settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala Bayibuli ewagira obuddu

Okuddamu


Waliwo enkola ey’okutunuulira obuddu nga ekintu eky’edda. Wabula kitebeerezebwa okuba nti waliwo abantu abasoba mu miriyooni 27 bakozesebwa nga abaddu, bakakakibwa okukola, batundibwa nga okukozesebwa omukwano, okuba ng’ekintu eky’ensikirano. Ng’abanunulibwa okuva mu buddu obw’ekibi, abagoberezi ba Kristu balina okuba ku mwanjo mu kukomya obuddu mu nsi leero. Wabula ekibuuzo kiri nti, lwaki Bayibuli tewakanya nnyo buddu? Lwaki Bayibuli erabika nga ekkiriza enkola y’okutwala abantu nga abaddu?

Bayibuli tewakanya buddu oa kukozesa bantu ng’abaddu. Wabula ewa engeri abaddu gyebalina okuyisibwamu. (Ekyamateeka 15:12-15; Abaefeeso 6:9; Bakkolosaayi 4:1) wabula telaga nti okukozesa abantu nga abaddu kibi. Banji balaba kino okulaga nti Bayibuli ewagira buli ngeri yonna ey’obuddu. Bangi kyebalema okutegeera kiri nti, obuddu mu biseera bya biro ebiri mu Bayibuli bwali bulala nnyo n’obuddu obwakolebwa ebyasa ebiyiseeko. Obuddu mu Bayibuli tebwali bwa gwanga limu lyokka. Abantu tebatwalibwa okuba abaddu olw’okuba nti balina kala bweti oba bava mu gwanga bweliti. Mu Bayibuli, obuddu bwali bukwatagana na byanfuna, bwali bulaga wa woyimiridde mu kintu ky’obeeramu. Abantu beetundanga okuba abaddu bwebalemererwa okusasula amabanja gabwe oba okulabirira amaka gabwe. Mu ndagaano empya, Balooya, abasawo oba ne banabyabufuzi baali nga baddu ab’omuntu omu. Abantu abamu basalangawo okuba abaddu kubanga baali bagala mukama wabwe atwaale obuvunanyizibwa obw’okubalabirira.

Obuddu obwebyasa ebyayita ebiseera ebisinga bwali bukwatagana ku kala y’olususu. Mu Amerika, abaddugavu bangi batwalibwanga okuba abaddu olw’egwanga. Abantu abasinga bakkirizanga nti abaddugavu baali wansi ku bantu abalala. Bayibuli evumirira obuddu obuva ku gwanga kubanga esomesa nti abantu bonna batondebwa mukifaananyi kya Katonda (Oluberyeberye 1:27). Mu kaseera ke kamu, endagaano enkadde yawagira obuddu obw’ekigero era obw’ebyenfuna. Ensonga enkulu eri nti, obuddu Bayibuli bweyawagira tebufaanana buddu obw’egwanga erimu obwajjula ensi mu byaasa ebyayita.

Endagaano empya n’Enkadde zombi teziwagira kuwamba bantu ekintu ekyatuukawo mu Afrika mu kyaasa ky’ekumi n’omwenda. Abafirika bagobebwanga era nebatundibwa eri abasuubuzi b’abaddu, ababaleeta mu Amerika okukola mu nsuku ne muzifaamu. Katonda akyawa enkol eno. Mu mazima, ekibonerezo omuntu akola ekintu kino alina kuttibwa: “Abbanga omuntu n'amutunda, oba bw'alabikanga mu mukono gwe, talemanga kuttibwa.”(Okuva 21:16). Okufaananako mu Ndagaano Empya, abatuunda abaddu bwatawalibwa okuba abantu “abatayagala era ababi” era bali mu tuluba lye limu nga abo abatta ba taata babwe oba ba maama babwe, abassi, abenzi, era abakaba, era abalimba.(1 Timoseewo 1:8-10).

Ensonga andala enkulu eri nti omugaso gwa Bayibuli kusongera bantu eri bulokozi, ssi kukyuusa bantu. Bayibuli etunuulira ebintu nga ebiva munda okuda kungulu. Omuntu bwafuna okwagala, n’ekisa n’okusaasira kwa Katonda ng’afunye obulokozi, Katonda akyuusa emmeme ye, era aba agenda kulaba nga okutwaala abalala okuba abaddu kiba kibi. Aba agenda kulaba wamu ne Pawulo nti omuddu naye aba “waluganda mu Mukama” (Abafiripi 1:16). Omuntu aba alozeza ku kisa kya Katonda aba wakisa eri abantu abalala. Eyo y’engeri Bayibuli gyekozesa okukomya obuddu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala Bayibuli ewagira obuddu
© Copyright Got Questions Ministries