settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli yakuŋŋanyizibwa etya era yakunŋŋanyizibwa ddi?

Okuddamu


Ekigambo cannon (Soma Kanoni) kikozesebwa okunyonyola ebitabo ebyalunŋŋamizibwa Katonda era ebilina okuba mu Bayibuli. Ekizibu ekiri ku Kanoni ya Bayibuli kiri nti, Bayibuli tetuwa lukalala lwa bitabo bilina kuba mu Bayibuli. Okumanya ebitabo ebilina okuba mu Bayibuli kwasoka kukolebwa basomesa nabakenkufu mu kwekenenya ekigambo abayudaaya, era oluvanyuma nekukolebwa abakristaayo abasooka. Ekyenkomerero, yali Katonda eyasalawo bitabo kki ebilina okuba mu Bayibuli. Ekitabo kyebyawandiikibwa kyalina okuba mu Bayibuli okuva Katonda weyaluŋŋamizibwa ekitabo ekyo okuwandiibwa. Kyali kyetagisa Katonda kumatiza bagoberezi be bitabo ki ebilina okuba mu Bayibuli.

Okugerageranya n’Endagaano empya, tewaliwo nnyo kusika muguwa ku bitabo bilina kuba mu Ndagaano nkadde. Abakkiriza abaebbulaniya bategeera obubaka okuva eri Katonda era nebakkiriza ebyawandiikibwa okuba nga byaluŋŋamizibwa Katonda. Newankubadde waliwo okusika omuguwa okutonotono ku bitabo ki ebilina okuba mu Ndagaano enkadde, okusika omuguwa kwali kwaggwaawo mu 250. A.D era buli muntu yali akkiriza. Ensonga yokka eyali esigadde yali Apokulifa (Soma Apocrypha), era okusika omuguwa kuno kukyaliwo neleero. Abasomi Abaebbulaniya bakkiriza nti Apokulifa bitabo bya byafaayo era by’ediini, wabula nga tebili ku ddala lyelimu ng’ebyawandiikibwa by’Abaebbulaniya.

Entekateka yokukuŋŋanya n’okusunsula ebitabo ebilina okuba mu Ndagaano empya byatandiika mu kyasa kyekanisa ekyasooka. Nga kyakatanda, ebitabo ebimu eby’endagaano enkadde byali byakkirizibwa. Pawulo yakkiriza ebyawandiikibwa bya Lukka okuba n’obuyinza ng’Endagaano enkadde ( Laba 1Timoseewo 5: 18, era laba Ekyamateeka 25:4, ne Lukka 10:7). Petero yakkiriza ebyawandiikibwa bya Pawulo ekigambo kya Katonda (2 Peteero 3:15-16). Ebitabo by’Endagaano empya ebilala byali bitambuzibwa mu makanisa (Abakkolosaayi 4:16; 1 Abassesalonnika 5:27). Kelementi omuruumi yayogera ku bitabo nga munaana (8) eby’Endagaano empya (AD. 95). Yiginatiyaasi owe Antiyokiya yakkiriza ebitabo nga musaanvu (7) (A.D 115). Polikaapu, omuyigirizwa wa Yokaana omutume, yakkiriza ebitabo kumi na bitanu (A.D. 108). Oluvanyuma Ilinayeyasi yayogera ku bitabo abiri mu kimu (A.D. 185). Kipolayitaasi yakkiriza ebitabo 22 (A.D. 170-235). Ebitabo by’Endagaano empya ebiliko okusika omuguwa bilimu Abaebbulaniya, Yakobo, 2 Peteero, 2 Yokaana, ne 3 Yokaana.

Olukuŋŋanya olwasooka elw’ebitabo bya Bayibuli lwe lwa Mulatoliyani, era lwakuŋŋanyizibwa mu mwaka gwa 170 A.D. Lwalimu ebitabo byonna eby’Endagaano empya okujjako Abaebbulaniya, Yakobo, 1 ne 2 Peteero, 3 Yokaana. Mu mwaka gwa A.D. 363, olukiiko lwa Lawodikiya lwagamba nti Endagaano Empya ( ngogaseeko Apokulifa), n’ebitabo 27 ebiri mu Ndagaano empya byebyalina okusomebwa mu Kanisa. Olukiiko lwe Kippo (A.D. 339) n’Olukiiko lwe Kasaje (A.D. 397) nalwo lwakkiriza ebitabo 27 okuba n’obuyiinza bw’Ekigambo kya Katonda.

Enkiiko zagoberera enkola ezifanaganako wamanga okulaba bitabo kki ebilina okuba mu ndagaano empya era oba byali biluŋŋamizibwa Mwoyo Mutukuvu:

1) Omuwandiisi yali Mutume oba yalina kakwate n’omutume yenna?

2) Ekitabo kikirizibwa omubiri gwa Kristu?

3) Ekitabo kilemera ku nsomesa entufu ekirizibwa?

4) Ekitabo kilina obujulizi obw’empisa n’enkola z’omwoyo ezilaga emirimu gy’Omwoyo Mutukuvu. Kikulu okujukira nti ekanisa teyasalawo bitabo kki ebilina okuba mu Bayibuli.

Tewali lukiiko lwasalawo ku bitabo ebilina okuba mu Bayibuli. Yali Katonda era Katonda yekka yeyasalawo bitabo kki ebilina okuba mu Bayibuli. Kyali kyetaagisa Katonda okuteeka kuluŋŋamya bagoberezi be kki kyeyali asazeewo. Emitendere abantu gyebayitamu okulonda ebitabo ebilina okuba mu Bayibuli gyalimu ensobi, wabula Katonda mu buyinza bwe, newankubadde abantu bali tebamanyi era balina emitwe emikakanyavu, Katonda yaletera ekanisa eyasooka okukkiriza ebitabo byeyali alunŋŋamiza.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli yakuŋŋanyizibwa etya era yakunŋŋanyizibwa ddi?
© Copyright Got Questions Ministries