggya kubaawo abakolokota enjiri bangi, abalina byebamanyi kubwabwe era obujulizi bwabwe buja kuba bwebutyo nga si bwa mazima. Era waggya kubawo abalala nga tewali kigera kya bukakafu kisobola kubamatiza (Zabbuli 14:1). Buli kimu kikolebwa okuyita mu Kukkiriza( Abaebulaniya 11:6).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Katonda wa ddala? Manya ntya oba Katonda wa ddala?
© Copyright Got Questions Ministries