settings icon
share icon
Ekibuuzo

Makulu kki agali mu kyegulo kya Mukama/Okusembera ku meeza?

Okuddamu


Okwekenenya ekijulo kya Mukama kikwata nnyo ku meeme olw’obuziba obuli mu makulu gaakyo. Kyatukawo mu kujaguza okw’okuyitako mu kiro ekiddilirwa okufa kwe Yesu we yalagira okukuŋŋaana okulya awamu nga bwetukola leero. Kitundu ku kusinza kw’ekikristaayo. Kituletera okujukira okufa n’okuzuukira era n’okulindilira okudda kwe okuliba mu kitiibwa.

Embaga y’okuyitako yali mbaga ekyasinze okuba eyawuddwa mu mbaga z’omwaka gw’abayudaaya ogwediini. Ejukira ekibonyobonyo ekyasembayo ku Misiri abaana abobulenzi abasooka bonna bwebaafa wabula abo aba Isirayeri nebawona olw’omusaayi ogw’endiga wamansibwa ku mifuubeeto gy’emilyango mayumba gaabwe. Endiga kalililwa nelibwa wamu n’omugaati okugalimu kizimbulukusa. Ekiragiro kya Katonda kyali nti, mu mirembe gyonna eginaja, embaga eno elina okukuzibwa. Olugero luno luli mu Kuva 12.

Ku kyegulo ekisembayo—kulunaku lw’embaga oy’okuyitako— Yesu yakwata omugaati, neyeebaza Katonda. Bweyagumenyamu, yaguwa abayigirizwa be nabagamba nti “Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze. Era n'ekikompe bw'atyo bwe baamala okulya; ng'agamba nti Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe.” (Lukka 22:19-21). Yamaliliza okujaguza n’oluyimba (Matayo 26:30), era nebatambula ekiro ekyo nebagenda ku Lusozi lw’emizayituuni. Eyo nga bwekyalagulwa, Yesu gyeyalilwamu olukwe Yudda. Olunaku olwaddako, Yesu yakomelerwa.

Ebyawandiikibwa ku kyegulo kya Mukama bisangibwa mu (Matayo 26: 26-29; Makko 14:17-25; Lukka 22:7-22; ne Yokaana 13:21-30). Omutume Pawulo yawandiika ku kyegulo kya Mukama mu 1 Abakkolinso 11:23-29. Pawulo amaliliza n’ebigambo ebitasangika mu Njiri: “Kyanaavanga azza omusango ogw'omubiri n'omusaayi gwa Mukama waffe buli anaalyanga ku mugaati aba anaanywanga ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde.

Naye omuntu yeekeberenga yekka alyoke alyenga ku mugaati bw'atyo, era anywenga ne ku kikompe. Kubanga alya era anywa, alya era anywa musango gwe ye, bw'atayawula mubiri.” (1Abakkolinso 11:27-29) Tusobola okubuuza ddala kitegeeza kki okulya omugati n’okunwa ku kikompe “mu ngeri etasaana” Kisobola okutegeeza omuntu okugaana amazima amatuufu ag’omugaati n’ekikompe era wamu n’omuwendo omulokozi waffe gweyasasula okutulokola. Oba kisobola okutegeeza omuntu okutwala omukolo okuba omufu era ogw’okumala ebisera oba akalobolombo oba okuja ku Meeza ya Mukama n’ebibi byotenenyeza. Okusobola okugoberera ebilagiro bya Pawulo, tulina okwekebera nga tetunalya mugaati oba okunywa ku kikompe.

Enonga endala Pawulo gyeyayogerako etayogerwako mu njiri eri iti “Kubanga buli lwe munaalyanga ku mugaati guno ne lwe munaanywanga ku kikompe, munaayolesanga okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw'alijja.”(1 Abakkolinso 11:26). Kino kiwa omukolo guno obudde—okutuusa Yesu lwalidda. Mu bwandiikibwa bino, tutegeera engeri Yesu bweyakozesa ebintu bibiri ebitatukkiridde nga obubonero ng’obubonero bwomubiri gwe n’omusaayi era nabusimba okuba ekijukizo kyokufa kwe. Tekyali kijukizo kitemeddwa mu mayinja ag’omuwendo, wabula ag’omugaati n’eviini.

Yagamba nti omugaati gwogera ku mubiri gwe ogunamenyebwa. Tewali gumba lyamenyebwa, wabula Omubiri gwe gwabonyabonyezebwa okutuuka ku kigera nga kizibu okugutegeera.(Zabbuli 22:12-17; Isaaya 53:4-7). Eviini oba omwenge gwali gulaga okufa kwe okwali okubi ennyo kweyali agenda okuyitamu. Ye, omwana wa Katonda atukkiridde, yafuuka okutuukirira okw’obunnabbi obungi ennyo obw’Endagaano enkadde obwogera ku mununuzi.(Oluberyeberye 3:15; Zabbuli 22; Isaaya 53). Bweyagamba nti “kino mukikola olw’okunzijukira,” Yali ayogera ku mukolo guno okukolebwanga mu biseera ebyali bigya. Era kyalaga nti embaga ey’okuyitako, eyali yetaaga okufa kw’omwana gwendiga era ngelindilira okuja kw’Akaliga ka Katonda akali kagenda okujawo ebibi by’ensi, kyali kitukkirizibwa ku kyegulo kya Mukama. Endagaanoempya (New Covenant) yawanyisibwa n’Endagaano enkadde(Old Covenant) Kristu, Akaliga k’embaga y’okuyitako, (1 Abakkolinso 5:7), bwe kasaddakibwa (Abaebbulaniya 8:8-13). Enkola y’okusaddaaka yali tekyetaagisa( Abaebbulaniya 9:25-28). Ekyegulo kya Mukama/Okusembera ku Meeza kw’Abakristaayo kujjukira ekyo Kristu kyeyakola ku lwaffe era okujaguza olw’ekyo kyetufuna mu Saddaaka gyeyawaayo.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Makulu kki agali mu kyegulo kya Mukama/Okusembera ku meeza?
© Copyright Got Questions Ministries