settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ekanisa kyeki?

Okuddamu


Abantu banji olwaleero bamanyi ekanisa okuba ekizimbe. Kino si Bayibuli kyegamba ku Kanisa. Ekigambo “ekanisa” kiva mu kigambo ky’oluyonaani “Ekeleziya” ekitegeeza “Olukuŋŋaana” oba “abayitiddwa okuva mu balala” Obuvo bwekigambo ekanisa ssi bwa Kizimbe wabula abantu. Kyewunyisa bw’obuza abantu ekanisa kki gyebasabiramu, ebiseera ebisinga bakusongera ku kizimbe. Abaruumi 16:5 egamba , “mulamuse ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe.” Pawulo agyogerako ng’ekanisa mu nyumba yabwe, si ekizimbe, wabula omubiri gwa Kristu.

Ekanisa mubiri gwa Kristu, nga Ye mutwe. Abaefeeso 1:22-23 egamba, “n'ateeka byonna wansi w'ebigere bye, n'amuteekawo okuba omutwe ku byonna eri ekkanisa, gwe mubiri gwe, okutuukirira ku oyo atuukiriza byonna mu byonna.” Omubiri gwa Kristu gulina abakkiriza bonna ku Kristu okuva ku lunaku lwa Pentekooti (Ebikolwa 2) okutuusa Kristu lwalidda. Omubiri gwa Kristu gulina ebintu bibiri:

1)Ekanisa ey’ensi yonna elimu abo bonna abalina enkolagana eyassekinoomu ne Kristu.

Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu. (1 Abakkolinso 12:13). Olunyiriri luno lutegeeza nti buli omu akkiriza mu Kristu ali kitundu ku mubiri gwa Kristu era alina omwoo gwa Kristu ng’obujulizi. Ekanisa y’ensi yonna elina bonna abafuna obulokozi okuyita mu Kristu Yesu.

2)Ekanisa era eyogerrwako mu Baggalatiya 1:1-2: “Pawulo omutume (ataava mu bantu newakubadde okuyita eri omuntu, wabula eri Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu), n'ab'oluganda bonna abali nange tubawandiikidde ekkanisa ez'e Ggalatiya: Wano tulaba nag mu kitundu ky’eGgalatiya waliyo amakanisa mangi–getuyita amakanisa g’okubyalo. Ekanisa y’Abaputisiti, ey’Abaluzelaani, oba Abakatuliki si ye Kanisa, mu kiti ky’ekanisa y’ensi yonna–wabula ziba kanisa zamubitundu, omubiri gwa Kristu ku kitundu. Ekanisa y’ensi yonna erimu abo aba Kristu era abamutaddemu obwesige okulwobulokozi. Abantu bano ab’ekanisa ey’ensi yonna balina okunonya okukuŋŋa n’okuzimbibwa mu Kanisa ku bitundu byabwe.

Mu kuwumbawumba, Ekanisa si kizimbe, oba akabondo k’enzikiriza. Okusinziira ku Bayibuli, Ekanisa mubiri gwa Kristu—abo bonna abatadde okukkiriza kabwe mu Kristu okulokolebwa (Yokaana 3:16; 1 Abakkolinso 12:13). Amakanisa ku bitundu gakuŋŋanya abantu abakkiriza elinnya lya Kristu. Ba memba b’ekanisa y’okukyalo basobola okuba nga si ba memba b’ekanisa y’ensi yonna okusinzira ku bwesimbu bw’okukkiriza kwabwe. Ekanisa y’okukitundu kyekifo abakkiriza we basobola okuteeka mu nkola “enkola z’omubiri gwa Kristu” eziri mu 1 Abakkolinso 12: nga bazaamu amanyi, nga basomesa, era nga bazimbagana mu magezi n’ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ekanisa kyeki?
© Copyright Got Questions Ministries