Ekibuuzo
Ekanisa elina kigendererwa ki?
Okuddamu
Ebikolwa 2:42 lusobola okutwalibwa okuba ekigendererwa ky’ekanisa. “Ne baba nga banyiikiriranga okuyigirizibwa kw'abatume, ne mu kusseekimu, ne mu kumenya emigaati ne mu kusaba.” Okusinziira ku lunyiriri luno, ekigendererwa/oba emirimu gy’ekanisa gilina kuba;
1) Okusomesa ensomesa ya Bayibuli,
2) Okuteekawo ekifo ky’okusizizamu eky’ekanisa
3) Okumenya omugaati/okutuukiriza ekyegulo kya Mukama
4) N’okusaba.
Ekanisa elina okusomesa ensomesa ya Bayibuli tusobole okusimbibwa mu kukkiriza. Abaefeesao 4:14 egamba, “tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba;” Ekanisa elina kuba kifo kya kukuŋŋaniramu, abakristaayo webasobola okwewaayo eri abalala nebasobola okwesanŋŋanamu ekitiibwa (Abaruumi 12:10), n'okubuuliriraŋŋana (1 Abassesalonnikan 5:11), era ekisingira ddala, okwagalana (Yokaana 3:11).
Ekanisa alina okuba ekifo abakkiriza webasobola okutuukira ekyegulo kya Mukama, nga bajjukira okufa kwe, n’omusaayo gwe ogwayiika ku lwaffe (1Abakkolinso 11:23-26). Ensonga “y’oumenya omugaati”(Ebikolwa 2:42) nayo yetise ensonga y’okulya awamu. Kino kya kulabirako eky’ekanisa okuwagira ensonga y’okukuŋŋaana. Ekigendererwa ekisembayo eky’ekanisa okusinzira ku Ebikolwa 2:42 kwekusaba. Ekanisa elina okuba kifo ekilina okuwagira okusaba, ekisomesa okusaba, era ekiteeka mu nkola okusaba. Abaffiripi etuzaamu amanyi, “Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n'okwegayiriranga awamu n'okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda.
N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n'ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.”
Emulimu omulala ogwaweebwa ekanisa kwekubuulira enjiri ey’obulokozi obuli mu Kristu Yesu (Matayo 28:18-20; Ebikolwa 1:8), Ekanisa eyitibwa okuba n’obwesiggwa mu kubuulira enjiri okuyita m bigambo n’ebikolwa. Ekanisa elina kuba “nyumba y’omusana” mu kitundu mweri, ng’esongera abantu eri Mukama waffe Yesu Kristu Omulokozi. Ekanisa erina okuwagira wamu n’okuteekateeka abantu baayo okubuulira enjiri (1 Peteero 3:15).
Ebigendererwa by’ekanisa ebisembayo bituweebwa mu Yakobo 1:27: “Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga obutaba na mabala ag'omu nsi.” Ekanisa erina kuweereza eri abo abali mu bwetaavu. Kuno si kubunya bubunya njiri, wabula n’okukola ku byetaago ebikwatibwako eby’ekanisa (engoye, emere, enyumba) nga bwekyetaagisa mubutuufu bwakyo. Ekanisa era elina okunyweeza abakkiriza mu Kristu n’ebikola byebetaaga okuwangula ekibi n’okusigala nga tebakyafuwaziddwa nsi. Kino kikolebwa okuyita mu kusomesa okutuufu okwa Bayibuli n’okukuŋŋaana oba okus’ekimu.
N’olwekyo, Ekigendererwa ky’ekanisa ky’eki? Pawulo awa ekifaananyi ekirungi eri abakkiriza mu Kolinso. Ekanisa mikono, kamwa, era bigere bya Katonda—mubiri gwa Kristu (1 Abakkolinso 12:12-27). Tulina okukola ebintu Kristu byeyandikoze singa abadde kunsi mu buliwo mu mumubiri. Ekanisa elina kuba “nkulistaayo”, “ng’elinga Kristu”, era ng’egoberera Kristu.
English
Ekanisa elina kigendererwa ki?