settings icon
share icon
Ekibuuzo

Esaala Ya Mukama yekki era ddala tulina okugisaba?

Okuddamu


Esaala ya Mukama e saala Mukama waffe Yesu gyeyayigirza abayigiriza be mu Matayo 6:9-13 era egamba, “ Kale, musabenga bwe muti, nti, Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By'oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu. Otuwe leero emmere yaffe eya leero. Otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye abatwewolako. Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole eri omubi. Kubanga obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, bibyo, emirembe n'emirembe, Amiina.” Abantu abamu bamanyi nti essala ya Mukama tulina okugisaba kigambo ku kigambo, wabula babuuzabuuzibwa. Abamu batwaala essala ya Mukama okubaamu amanyi agenjawulo agakwata ku Katonda okukola okuddamu esaala.

Bayibuli esomesa kintu kirala kwekyo wagulu. Katonda afa nnyo ku mitima gyaffe okusinga ebigambo byetwogera. “Naye ggwe bw'osabanga yingiranga mu kisenge munda, omalenga okuggalawo oluggi olyoke osabe Kitaawo ali mu kyama, kale Kitaawo alaba mu kyama, alikuwa empeera. Nammwe bwe musabanga, temuddiŋŋananga mu bigambo, ng'ab'amawanga bwe bakola: kubanga” (Matayo 6:6-7). Mu kusaba, tuyiwa emitima gyaffe eri Katonda (Abafiripi 4:6-7), si kwogera bigambo byetukute eri Katonda.

Esaala erina okutegeerebwa okuba ekyokulabirako, enkola, eraga nga bwetulina okusaba. Etuwa “ebirungo” ebirina okuba mu saala. Eno y’engeri esaala gyerina okuba. “Kitafe ali "Mugulu” kitusomesa ani gwetulina okusaba—Kitafe. “, Erinnya lyo litukuzibwe.” Kitugamba okusinza Katonda era okumugulumiza olw’ekyo kyali. Ebigambo “Obwakabaka bwo bujje. By'oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu” kijjukizo nti tuina okusaba enteekateeka za Katonda mu bulamu bwafe ne mu nsi okutuukirira ssi ezaffe. Tulina okusaba nti okwagala kwa Katonda kutukirire ssi okwaffe. Tuddizibwamu amanyi okusaba ebyo byetwetaaga mu “Otuwe leero emmere yaffe eya leero.” “Otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye abatwewolako” kitujukiza okwenenya ebibi byaffe eri Katonda eri okubyenenya era okusonyiwa abalala abatukola obubi. Emaliriza y’esaala ya Mukama, “.Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole eri omubi” kusaba Katonda atuyambe okufuna obuwanguzi eri ekibi era atuwe obukuumi eri obulumbi bwa sitaani.

N’olwekyo, esaala ya Mukama si saala gyetulina okukwata era okusaba kigambo ku kigambo. Wabula kyakulabirako ekiraga engeri gyetulina okusaba. Ddala waliwo ekikyamu mu kukwata esaala ya Mukama? Nedda! Waliwo ensobi yonna singa esaala ya Mukama esabibwa kigambo ku kigambo? Nedda singa oba nga otegeeza buli kigambo kyosaba. Jukira , mu kusaba, Katonda asinga kwagala ffe twogere naye nga twogera okuva mu mitima gyaffe wabula ssi kwogera bwogezi bigambo. Abafiripi 4:6-7 egamba, “ Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n'okwegayiriranga awamu n'okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda. N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n'ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.”

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Esaala Ya Mukama yekki era ddala tulina okugisaba?
© Copyright Got Questions Ministries